YouVersion Logo
Search Icon

Ebik 17

17
1Bwe baamala okuyita mu Amfipoli ne mu Apolloniya, ne batuuka e Tessalonika awaali sinaagooga y'Abayudaaya. 2Pawulo n'ayingira ewaabwe, ng'empisa ye bwe yali, n'amala wiiki ssatu ng'abannyonnyola nga yeeyamba Ebiwandiiko ebitukuvu, 3ng'ategeeza n'okukakasa nga Kristu bwe yali ateekwa okubonaabona n'okuzuukira mu bafu, n'abagamba nti: “Yezu oyo gwe mbayigiriza ye Kristu.” 4Abamu mu bo n'abakkirizisa, ne beegatta ku Pawulo ne Sila, ko n'ekibiina kinene eky'Abagereeki abasomi n'abakazi ab'ekitiibwa abawerako. 5Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya, ne baddira abasajja abamu ababi mu bakireereese, ne beekuŋŋaanya ogubinja, ne basasamaza ekibuga, ne balumba ennyumba ya Yasoni, nga baagala babaggyeyo babaleete mu maaso g'ekibiina. 6Bwe bataabasanga mu nnyumba, ne bawalaawala Yasoni n'abooluganda abamu, ne babatwala mu maaso g'abakulu b'ekibuga, nga bayoogaana nti: “Bano abatabangudde ensi batuuse na wano, 7ate Yasoni y'abaaniriza. Bano bonna beeyisa mu ngeri ekontana n'amateeka ga Kayisari nga bagamba nti waliwo kabaka ate omulala, Yezu.” 8Abantu n'abakulu b'ekibuga ne batabanguka bwe baawulira ebigambo bino. 9Bwe baamala okufuna akabega okuva ku Yasoni n'abalala, ne babata.
Pawulo ne Sila mu Beroya
10Abooluganda amangu ago, ekiro ne basindika Pawulo ne Sila e Beroya. Bwe baatuuka eyo, ne bayingira mu sinaagooga y'Abayudaaya. 11Abayudaaya bano bo baali ba kitiibwa okusinga ku b'e Tessalonika, anti bo ekigambo baakikwata n'okwagala kwonna, buli lunaku nga bawenja Ebiwandiiko ebitukuvu, okulaba obanga ebyo bwe biri bityo. 12Ggwe wamma bangi mu bo ne bakkiriza, ko n'abakazi Abagereeki ab'ekitiibwa, ko n'abasajja abawerera ddala. 13Naye Abayudaaya ab'e Tessalonika bwe baamanya nga Pawulo era ayigiriza ekigambo kya Katonda e Beroya, nayo ne batuukayo, ne bajagalaza n'okutabangula ebibiina. 14Abooluganda ne basiibula mangu Pawulo okutuukira ddala ku nnyanja; naye Sila ne Timotewo bo ne basigalayo. 15Abaali bawerekedde Pawulo ne bamutuusiza ddala mu Atena. Bwe yamala okubalagira okugamba Sila ne Timotewo bajje mangu gy'ali, ne basitula.
Pawulo ayigiriza mu Atena
16Pawulo ng'akyabalindirira mu Atena, omwoyo gwe ne gwevujjuula okulaba ng'ekibuga kyonna kijjudde ebifaananyi bya balubaale. 17N'awakananga buli lunaku mu sinaagooga n'Abayudaaya ko n'abasomi, era ne mu mbuga n'abo abaabangayo. 18Abafilozofa abaayitibwanga Abeepikuri n'Abastoyiki ne bawakananga naye; abamu ne bagamba nti: “Omukubi w'amatama ono ayagala kugamba ki nno?” Ko abalala nti: “Afaanana ng'omuyigiriza wa balubaale abagwira.” Anti yali abayigiriza Yezu n'okuzuukira. 19Ne bamukwata, ne bamutwala mu Areyopago,#17,19 Areyopago: Olukiiko olukulu olw'e Atena. ne bagamba nti: “Enjigiriza eno empya gy'obuulira tuyinza okumanya bw'eri? 20Ndaba ebyo by'oleeta biggya mu matu gaffe; awo nno twandyagadde okumanya kye bitegeeza.” 21Kale nno ab'e Atena n'abagwira abaalimu tebaalina kye bakola, wabula okwogera n'okuwuliriza ebiggya.
22Awo Pawulo n'ayimirira wakati mu Areyopago, n'agamba nti: “Mmwe abasajja ab'e Atena, nga bwe ndaba mu buli ngeri muli bantu basomi. 23Kubanga bwe mbadde mpitaayita nga ŋŋenda ntunuulira ebintu byammwe ebitukuvu, ne nsanga omwaliiro okuwandiikiddwa nti: OLWA KATONDA ATAMANYIDDWA. Awo nno kye musinza nga temukimanyi ky'ekyo kye mbategeeza. 24#1 Bak 8,27; Yis 42,5; Ebik 7,48.Katonda eyakola ensi na byonna ebirimu, kubanga ye Mukama w'eggulu n'ensi, tasula mu biggwa ebyakolebwa emikono gy'abantu, 25era taweerezebwa na mikono gy'abantu, kyenkana ng'aliko kye yeetaaga, anti ye yawa bonna obulamu n'omukka era na buli kintu. 26Ate ye yayisa mu muntu omu buli eggwanga ly'abantu, babeere ku lukalu lwonna olw'ensi, ng'akakasizza ebiro n'ensalo z'obutaka bwabwe, 27Katonda bamunoonyenga, bejjuukiriza bamuggukako ne bamuzuula; sso nno buli omu tamuli wala, 28‘kubanga mu ye mwe tubeerera abalamu, mwe tutambulira, mwe tubeererawo;’#17,28 Okuva mu luyimba lwa Epimenide, ow'omu mulembe ogwomukaaga BC. ng'abayimbi bammwe bwe bagamba nti: ‘Manyanga ddala tuli ba lulyo lwe.’#17,28 Okuva mu kikwate Fayimomenaekya Arato ow'omu mulembe ogwokusatu BC. 29Oba nno tuli ba lulyo lwa Katonda, tetwandirowoozezza ate nti Katonda afaanana nga zaabu oba ffeeza, yadde ejjinja, ekifaananyi ekivudde mu mulimu oba mu kugerengetanya kw'omuntu. 30Obudde obw'obutamanya obwo Katonda teyabufaako, naye kaakano alagira abantu bonna wonna babonerere. 31#Zab 9,8; 96,13; 98,9.Kubanga yassaawo olunaku lw'aliramulirako ensi yonna mu butuufu, nga yeeyamba omuntu gwe yassaawo, n'amukakasa mu bantu bonna ng'amuzuukiza mu bafu.”
32Bwe baawulira ku kuzuukira kw'abafu, abamu ne baseka, naye abalala ne bagamba nti: “Tulikuwulira olulala ku ekyo.” 33Pawulo n'abavaako bw'atyo. 34Kyokka abasajja abamu ne bamwegattako ne bakkiriza. Mu abo mwe mwali Diyoniziyo Omwareyopago, ko n'omukyala erinnya lye Damari n'abalala be baali nabo.
Pawulo mu Korinti

Currently Selected:

Ebik 17: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in