Zabbuli 119
119
ALEFU#119:0 ALEFU Zabbuli eno yagabanyizibwamu ebitundu abiri mu bibiri nga Walifu z'olwebbulaniya bwe zenkana. Alefu ye walifu esooka
Obukulu bwa mateeka ga Mukama
1Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu,
Abatambulira mu mateeka ga Mukama.#Lub 17:1, Zab 128:1
2Balina omukisa abo abeekuuma bye yategeeza,
Abamunoonya n'omutima gwabwe gwonna.#Ma 4:29, 2 Byom 15:2
3era abatasobya,
Naye abatambulira mu makubo ge.
4Watukuutira ebiragiro byo,
Tubikwatenga n'obwegendereza.
5Singa amakubo gange ganywedde
Mu kukwata ebiragiro byo!
6Bwe ntyo bwe siikwatibwenga nsonyi,
Bwe nnaalowoozanga bye walagira byonna.#Yob 22:26, Zab 119:80
7Nnaakutenderezanga n'omutima omulungi,
Bwe ndiba nga njize emisango gyo egy'ensonga.
8Nnaakwatanga amateeka go;
Nkwegayiridde, tondekera ddala.#Zab 38:21; 71:9,18
BEESI
9Omuvubuka anaalongoosanga atya ekkubo lye?
Nga yeegendereza ng'ekigambo kyo bwe kiri.#Nge 1:4
10N'omutima gwange gwonna nkunoonya;
Tonzikiriza okukyama okuva ku mateeka go.
11Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange,
Nneme okwonoona mu maaso go.#Zab 37:31, Luk 2:19,51
12Weebazibwa, Ayi Mukama;
Onjigirizenga amateeka go.
13N'emimwa gyange mbuulidde
Emisango gyonna egy'akamwa ko.#Zab 40:9
14Nsanyukidde ekkubo ly'ebyo bye wategeeza,
Nga asanyukira obugagga bwonna.#Nge 3:13-15; 8:10,11
15Nnaafumiitirizanga ebiragiro byo.
Era nnaalowoozanga amakubo go.
16Nnaasanyukiranga amateeka go:
Seerabirenga kigambo kyo.
GIMERI
17Onkolere omuddu wo eby'ekisa ekingi,
mbeerenga omulamu;
Bwe ntyo bwe nnaakwatanga ekigambo kyo.#Zab 13:6
18Onzibule amaaso gange, ndabe
Eby'ekitalo ebiva mu mateeka go.
19Nze ndi mutambuze mu nsi:
Tonkisa bye walagira.#Zab 39:12
20Emmeeme yange ekutuse olw'okuyaayaana
Kw'eyaayaanira emisango gyo ebiro byonna.#Zab 42:1,2
21Onenyezza ab'amalala abakolimirwa,
Abakyama okuleka bye walagira.#Ma 27:26
22Onzigyeko okuvumibwa n'okunyoomebwa;
Kubanga nneekuumye bye wategeeza.
23Era n'abalangira batuula ne banjogerako obubi:
Naye omuddu wo nnafumiitiriza amateeka go.
DALESI
24Era bye wategeeza bye nsanyukira,
Era ebyo be bantu be nteesa nabo.#Bar 7:22
25Emmeeme yange yeegasse n'enfuufu:
Onzuukize ng'ekigambo kyo bwe kiri.#Zab 44:25
26Nnayatula amakubo gange, naawe n'onziramu:
Onjigirize amateeka go.
27Ontegeeze ntegeere ekkubo ery'ebiragiro byo:
Ne ndyoka nfumiitiriza emirimu gyo egy'ekitalo.
28Emmeeme yange esaanuuse olw'okunyiikaala:
Ompe amaanyi ng'ekigambo kyo bwe kiri.#Zab 22:14
29Onziggyeeko ekkubo ery'obulimba:
Era ompe amateeka go n'ekisa.#Nge 30:8
30Nneerobozezza ekkubo ery'obwesigwa:
Emisango ngitadde mu maaso gange.
