YouVersion Logo
Search Icon

Ebik 3

3
1Olumu Petero ne Yowanna baali bambuka mu Kiggwa ku ssaawa eyoomwenda ey'okusoma, 2ne wabaawo omusajja eyava munda ya nnyina nga mulema, eyali asituddwa. Buli lunaku baamussanga ku mulyango gw'Ekiggwa oguyitibwa Omulungi, asabirize ku bayingira mu Kiggwa. 3Bwe yalaba Petero ne Yowanna nga bayingira bati mu Kiggwa, n'abasabiriza. 4Petero n'amwekaliriza, wamu ne Yowanna, n'amugamba nti: “Tutunuulire.” 5N'oli n'abasimba amaaso ng'asuubira ng'anaafunayo akantu. 6Petero n'amugamba nti: “Ffeeza ne zaabu sibirina; naye nkuwa kye nnina; mu linnya lya Yezu ow'e Nazareti tambula.” 7N'amukwata ku mukono gwe ogwa ddyo n'amuyimusa; amangu ago ebigere bye n'obukongovvule ne binywera. 8N'abaguka, n'ayimirira, n'atambula, n'ayingira nabo mu Kiggwa ng'atambula bw'abuukamu, n'atendereza Katonda. 9Abantu bonna baamulaba ng'atambula, ng'atendereza Katonda. 10Ne bamutegeerera ddala nga ye wuuyo eyatuulanga ku mulyango Omulungi ogw'Ekiggwa ng'asabiriza, ne beewuunya, ne bawuniikirira olw'ekyali kimutuseeko.
Petero ayigiriza abantu
11Yali akyekutte ku Petero ne Yowanna, abantu bonna ne bajja bunnambiro gye bali ku kisasi ekiyitibwa ekya Solomoni, nga bawuniikiridde. 12Petero bwe yalaba, n'agamba abantu nti: “Basajja Abayisirayeli, lwaki kino mukyewuunya? Lwaki mututunuulira kyenkana nga ffe tutambuzizza ono n'amaanyi gaffe, oba olw'obutuukirivu bwaffe? 13#Okuv 3,15; Yis 52,13; Ebik 19,6-12.Katonda wa Yiburayimu ne Yizaake ne Yakobo, Katonda wa bajjajjaffe, yagulumiza omuweereza we Yezu, mmwe gwe mwawaayo ne mumwegaana mu maaso ga Pilato, nga ye ayagala okumuta. 14#Mat 27,15-23; Mar 15,6-14; Luk 23,13-23; Yow 19,12-15.Naye mmwe mwegaana Oyo Omutuukirivu, Omutuufu, ne musaba omutemu abaweebwe; 15ne mutta Kagingo w'obulamu Katonda gwe yazuukizza mu bafu; ffe bajulirwa b'ekigambo ekyo. 16Ate erinnya lye, olw'okukkiriza mu linnya lye, kyerivudde liwa amaanyi gwe mulabye era gwe mumanyi; okukkiriza okwo okuva mu ye kwe kuwadde ono okuddirawo ddala mu maaso gammwe mwenna.
17“Kale nno, baganda bange, mmanyi ng'ekyo mwakikoza butamanya, ng'era abafuzi bammwe bwe baakola. 18Kyokka Katonda bye yali alangiridde mu kamwa k'abalanzi bonna nti Kristu we yali wa kubonaabona, yabituukiriza bw'atyo. 19Kale nno mubonerere, mweddemu, ebibi byammwe biryoke bisangulibwewo, 20Omukama asindike bw'atyo obudde obw'okuweweerako okuva ewuwe, olwo abasindikire Kristu nga bwe yabategekera, oyo Yezu, 21eggulu gwe lirina okugira nga likyamulina okutuusa obudde obw'okutuukiriza byonna Katonda bye yayogeza akamwa k'abalanzi be abatuukirivu okuva edda n'edda. 22#Et 18,15.18.Musa yagamba nti: ‘Omukama Katonda wammwe alibasitusiza okuva mu baganda bammwe omulanzi nga nze; mumuwuliranga mu byonna by'alibagamba. 23#Et 18,19; Abal 23,29.Ate era ekiribaawo, omuntu yenna ataliwulira mulanzi oyo, alikutulirwa ddala ku bantu be.’ 24Era n'abalanzi bonna abaayogera okuva ku Samweli n'abaamuddirira, nabo ennaku zino baaziranga. 25#Amas 22,18.Mmwe baana b'abalanzi n'ab'ekiragaano Katonda kye yakuba ne bajjajjaffe, ng'agamba Yiburayimu nti ‘Mu zzadde lyo ebika byonna eby'ensi biriweebwa omukisa.’ 26Katonda bwe yamala okuzuukiza Omwana we, yasooka kumutumira mmwe, abawe omukisa, buli muntu amuggye mu ngeri ze embi.”
Petero ne Yowanna basibwa ne bawozesebwa olukiiko

Currently Selected:

Ebik 3: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in