YouVersion Logo
Search Icon

Okubikkulirwa 4

4
Yokaana bye yayolesebwa
(4:1—5:14)
Entebe ey'Obwakabaka mu ggulu
1Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, era, laba, oluggi olugguddwawo mu ggulu, ne mpulira eddoboozi ng'ery'akagombe lye nali nsoose okuwulira nga lyogera nange, ne liŋŋamba nti, “Linnya otuuke wano, nange nnaakulaga ebiteekwa okubaawo oluvannyuma lwa bino.”#Kuv 19:16,24, Dan 2:29, Kub 1:10,19 2Amangwago nga ndi mu Mwoyo, ne ndaba entebe ey'Obwakabaka eyali eteekeddwa mu ggulu, era nga waliwo eyali atudde ku ntebe eyo!#Ez 1:26; 10:1, Is 6:1, Zab 47:8 3N'oyo eyali agituddeko yali afaanana ng'ejjinja erya yasepi n'erya sadiyo okuyakaayakaana, era ng'entebe eyo yeetooloddwa musoke ng'ayakaayakaana nga zumaliidi. #Ez 1:26-28 4Entebe ey'Obwakabaka yali yeetooloddwa entebe endala ez'Obwakabaka abiri mu nnya zituuliddwako abakadde abiri mu bana (24), nga bambadde engoye enjeru, era nga batikidde engule eza zaabu ku mitwe gyabwe.#Is 24:23, Kub 3:4; 5:10 5Ne mu ntebe eyo ne muvaamu okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuuka. Mu maaso g'entebe waliwo ettaala ezaaka musanvu ez'omuliro, nga gy'emyoyo omusanvu egya Katonda. #Kuv 19:16, Ez 1:13, Kub 8:5; 11:19; 16:18, Zek 4:2 6Ne mu maaso g'entebe waliwo ekiri ng'ennyanja ey'endabirwamu, nga kifaanana nga kulusitalo. Wakati w'entebe okugyetooloola, waliwo ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi n'emabega. #Ez 1:22,26; 10:1, Is 6:1 7Ekiramu ekisooka kyali kifaanana ng'empologoma, eky'okubiri nga kifaanana ng'ennyana, eky'okusatu kyalina amaaso ng'ag'omuntu n'ekiramu ekyokuna kyali kifaanana ng'empungu ebuuka.#Ez 1:10; 10:14 8Buli kimu ku biramu bino ebina, nga kirina ebiwaawaatiro mukaaga ebijjudde amaaso enjuyi zonna ne munda, era emisana n'ekiro awatali kuwummula byogera nti,
“Omutukuvu, Omutukuvu, Omutukuvu, Mukama Katonda Omuyinza w'ebintu byonna,
eyabaawo era abaawo era ajja okubaawo.”#Is 6:2,3; 41:4, Ez 1:18; 10:12, Am 4:13, Kuv 3:14
9Era ebiramu buli lwe byawanga ekitiibwa n'ettendo n'okwebaza oyo atudde ku ntebe, omulamu emirembe n'emirembe,#Is 6:1, Zab 47:8, Dan 4:34; 6:26; 12:7 10abakadde abiri mw'abana (24) ne bavuunama mu maaso g'oyo atudde ku ntebe, era ne basinza oyo omulamu emirembe n'emirembe, era ne basuula engule zaabwe mu maaso g'entebe, nga boogera nti,#Kub 5:14
11“Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe,
okuweebwanga ekitiibwa n'ettendo n'obuyinza:
kubanga ggwe wa bitonda byonna,
era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.”

Currently Selected:

Okubikkulirwa 4: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in