YouVersion Logo
Search Icon

Okubikkulirwa 5

5
Omuzingo gw'Ekitabo n'Omwana gw'Endiga
1Ne ndaba mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo eyali atudde ku ntebe omuzingo nga guwandiikiddwa munda ne kungulu, nga gusibiddwa nnyo n'envumbo musanvu.#Is 6:1; 29:11, Zab 47:8, Kub 4:2, Ez 2:9,10 2Ne ndaba malayika ow'amaanyi ng'abuuza mu eddoboozi ddene nti, “Ani asaanidde okubembula envumbo omusanvu n'okwanjuluza omuzingo?” 3Ne watabaawo n'omu mu ggulu newakubadde ku nsi newakubadde wansi w'ensi, eyayinza okwanjuluza omuzingo wadde okugutunulamu. 4Awo nze ne nkaaba nnyo amaziga, kubanga tewaalabikawo eyasaanira okwanjuluza omuzingo newakubadde okugutunulamu. 5Awo omu ku bakadde n'aŋŋamba nti, “Tokaaba, laba, Empologoma ey'omu kika kya Yuda, ekikolo kya Dawudi, eyawangula, y'ayinza okwanjuluza omuzingo n'okubembula envumbo zaagwo omusanvu.”#Lub 49:9, Is 11:1,10, Kub 22:16 6Ne ndaba wakati w'entebe n'ebiramu ebina, ne wakati w'abakadde, Omwana gw'endiga ng'ayimiridde ng'afaanana ng'eyattibwa, ng'alina amayembe musanvu, n'amaaso musanvu, gye myoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu nsi zonna.#Is 53:7; 11:2, Yok 1:29,36, Kub 4:5, Zek 4:10 7N'agenda n'aggya omuzingo mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo atudde ku ntebe.#Is 6:1, Zab 47:8 8Bwe yakwata omuzingo, ebiramu ebina n'abakadde abiri mu bana (24) ne bavuunama mu maaso g'Omwana gw'endiga, buli muntu ng'alina ennanga n'ebibya ebya zaabu ebijjudde obubaane, kwe kusaba kw'abatukuvu.#Zab 141:2, Kub 14:2; 15:2; 8:3,4 9Ne bayimba oluyimba oluggya, nga bayimba nti,
“Gwe osaanidde okutoola omuzingo n'okubembula envumbo zaagwo,
kubanga wattibwa omusaayi gwo ne gununulira Katonda abantu
okuva mu buli kika n'olulimi n'abantu n'eggwanga,#Zab 33:3; 144:9
10n'obafuula obwakabaka ne bakabona ba Katonda,
era be balifuga ku nsi.”#Kuv 19:6, Is 61:6, Kub 1:6; 20:6; 22:5
11Awo ne ntunula, era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika abangi bukadde na bukadde, nkumi na nkumi nga beetoolodde entebe wamu n'ebiramu n'abakadde, #1 Bassek 22:19, Dan 7:10 12nga boogera mu ddoboozi ddene nti, “Asaanidde Omwana gw'endiga eyattibwa okuweebwa obuyinza n'obugagga n'amagezi n'amaanyi n'ettendo n'ekitiibwa n'omukisa.”#Is 53:7, 1 Byom 29:11, Baf 2:8-10 13Awo ne ndyoka mpulira buli kitonde ekiri mu ggulu, ne ku nsi, ne wansi w'ensi, ne mu nnyanja n'ebirimu byonna nga bigamba nti, “Eri oyo atudde ku ntebe, n'eri Omwana gw'Endiga, omukisa n'ettendo, ekitiibwa n'amaanyi byabwe emirembe n'emirembe.”#Is 6:1, Zab 47:8 14N'ebiramu ebina ne byogera nti, “Amiina.” N'abakadde ne bavuunama ne basinza.#Kub 4:10; 19:4

Currently Selected:

Okubikkulirwa 5: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in