YouVersion Logo
Search Icon

Ebik 16

16
1N'ajja e Derube n'e Lisitura. Waaliyo omuyigirizwa, erinnya lye Timotewo, mutabani w'omukazi Omuyudaaya eyali akkirizza naye kitaawe nga Mugereeki. 2Yali ayogerwako bulungi abooluganda ab'omu Lisitura n'ab'omu Yikoniyo. 3Pawulo n'ayagala atambulenga naye; n'amuddira n'amutayirira olw'Abayudaaya abaali mu kifo ekyo, kubanga bonna baali bamanyi nga kitaawe Mugereeki. 4Bwe baalinga bayitaayita mu bibuga, nga batuusa ku bantu ebyasalibwawo Abatume n'abakadde abaali e Yeruzaalemu babikwate. 5Bwe kityo Ekleziya ne zinywezebwa mu kukkiriza, buli lunaku nga zeeyongera omuwendo.
Ayita mu Aziya Entono n'atuuka e Turowa
6Naye ne bayita mu kitundu ky'e Firugiya ne Galasiya, Mwoyo Mutuukirivu ng'amaze okubaziyiza okuyigiriza ekigambo ky'Omukama mu Aziya. 7Awo ne batuuka emitala wa Miziya, ne bagezaako okugenda mu Bisiniya, naye Mwoyo wa Yezu n'atabaganya; 8bwe batyo e Miziya ne bayitawo buyisi, ne bakkirira e Turowa. 9Ekiro, Pawulo n'alabikirwa: omusajja ow'e Masedoniya yali ayimiridde awo ng'amulaajanira nti: “Jjangu eno e Masedoniya otuyambe.” 10Bwe yamala okufuna okulabikirwa okwo, amangu ago ne tuteesa#16,10 Omwogezi, Luka, alabika nga yalinga ne Pawulo mu ŋŋendo ze (laba ne 20,6zid.); bwe kitaba ekyo nga Luka yeeyamba ekiwandiiko ky'oyo eyabanga ne Pawulo mu ŋŋendo ze. okugenda e Masedoniya, nga tutegedde nga Katonda y'atuyise okubayigiriza Evangili.
Pawulo mu Filippi
11Ne tusaabala, ne tugenda e Turowa, ne tujjira ddala e Samoturakiya, ate olwaddirira ne tugenda e Neyapoli; 12ne tuva eyo ne tulaga e Filippi, ekibuga ekikulu mu ssaza ly'e Masedoniya, era ettwale ly'Abaroma. Mu kibuga kino twamalamu ennaku ntonotono. 13Ku lunaku lwa Sabbaato, ne tugenda ebweru w'omulyango gw'ekibuga, ku lubalama lw'omugga gye twalowooza nti gye beegayiririra, ne tutuula ne twogera n'abakazi abaali bakuŋŋaanye. 14Omukazi omu n'atuwulira, erinnya lye Lidiya, ng'ava mu kibuga ky'e Tiyatira; yali atunda engoye eza kakobe, ng'asinza Katonda. Omukama n'amwerula omutima ategereze Pawulo bye yali agamba. 15Bwe yamala okubatizibwa awamu n'ennyumba ye, n'atwegayirira ng'agamba nti: “Obanga mundabye nga ndi mwesigwa eri Omukama, muyingire mu nnyumba yange, mubeere omwo.” N'atuwaliriza.
Pawulo ne Sila basibwa mu kkomera
16Olumu, bwe twali tugenda mu kifo eky'okwegayiririramu, ne wabaawo omuwala eyatusisinkana, ng'aliko omwoyo omulaguzi. Yali agaggawazizza nnyo bakama be ng'alagula. 17N'agoberera Pawulo naffe ng'ajja aleekaana ng'agamba nti: “Abantu bano baweereza ba Katonda Ali Waggulu Ddala, abababuulira ekkubo ery'okulokoka.” 18Ekyo n'akikolera ennaku nnyingi. Pawulo n'anyiiga, n'akebuka, n'agamba omwoyo nti: “Nkulagira mu linnya lya Yezu Kristu, mumaamukeko.” Ne gumumaamukako mu kaseera ako.
