YouVersion Logo
Search Icon

Okubikkulirwa 3

3
Ebbaluwa eyawandiikirwa ab'omu Kkanisa y'omu Saadi
1 “Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Saadi wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda, n'emmunyeenye omusanvu, nti Mmanyi ebikolwa byo, ng'olina erinnya ery'okuba omulamu, era oli mufu. # Kub 5:6; 1:16 2Tunula, onyweze ebisigaddeyo ebitannaba kufa, kubanga ssinnalaba mu bikolwa byo ebituukiridde maaso ga Katonda wange.#Ez 34:4 3Kale jjukira bye waweebwa ne bwe wawulira, obikwate era weenenye. Kale bw'ototunule, ndijja ng'omubbi, so tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gy'oli.#1 Bas 5:2, Kub 16:15, Mat 24:43 4Naye olina amannya matono ag'abantu mu Saadi abatannayonoona ngoye zaabwe, balitambula nange mu ngoye njeru, kubanga basaanidde.#Yud 23 5Bw'atyo awangula alyambazibwa engoye enjeru, era sirisangula n'akatono linnya lye mu kitabo ky'obulamu, era ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange, ne mu maaso ga bamalayika be.#Kuv 32:32,33, Zab 69:28, Kub 4:4; 6:11; 7:9, Baf 4:3, Mat 10:32 6Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.”
Ebbaluwa eyawandiikirwa ab'omu Kkanisa y'omu Firaderufiya
7 “Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Firaderufiya wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera oyo omutukuvu, ow'amazima, alina ekisumuluzo kya Dawudi, aggulawo, ne wataba aggalawo, aggalawo, ne wataba aggulawo, # Is 22:22, Yob 12:14 8nti Mmanyi ebikolwa byo. Laba, nkugguliddewo oluggi, omuntu yenna lw'atayinza kuggala; kubanga olina amaanyi matono, n'okwata ekigambo kyange, n'oteegaana linnya lyange.#1 Kol 16:9 9Laba, nga ab'omu kkuŋŋaaniro lya Setaani abeeyita Abayudaaya, so si bo, naye balimba; laba, ndibaleeta okujja okusinza mu maaso g'ebigere byo, era ndibamanyisa nga nnakwagala.#Is 43:4; 45:14; 49:23; 60:14; 66:23 10Kubanga weekuuma ekigambo eky'okugumiikiriza kwange, era nange ndikukuuma obutayingira mu kiseera eky'okukemebwa, ekigenda okujja ku nsi zonna, okukema abo abatuula ku nsi.#Kub 13:10, Beb 10:36, Luk 21:19, 2 Tim 2:12 11Njija mangu, nyweza ky'olina, omuntu yenna aleme okutwala engule yo.#Kub 1:3; 2:5,10 12Awangula ndimufuula empagi mu Yeekaalu ya Katonda wange, so talifuluma nate bweru, nange ndiwandiika ku ye erinnya lya Katonda wange, n'erinnya ly'ekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya, ekikka okuva mu ggulu eri Katonda wange, n'erinnya lyange eriggya.#Ez 48:35, Bag 2:9, Is 62:2; 65:15, Kub 14:1; 22:4; 21:2 13Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.”
Ebbaluwa eyawandiikirwa ab'omu Kkanisa y'e Lawodikiya
14 “Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Lawodikiya wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera oyo Amiina, omujulirwa omwesigwa era ow'amazima, olubereberye lw'okutonda kwa Katonda, # Zab 89:37, Nge 8:22, Yok 1:3, Bak 1:15 15nti Mmanyi ebikolwa byo, nga tonnyogoga so tobuguma, waakiri obe ng'onnyogoga oba obuguma.#Kub 2:2, Bar 12:11 16Naye kubanga oli wa kibuguumirize, nga tonnyogoga so tobuguma, ndikuwandula okuva mu kamwa kange. 17Kubanga oyogera nti, Ndi mugagga, era ngaggawadde, so ssiriiko kye nneetaaga, so tomanyi ng'oli munaku ggwe era asaasirwa era omwavu era omuzibe w'amaaso era ali obwereere. #Kos 12:8, 1 Kol 3:18; 4:8 18Nkuwa amagezi okugula gye ndi ezaabu eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale, n'engoye enjeru, olyoke oyambale, era ensonyi ez'obwereere bwo zireme okulabika; era onguleko n'eddagala ery'okusiiga ku maaso go, olyoke olabe.#1 Peet 1:7, Is 55:1, Kub 16:15 19Nze bonna be njagala mbanenya, era mbabuulirira, kale nyiikira weenenye.#Nge 3:12, 1 Kol 11:32, Beb 12:6 20Laba, nnyimiridde ku luggi, nkonkona, omuntu yenna bw'awulira eddoboozi lyange, n'aggulawo oluggi, nnaayingira gy'ali, era nnaaliira wamu naye, naye nange.#Mak 13:35, Yok 14:23, Luk 12:36; 22:29 21Awangula ndimuwa okutuula awamu nange ku ntebe yange ey'obwakabaka, era nga nange bwe nnawangula, ne ntuula wamu ne Kitange ku ntebe ye ey'obwakabaka.#Mat 19:28 22Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.”

Currently Selected:

Okubikkulirwa 3: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in