YouVersion Logo
Search Icon

Okubikkulirwa 7

7
Abantu 144,000 bateekebwako envumbo
1Oluvannyuma ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku nsonda nnya ez'ensi, nga bakutte empewo nnya ez'ensi, empewo yonna ereme okukunta ku nsi, newakubadde ku nnyanja, newakubadde ku muti gwonna.#Ez 7:2; 37:9, Dan 7:2, Zek 6:5, Mat 24:31 2Ne ndaba malayika omulala ng'alinnya okuva ebuvanjuba, ng'alina akabonero ka Katonda omulamu, n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba bamalayika abana, abaaweebwa okwonoona ensi n'ennyanja, 3ng'ayogera nti, “Temwonoona nsi, newakubadde ennyanja, newakubadde emiti, okutuusa lwe tulimala okuteeka envumbo ku byenyi by'abaweereza ba Katonda waffe.” #Ez 9:4,6 4Ne mpulira omuwendo gwabwe abaateekebwako envumbo, nga baali emitwalo kkumi n'ena mu enkumi nnya (144,000) okuva mu buli kika ky'abaana ba Isiraeri.#Kub 14:1,3 5Ab'omu kika kya Yuda abaateekebwako envumbo omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Lewubeeni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Gaadi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), 6Ab'omu kika kya Aseri omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Nafutaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Manase omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), 7Ab'omu kika kya Simyoni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Leevi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Isakaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), 8Ab'omu kika kya Zebbulooni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Yusufu omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), Ab'omu kika kya Benyamini abaateekebwako envumbo omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000).
9Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina kinene omuntu yenna ky'atayinza kubala, nga bava mu buli ggwanga, mu bika n'abantu n'ennimi, nga bayimiridde mu maaso g'entebe ne mu maaso g'Omwana gw'endiga, nga bambadde ebyambalo ebyeru, n'amatabi g'enkindu mu mikono gyabwe;#Kub 6:11 10ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, nga boogera nti, “Obulokozi bwa Katonda waffe atudde ku ntebe n'Omwana gw'endiga.”#Kub 12:10 11Ne bamalayika bonna baali bayimiridde nga beetoolodde entebe n'abakadde n'ebiramu ebina, ne bavuunama amaaso gaabwe mu maaso g'entebe, ne basinza Katonda,#Kub 5:11; 11:16 12nga boogera nti, “Amiina, omukisa n'ekitiibwa n'amagezi n'okwebaza n'ettendo n'obuyinza n'amaanyi bibenga eri Katonda waffe emirembe n'emirembe, Amiina.” 13Omu ku bakadde n'addamu, n'ambuuza nti, “Bano abambadde ebyambalo ebyo ebyeru, be baani, era bava wa?” 14Ne mmugamba nti, “Mukama wange, gw'omanyi.” N'aŋŋamba nti, “Bano be baava mu kubonaabona kuli okungi, ne bayoza ebyambalo byabwe, ne babitukuza mu musaayi gw'Omwana gw'endiga.”#Dan 12:1, Lub 49:11, Mat 24:21, Beb 9:14
15“Kyebavudde babeera mu maaso g'entebe ya Katonda;
ne bamuweerezanga emisana n'ekiro mu Yeekaalu ye,
n'oyo atudde ku ntebe alitimba eweema ye ku bo.#Kub 21:3,22
16Tebalirumwa njala nate, so tebalirumwa nnyonta nate,
so omusana tegulibookya, newakubadde okwokya kwonna; #Is 49:10
17kubanga Omwana gw'endiga ali wakati w'entebe anaabalundanga,
era alibaleeta eri enzizi ez'amazzi ag'obulamu,
era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”#Ez 34:23, Kub 5:6, Yer 2:13; 31:16, Zab 23:2, Is 25:8

Currently Selected:

Okubikkulirwa 7: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in