Ebik 2
2
1 #
Abal 23,15-21; Et 16,9-11. Olunaku lwa Pentekooti bwe lwatuuka, bonna baali wamu mu kifo kimu. 2Amangu ago ne wabaawo okuwuuma okuva mu ggulu nga kuli ng'okuyira okwa kikunta ow'amaanyi, ne kujjuza ennyumba yonna mwe baali batudde. 3Ne balaba ennimi ng'ez'omuliro, ezeeyawuddemu, buli lumu ne lwetondeka ku buli kinnoomu ku bo. 4Bonna ne bajjula Mwoyo Mutuukirivu, ne batandika okwogera ennimi endala, nga Mwoyo Mutuukirivu bwe yabawanga okwogera.
5Mu Yeruzaalemu mwalimu Abayudaaya, abantu abasomi abaali bavudde mu mawanga gonna agali wansi w'eggulu. 6Okuwuuma okwo bwe kwawulikika, ebbiina ne lyesomba, ne basamaalirira, kubanga buli omu yabawuliranga nga boogera mu lulimi lwe. 7Bonna ne bawuniikirira, ne beewuunya nga bagamba nti: “Naye bano bonna aboogera si Bagalilaaya? 8Kiyinzika kitya ffe okuwulira buli omu mu lulimi lwe? 9Abapariti, Abamedi, Abeelami, abatuuze b'omu Mezopotamiya, mu Buyudaaya ne mu Kappadokiya, Ponto ne mu Aziya, 10mu Firugiya ne mu Pamfiliya, mu Misiri ne mu bitundu ebya Libya ebitwalibwa Kureni, n'Abaroma abazze obugenyi, ssaako Abayudaaya n'ab'amawanga abasoma ekiyudaaya, 11Abakureti n'Abawarabu, tubawulidde nga boogera mu nnimi zaffe ebikuuno bya Katonda.” 12Bonna ne bawuniikirira, ne basoberwa, ne bagambagana nti: “Kiri kitya kino?” 13Naye abalala ne baduula nga bagamba nti: “Bano batamidde mwenge musu.”
Enjigiriza ya Petero
14Awo Petero n'ayimirira ng'ali wamu n'ekkumi n'omu, n'akangula ku ddoboozi, n'abagamba nti: “Basajja Abayudaaya, nammwe mwenna abasula mu Yeruzaalemu, kino mukimanye, ebigambo byange mubitegere amatu. 15Abantu bano si batamiivu nga mmwe bwe mulowooza, anti kati essaawa ziri ssatu zokka ez'oku makya. 16Naye kino kye kiikyo Yoweli Omulanzi kye yagamba nti:
17 #
Yowel 3,1-5. “ ‘Mu nnaku ez'oluvannyuma ekiribaawo, Omukama y'agamba,
ndiyiwa Mwoyo wange ku bantu bonna,
batabani bammwe ne bawala bammwe baliranga,
n'abavubuka bammwe balirabikirwa,
ate n'abakadde bammwe baliroota ebirooto;
18mu nnaku ezo abaweereza bange n'abazaana
ndibayiwako Mwoyo wange ne balanga.
19Ndiraga ebikuuno waggulu ku ggulu,
n'obubonero wansi ku nsi,
omusaayi, omuliro, n'ebire eby'omukka,
20enjuba erifuuka enzikiza, n'omwezi gulifuuka musaayi,
olunaku lw'Omukama nga terunnatuuka,
olunaku olukulu olw'ekitalo.
21Olwo, buli alikowoola erinnya ly'Omukama, aliwonyezebwa.’
22“Abasajja Abayisirayeli, muwulire ebigambo bino: Yezu ow'e Nazareti, omusajja Katonda gwe yakakasiza mu mmwe n'ebikolwa eby'amaanyi n'ebyewuunyo, n'obubonero Katonda bye yakolanga mu mmwe ng'ayita mu ye, nga nammwe bwe mumanyi, 23#Mat 27,35; Mar 15,24; Luk 23,33; Yow 19,18.ono eyaweebwayo nga Katonda bwe yali amaze okukiteesa n'okukimanya, mwamubonyaabonya ne mumutta n'emikono gy'ababi. 24#Mat 28,5-6; Mar 16,6; Luk 24,5.Naye Katonda yamuzuukiza ng'amuwonya obulumi bw'olumbe, kubanga kyali tekiyinzika lumbe kumwekomya. 25#Zab 16,8-11.Anti Dawudi yamwogerako bw'ati nti:
“ ‘Omukama namusimbangako eriiso buli budde,
kubanga andi ku ddyo nneme kunyeenyezebwa;
26Omutima gwange kyeguva gusanyuka
n'olulimi lwange ne lujaguza,
n'omubiri gwange guliwummulira mu ssuubi.
