Zabbuli 121
121
Oluyimba olw'oku madaala.
Mukama omukuumi waffe
1Nnaayimusa amaaso gange eri ensozi;
Okubeerwa kwange kuliva wa?#Zab 123:1, Yer 3:23
2Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,
Eyakola eggulu n'ensi.#Zab 115:15; 124:8
3Taliganya kigere kyo okusagaasagana;
Akukuuma taabongootenga.#1 Sam 2:9, Zab 41:2; 127:1, Nge 3:26, Is 27:3
4Laba, oyo akuuma Isiraeri
Taabongootenga so teyeebakenga.#Zab 32:6; 69:1,2
5Mukama ye mukuumi wo;
Mukama kye kisiikirize kyo ku mukono gwo ogwa ddyo.#Zab 16:8; 91:1
6Enjuba terikwokya emisana,
Newakubadde omwezi ekiro.#Is 49:10
7Mukama anaakukuumanga eri obubi bwonna;
Ono ye anaakuumanga emmeeme yo.#Zab 91:10
8Mukama anaakukuumanga amagenda go n'amadda,
Okuva leero n'okutuuka emirembe gyonna.#Ma 28:6
Currently Selected:
Zabbuli 121: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.