19Bannyini muwala bwe baalaba eribadde essuubi lyabwe ery'okufuna nga ligenze, ne bakwata Pawulo ne Sila, ne babawalaawala okubatwala mu mbuga eri abalamuzi. 20Bwe baabatuusa eri abalamuzi ne bagamba nti: “Abantu bano Bayudaaya, bajagalaza ekibuga kyaffe; 21bayigiriza empisa ffe ng'Abaroma ze tutakkirizibwa kutwala n'andibadde okuyisa.” 22#14,19; 2 Kor 11,25.Awo ekibiina ne kibafubutukira wamu; abalamuzi ne babambula, ne balagira bakubwe emiggo. 23Bwe baamala okubateekako ebiwundu bingi, ne babasuula mu kkomera, ne balagira omukuumi w'ekkomera abakuume butiribiri. 24Bwe yamala okukuutirwa atyo, n'abassa mu kkomera ery'omunda, amagulu gaabwe n'agasibira mu nvuba.
25Mu ttumbi, Pawulo ne Sila baali beegayirira nga batendereza Katonda mu nnyimba n'abasibe abalala nga babawuliriza. 26Amangu ago ne wabaawo musisi ow'amaanyi, omwaliiro gw'ekkomera ne gukankana; era mangu ddala enzigi zonna ne zeggulawo, enjegere z'abasibe bonna ne zeeta. 27Omukuumi w'ekkomera bwe yazuukuka, n'alaba ng'enzigi z'ekkomera zonna zeggudde, n'asowola ekitala kye; yali agenda kwetta, anti yali alowooza nti abasibe babombye. 28Pawulo n'aleekaana n'eddoboozi ddene nti: “Teweekola kabi kubanga ffenna weetuli wano.” 29Awo n'asaba emimuli, n'ayingira bunnambiro, n'agwa mu maaso ga Pawulo ne Sila ng'akankana era ng'atidde. 30N'abafulumya ebweru, n'abagamba nti: “Bassebo, kiki kye ndagirwa okukola okulokoka?” 31Bo ne bamugamba nti: “Kkiriza Mukama waffe Yezu Kristu lw'onoolokoka, ggwe n'ennyumba yo yonna.” 32Ne bamuyigiriza ekigambo kya Katonda, na bonna abaali mu nnyumba ye. 33Ku ssaawa eyo yennyini ey'ekiro, n'abatwala n'abanaaza ebiwundu byabwe, naye yennyini n'abatirizibwawo wamu n'ennyumba ye. 34Bwe yamala okubatuusa ewuwe, n'abaleetera emmere, n'asanyuka wamu n'ennyumba ye yonna kubanga yali akkirizza Katonda.
35Bwe bwakya enkya, abalamuzi ne batuma abaserikale nga bagamba nti: “Abantu abo mubate.” 36Omukulu w'ekkomera ebigambo ebyo n'abibuulira Pawulo: “Abalamuzi bantumye okubata; kale nno musituke, mugende mirembe.” 37Naye Pawulo n'abagamba nti: “Bamaze okutukubira mu lujjudde, ffe abatasingiddwa musango, ffe abasajja Abaroma, ne batukasuka mu kkomera, kati batuteera mu nkukutu? Nedda! Bo bennyini be baba bajja batuggyemu.” 38Abaserikale ebigambo ebyo ne babibuulira abalamuzi. Abalamuzi ne batya bwe baawulira nga Baroma, 39Ne bajja ne babeetondera, ne babaggyamu, ne babeegayirira bave mu kibuga. 40Bwe baava mu kkomera, ne bayingira mu nnyumba ya Lidiya. Bwe baamala okulaba ku booluganda, ne babagumya, ne bagenda.
Pawulo ne Sila e Tessalonika

Currently Selected:

Ebik 16: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in