Ebik 18
18
1Oluvannyuma, n'ava e Atena n'alaga e Korinti. 2Eyo gye yasanga Omuyudaaya omu, erinnya lye Akwila, enzaalwa y'omu Ponto, nga ky'ajje ave mu Yitale ne mukazi we Prisilla, kubanga Kulawudiyo yali alagidde Abayudaaya bonna okuva mu Roma. N'agenda abalabe. 3Kubanga baali ba mulimu gumu, anti baali balusi ba weema, n'abeeranga nabo nga bakola. 4N'akaayananga mu sinaagooga buli Sabbaato, n'akkirizisa Abayudaaya n'Abagereeki.
5Sila ne Timotewo bwe baatuuka nga bava mu Masedoniya, Pawulo ne yeemalira ku kuyigiriza, ng'akakasa eri Abayudaaya nti Yezu ye Kristu. 6Naye bwe baamuwakanya n'okumuvuma, n'akunkumula ebyambalo bye, n'abagamba nti: “Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe! Nze siriiko musango; n'okuva kati nzija kulaga mu b'amawanga.” 7N'avaayo n'alaga mu nnyumba y'omusajja ayitibwa Titiyo Yusito, omusajja eyali asinza Katonda; ennyumba ye yali eriranaganye ne sinaagooga. 8Kurisipo omukulu wa sinaagooga n'akkiriza Omukama, wamu n'ab'omu maka ge bonna. Era ab'omu Korinti bangi bwe baawulira, ne bakkiriza, ne babatizibwa.
Pawulo mu mbuga ewa Galliyo
9 #
Yis 43,5; Yer 1,8. Omukama n'agamba Pawulo olumu ng'amulabikidde ekiro nti: “Totya, yogera, tosirika; 10kubanga ndi naawe, ate tewali n'omu ajja kukulumba kukukolera bubi; kubanga nnina abantu bangi mu kibuga kino.” 11Eyo Pawulo n'amalayo omwaka gumu n'emyezi mukaaga ng'ayigiriza mu bo ekigambo kya Katonda.
12Galliyo bwe yali nga ye wessaza e Akayiya, Abayudaaya ne balumbira wamu Pawulo, ne bamukuba mu mbuga, 13ne bagamba nti: “Omusajja ono afukuutirira abantu basinzenga mu ngeri emenya amateeka.” 14Pawulo yali agenda okwasamya akamwa ati, Galliyo n'agamba Abayudaaya nti: “Singa ensonga eyo ebadde ku kweyisa obubi oba ku buzzi bwa misango, nandibawulirizza, mmwe Abayudaaya; 15naye oba empaka zammwe ziri ku bigambo na mannya na ku mateeka gammwe, mmwe muba mulaba. Sandyagadde kubeera mulamuzi mu nsonga zino.” 16N'abagoba mu mbuga. 17Naye bonna ne bakwata Sostene omukulu wa sinaagooga, ne bamukubira mu maaso g'embuga. Ye Galliyo teyabyefiirako.
Pawulo addayo e Antiyokiya ng'ayitira mu Efezi
18 #
Emiw 6,18. Naye ye Pawulo n'ayongera okusigalayo ennaku nnyingi, n'alyoka asiibula abooluganda, n'asaabala n'agenda mu Siriya wamu ne Prisilla ne Akwila. E Cenkureya n'amwako enviiri ze olw'obweyamo bwe yali akubye. 19Ne batuuka mu Efezi, n'abaleka awo, ye n'ayingira mu sinaagooga, n'awakana n'Abayudaaya. 20Ne bamwegayirira ayongere okusigala nabo, naye ye n'ataganya; 21n'asiibula ng'agamba nti: “Katonda ng'ayagadde ndikomawo gye muli.” N'asaabala okuva mu Efezi. 22N'aserengeta e Kayisariya, n'ayambuka, n'alamusa Ekleziya, n'akkirira mu Antiyokiya.
D. OLUGENDO LWA PAWULO OLWOKUSATU MU MAWANGA
Apollo
23Eyo ng'amazeeyo akabanga, n'asitula, n'agenda ng'ayitaayita mu nsi y'e Galasiya ne Firugiya ng'anyweza abayigirizwa bonna.
24Awo Omuyudaaya omu erinnya lye Apollo, omuzaaliranwa w'omu Alekisanduriya, n'ajja mu Efezi. Yali mwogezi mulungi, era nga mukugu mu Biwandiiko ebitukuvu. 25Yali ayigiriziddwako ekkubo ly'Omukama; yali abugujja mu mwoyo, ng'ayigiriza mu butuufu ebifa ku Yezu, sso yali amanyi batismu ya Yowanna yokka. 26Awo n'asooka okwogera mu sinaagooga n'obuvumu; Prisilla ne Akwila bwe baamuwulira, ne bamutwala ewaabwe, ne bongera okumunnyonnyola mu ngeri esingawo obutuufu ekkubo ly'Omukama. 27Ate bwe yali ayagala okuwunguka alage mu Akayiya, abooluganda ne bamuwagira, ne bawandiikira abayigirizwa bamwanirize. Bwe yatuukayo, n'agasa nnyo abo abaali bakkirizza olw'eneema, 28kubanga mu lujjudde yawakananga n'amaanyi n'asinga Abayudaaya nga yeeyamba Ebiwandiiko ebitukuvu okukasa nga Yezu ye Kristu.
Pawulo asisinkana abayigirizwa ba Yowanna mu Efezi
Currently Selected:
Ebik 18: BIBU1
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.