Zabbuli 120
120
Oluyimba olw'oku madaala.
Okukabirira Mukama okuyambibwa
1Mu kunakuwala kwange, nkoowoola Mukama,
Nange anziremu.#Zab 118:5, Yob 2:2
2Mponya, Ayi Mukama,
eri emimwa egy'obulimba,
N'eri olulimi olw'obukuusa.
3Oliweebwa ki, kiki ekinakukolebwako nate,
Ggwe olulimi olw'obukuusa?#Yak 3:6
4Obusaale obw'obwogi obw'abazira,
Era n'amanda ag'entaseesa.#Zab 127:4; 140:10
5Zinsanze, kubanga ntambulira mu Meseki
Kubanga ntuula mu weema za Kedali!#Is 21:16, Yer 49:28, Ez 27:13,21
6Mbadde ennaku nnyingi
Awamu n'abantu abakyawa emirembe.
7Nze njagala emirembe;
Naye bwe njogera,
baagala lutalo.
Currently Selected:
Zabbuli 120: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.