YouVersion Logo
Search Icon

Okubikkulirwa 6

6
Envumbo omusanvu
(6:1—8:5)
Envumbo omusanvu
1Awo ne ndaba Omwana gw'endiga nga abembula emu ku nvumbo omusanvu, ne mpulira ekimu ku biramu ebina nga kyogera n'eddoboozi ery'okubwatuka nti, “Jjangu.”#Kub 4:6; 5:1,2,6,8 2Ne ndaba, era, laba, embalaasi enjeru, n'oyo agituddeko ng'alina omutego, n'aweebwa engule, n'agenda ng'awangula, n'awangulira ddala.#Zek 1:8; 6:1-3
3Bwe yabembula envumbo eyokubiri, ne mpulira ekiramu eky'okubiri nga kyogera nti, “Jjangu.” 4N'evaayo embalaasi endala eya lukunyu, era oyo eyali agituddeko n'aweebwa ekitala ekinene n'obuyinza okuggyawo emirembe ku nsi, abantu battiŋŋane bokka na bokka.
5Bwe yabembula envumbo ey'okusatu ne mpulira ekiramu eky'okusatu nga kyogera nti, “Jjangu.” Ne ndaba, era, laba, embalaasi enzirugavu, n'eyali agituddeko ng'alina ekigera mu mukono gwe. 6Ne mpulira ng'eddoboozi wakati w'ebiramu ebina nga lyogera nti, “Ekiyi ky'eŋŋaano kya ddinaali, n'ebiyi bisatu ebya sayiri bya ddinaali, kyokka amafuta n'omwenge tobyonoona.”
7Bwe yabembula envumbo ey'okuna, ne mpulira eddoboozi ly'ekiramu ekyokuna nga kyogera nti, “Jjangu.” 8Ne ndaba, era, laba, embalaasi eya kyenvu, n'eyali agituddeko, erinnya lye Kufa, ne Magombe n'agenda naye. Ne baweebwa obuyinza ku kitundu ekyokuna eky'ensi, okutta n'ekitala n'enjala n'olumbe n'ensolo z'ensi.#Kos 13:14, Yer 15:3, Ez 5:12; 14:21; 29:5; 33:27; 34:28
9Bwe yabembula envumbo ey'okutaano, ne ndaba wansi w'ekyoto emyoyo gy'abo abattibwa olw'ekigambo kya Katonda, n'olw'obujulirwa bwe baalina, #Kub 8:5; 14:18; 16:7 10ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, nga boogera nti, “Olituusa wa, Mukama, omutukuvu era ow'amazima, obutasala musango n'obutawalana ggwanga olw'omusaayi gwaffe ku bo abatuula ku nsi?”#Zek 1:12, Zab 79:10, Ma 32:43, Lub 4:10, 2 Bassek 9:7, Kos 4:1 11Ne baweebwa buli muntu ekyambalo ekyeru, ne bagambibwa okugira nga bawummula, okutuusa baweereza bannaabwe ne baganda baabwe lwe baliwera, abagenda okuttibwa, nga nabo bwe battibwa.#Kub 3:4; 7:9, Mat 23:32
12Bwe yabembula envumbo ey'omukaaga, ne wabaawo ekikankano kinene, enjuba n'eddugala ng'olugoye olw'ebyoya, n'omwezi gwonna ne guba ng'omusaayi;#Is 13:10, Ez 32:7,8, Yo 2:30, Luk 21:25 13n'emmunyeenye ez'omu ggulu ne zigwa ku nsi, ng'omutiini bwe gukunkumula ebibala byagwo, nga gunyeenyezebwa empewo ennyingi.#Is 34:4; 13:10 14N'eggulu ne liggibwawo, ng'omuzingo gw'ekitabo bwe guzingibwa; na buli lusozi n'ekizinga ne biggibwawo mu bifo byabyo. 15ne bakabaka b'ensi, n'abalangira, n'abagabe, n'abagagga, n'ab'amaanyi, na buli muddu n'ow'eddembe ne beekweka mu mpuku ne mu mayinja ag'oku nsozi;#Zab 48:4; 2:2, Is 24:21; 34:12; 2:10,19,21, Yer 4:29 16ne bagamba ensozi n'amayinja nti, “Mutugweko, mutukweke mu maaso g'oyo atudde ku ntebe, ne mu busungu bw'Omwana gw'endiga. #Kos 10:8, Is 6:1, Zab 47:8, Luk 23:30 17Kubanga olunaku olukulu olw'obusungu bwabwe lutuuse, era ani ayinza okulugumira?”#Yo 2:11,31, Mal 3:2, Zef 1:14,18, Bar 2:5

Currently Selected:

Okubikkulirwa 6: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in