YouVersion Logo
Search Icon

Ebik 15

15
1 # Abal 12,3. Naye #Gal 2,1-10.ne wajjawo abamu abakkirira nga bava mu Buyudaaya, ne bayigiriza abooluganda nti: “Bwe mutatayirirwa ng'empisa ya Musa bw'eri, temuyinza kulokoka.” 2Oluvannyuma lw'okusitukawo obutakkaanya n'empaka, bano bombi, Pawulo ne Barunaba n'abamu ku balala ne batumibwa bambuke e Yeruzaalemu eri Abatume n'abakadde ku kigambo kino. 3Ekleziya n'ebasiibula, ne basalira mu Fenisiya ne Samariya, nga bwe battottola ng'ab'amawanga bwe bakyuse, ne basanyusa nnyo abooluganda. 4Bwe baatuuka e Yeruzaalemu, Ekleziya n'abatume n'abakadde ne babaaniriza; ne bano ne babanyumiza byonna Katonda bye yali akoze wamu nabo. 5Naye abamu ab'omu kibiina ky'Abafarisaayo abaali bakkiriza, ne basituka, ne bagamba nti: “Nabo bateekwa okutayirirwa n'okukuutirwa okukwata amateeka ga Musa.”
Olukiiko ttabamiruka lutuula
6Awo Abatume n'abakadde ne bakuŋŋaana okwekkaanya ekigambo ekyo. 7#10,43.Oluvannyuma lw'okukubaganya ennyo ebirowoozo, Petero n'ayimuka, n'abagamba nti: “Abasajja abooluganda, mumanyi nga mu nnaku ezaayita, Katonda yalonda mu mmwe, ab'amawanga bawulire ekigambo kya Katonda nga kiva mu kamwa kange, bakikkirize. 8#2,4; 10,44.Katonda amanyi emitima yawa okujulirwa ku bo, n'abawa ne Mwoyo Mutuukirivu nga naffe bwe yatukola. 9Teyalaga njawulo wakati waffe nabo, wabula yatukuza emyoyo gyabwe n'okukkiriza. 10Kale nno lwaki kati mukema Katonda nga musiba abayigirizwa ekikoligo mu bulago bajjajjaffe kye bataasobola naffe ffennyini kye tutayinza kwetikka? 11Olw'eneema ya Yezu tukkiriza nga tulirokoka nga nabo bwe balirokoka.”
12Olukiiko lwonna ne lusiriikirira; ne bawuliriza Barunaba ne Pawulo nga bateetula obubonero n'ebyewuunyo Katonda bye yabakoza mu b'amawanga. 13Bwe baasirissa ebyo, Yakobo n'addamu, n'agamba nti: “Basajja abooluganda, mumpulire. 14Simewoni anyumizza nga Katonda bwe yasooka okukyalira ab'amawanga alondemu abantu olw'erinnya lye. 15Ebigambo by'abalanzi bituukana bulungi na kino nga bwe byawandiikibwa nti:
16 # Yis 45,21; Yer 12,15; Amos 9,11-12. “ ‘Oluvannyuma ndikomawo
ne nzimba buggya weema ya Dawudi eyagwa;
ndiddaabiriza ebifulukwa byayo,
ndigizzaawo.
17Abantu abalala balyoke banoonye Omukama,
n'amawanga gonna agayitibwa erinnya lyange,
Omukama y'agamba akola bino,
18okuva ddi na ddi ategeeza bino.’
19Kyenva ŋŋamba nti tuleme kuteganya b'amawanga abo abazze eri Katonda, 20#Okuv 34,15-17; Abal 17,10-16; 18,6-23.wabula tubawandiikire, tubagambe beewale okwejaajaamya n'ebiwongere balubaale, n'eby'obukaba, n'ensolo entuge ko n'omusaayi. 21Anti okutandika n'amazadde ag'edda, mu buli kibuga, Musa abadde n'abamuyigiriza; anti ku buli Sabbaato mu buli sinaagooga bamusoma.”
Ensalawo y'olukiiko
22Abatume n'abakadde n'Ekleziya yenna ne basiima okulonda mu bo abasajja, babatume mu Antiyokiya, bagende ne Pawulo ne Barunaba. Ne batuma Yuda ayitibwa Barusabba ne Sila, abasajja abakulu mu booluganda, 23ne babakwasa ebbaluwa eno, nti: “Abooluganda, Abatume n'abakadde, eri abooluganda Abaamawanga abali mu Antiyokiya, ne mu Siriya ne mu Silisiya, tubalamusa. 24Twawulira ng'abamu mu ffe babeeraliikirizza olw'ebigambo bye baayogera, ne batabangula emitima gyammwe, sso nga tetubalagiranga. 25Bwe tukuŋŋaanye, ne tulaba nga kirungi okulonda abasajja tubabasindikire wamu ne bannaffe abaagalwa Barunaba ne Pawulo, 26abasajja abaawaayo obulamu bwabwe okubeera erinnya lya Mukama waffe Yezu Kristu. 27Kyetuvudde era tubatumira Yuda ne Sila, abanaababuulira ebintu ebyo mu kamwa. 28Kubanga Mwoyo Mutuukirivu wamu naffe tusiimye obutabatikka mugugu mulala wabula bino ebitalekeka: 29Mwewale bye bawongedde balubaale, n'omusaayi, n'ensolo entuge, era n'obukaba. Ebyo bwe munaabyewala, munaaba mukoze bulungi. Mweraba.”
30Bo olwabasiibula, ne bakkirira mu Antiyokiya; bwe baamala okukuŋŋaanya ekibiina, ne bakikwasa ebbaluwa. 31Abantu bwe baagisoma, ne basanyukira obubaka obubagumya. 32Yuda ne Sila, kubanga nabo baali balanzi, ne bagumya n'okuzzaamu amaanyi abooluganda n'ebigambo bingi. 33Nga bamazeeyo akabanga, abooluganda ne babasiibula mirembe, ne badda eri abaabatuma.#15,33 Ezimu zongerako: 34 Naye Sila n'asiima asigaleyo. Ezimu era ne zongerako: Yuda n'agenda yekka. 35Pawulo ne Barunaba n'abalala bangi ne basigala mu Antiyokiya nga babayigiriza era nga basomesa ekigambo ky'Omukama.
C. OLUGENDO LWA PAWULO OLWOKUBIRI MU MAWANGA
Pawulo ne Barunaba baawukana
36Ennaku bwe zaayitawo, Pawulo n'agamba Barunaba nti: “Gira tuddeyo, tulambule ku booluganda mu buli kibuga gye twabuulira ekigambo ky'Omukama, tulabe nga bwe bali.” 37Barunaba n'ayagala okutwala Yowanna ayitibwa Mariko. 38#13,13.Pawulo n'akalambira ku ky'obutagenda n'oyo eyabaawukanako nga bali e Pamfiliya n'atagenda kukola nabo. 39Ne wasitukawo obutakkaanya, ekyabaviirako okwawukana; Barunaba n'akwata Mariko n'awunguka n'agenda mu Kupuro. 40Naye Pawulo n'alonda Sila, n'asitula n'abooluganda nga bamukwasizza eneema ya Katonda. 41N'ayitaayita mu Siriya ne mu Silisiya ng'anyweza Ekleziya.
Pawulo afuna Timotewo e Likawoniya

Currently Selected:

Ebik 15: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in