27Kubanga omwoyo gwange toliguleka magombe,
n'omutuukirivu wo tolimuleka kuvunda.
28Wammanyisa amakubo ag'obulamu;
olinzijuza essanyu mu maaso go’
29“Abasajja abooluganda, muleke njogere ku jjajjaffe Dawudi nga sitya; yafa n'aziikibwa, n'amalaalo ge gali mu ffe n'okutuusa ku lunaku lwa leero. 30#Zab 132,11; 2 Sam 7,12-13.Naye nno kubanga yali mulanzi, yali amanyi nti Katonda yamulayirira n'ekirayiro nti omwana owuwe amuva munda alituula ku ntebe ye. 31#Zab 16,10.Bw'atyo yalengera ebiri mu maaso, n'ayogera ku kuzuukira kwa Kristu nti teyalekebwa magombe era n'omubiri gwe tegwavunda. 32Yezu ono Katonda yamuzuukiza, ffenna tuli bajulirwa b'ekyo. 33Yezu nno ng'amaze okugulumizibwa ku gwa ddyo ogwa Katonda, ng'amaze okufuna Mwoyo Mutuukirivu omusuubize okuva ewa Taata, n'alyoka atuyiira kino kye mulaba era kye muwulira. 34#Zab 110,1.Dawudi teyalinnya mu ggulu, sso ye yennyini yagamba nti:
“ ‘Omukama yagamba mukama wange,
nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
35okutuusa lwe ndifuula abalabe bo akatebe k'ebigere byo” ’
36Awo nno ennyumba ya Yisirayeli yonna emanyire ddala nti Yezu ono gwe mwakomerera Katonda yamufuula Mukama era Kristu.”
Abantu abaasooka okukkiriza
37Bwe baawulira ebyo, emitima ne gimenyeka; kwe kugamba Petero n'Abatume abalala nti: “Basajja abooluganda, kale tukole ki?” 38Petero n'abagamba nti: “Mubonerere ate buli omu mu mmwe abatizibwe mu linnya lya Yezu Kristu, ebibi byammwe bisonyiyibwe; ate mujja kufuna ekirabo kya Mwoyo Mutuukirivu. 39#Yis 57,9; Yowel 3,5.Anti mmwe mwasuubizibwa: mmwe n'abaana bammwe, n'abo bonna abali ewala, bonna Omukama Katonda waffe b'aliba ayise.” 40Era n'ebigambo ebirala bingi n'ababuulira n'okubakubiriza ng'agamba nti: “Mwewonye ezzadde lino ekkyamu.” 41Abaasiima ebigambo bye, ne babatizibwa; ne kweyongerako emyoyo ng'enkumi ssatu ku lunaku olwo.
Empisa ennungi ez'abakkiriza
42Ne banyiikiriranga enjigiriza y'Abatume n'okussa ekimu, n'okumenya omugaati, n'okwegayirira. 43Entiisa n'ekwata buli muntu; Abatume ne bakola ebyewuunyo n'obubonero bungi. 44#4,32-35.Bonna abakkiriza baabanga wamu, n'ebyabwe byonna nga biba bya bonna. 45Baatundanga ebyabwe n'ebintu, ne babigabira bonna, buli muntu nga bwe yeetaaganga. 46Era buli lunaku baagendanga wamu mu Kiggwa kya Katonda, nga bamenya omugaati mu maka gaabwe; emmere yaabwe nga bagiriisa ssanyu n'omutima gumu. 47Baagulumizanga Katonda, era ng'abantu bonna babaagala. Omukama n'abongerangako buli lunaku omuwendo gw'abalokoddwa.
Petero awonya omulema
Currently Selected:
Ebik 2: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.