31Nneegatta n'ebyo bye wategeeza:
Ayi Mukama, tonkwasa nsonyi.
32Nnaddukiranga mu kkubo ly'ebyo bye walagira,
Bw'oligaziya omutima gwange.#1 Bassek 4:29, Is 60:5, 2 Kol 6:11,13
HE
33Onjigirize, Ayi Mukama, ekkubo ery'amateeka go;
Nange nnaalyekuumanga okutuusa enkomerero.#Mat 10:22, Beb 3:6, Kub 2:26
34Ompe amagezi, nange nneekuumanga amateeka go;
Weewaawo, nnaagakwatanga n'omutima gwange gwonna.#Nge 2:6, Yak 1:5
35Ompise mu kkubo ly'ebyo bye walagira:
Kubanga mu eryo mwe nsanyukira.#Zab 25:4
36Okyuse omutima gwange eri ebyo bye wategeeza,
So si eri kwegomba.#Zab 141:4, Luk 12:15, 1 Tim 6:10, Beb 13:5
37Owunjule amaaso gange galemenga okulaba ebitaliimu,
Era onzuukize mu makubo go.#Nge 23:5
38Onyweze ekigambo kyo eri
omuddu wo,
Ky'eky'okutyanga ggwe.
39Ompunjulire ekivume kye ntya;
Kubanga emisango gyo mirungi
40Laba, nneegombanga ebiragiro byo:
Onzuukirize mu butuukirivu bwo.
VAWU
41Era n'okusaasira kwo kutuuke gye ndi, Ayi Mukama,
Bwe bulokozi bwo, ng'ekigambo kyo bwe kiri.#Zab 106:4
42Bwe ntyo bwe ndiba n'eky'okuddamu eri oyo anvuma;
Kubanga nneesiga ekigambo kyo.#Nge 27:11
43So toggiramu ddala kigambo kya mazima mu kamwa kange;
Kubanga nnaasuubiranga emisango gyo.
44Bwe ntyo bwe nnaakwatanga amateeka go ennaku zonna
Emirembe n'emirembe.
45Era nnaatambulanga nga nneeyabya;
Kubanga nnoonyezza ebiragiro byo.#Nge 4:12
46Era nnaayongeranga ku ebyo bye wategeeza mu maaso ga bakabaka,
Ne ssikwatibwa nsonyi.#Mat 10:18, Bik 26:1,2
47Era nnaasanyukiranga ebyo bye walagira,
Bye nnaayagalanga.
48Era nnaayimusanga engalo zange eri ebyo bye walagira, bye nnaayagalanga:
Era nnaafumiitirizanga amateeka go.#Zab 28:2
ZAYINI
49Ojjukire ekigambo eri omuddu wo,
Kubanga wansuubiza.
50Eryo lye ssanyu lyange bwe mbonyaabonyezebwa:
Kubanga ekigambo kyo kinzuukizizza.#Bar 15:4
51Ab'amalala bansekeredde nnyo:
Naye ne sseekooloobyanga okuva mu mateeka go.#Yob 23:11, Zab 123:4, Yer 20:7
52Njijukidde emisango gyo egy'edda, Ayi Mukama,
Ne nneesanyusa.
53Obusungu obubuubuuka bunkutte,
Olw'ababi abaleka amateeka go.#Nek 13:25
54Amateeka go ge nnyimbirako
Mu nnyumba ey'okutambula
kwange.
55Nnajjukiranga erinnya lyo ekiro,
Ayi Mukama,
Era nnakwatanga amateeka go.#Zab 42:8; 63:6
56Ekigambo kino kyange,
Okukuumanga ebiragiro byo.
KEESI
57Mukama gwe mugabo gwange:
N'ayogera nga nnaakwatanga ebigambo byo.#Zab 16:5, Yer 10:16, Kung 3:24
58N'asaba ekisa kyo n'omutima
gwange gwonna:
Onsaasire ng'ekigambo kyo bwe kiri.
59Nnalowooza amakubo gange,
Ne nkyusa ebigere byange eri
ebyo bye wategeeza.#Kung 3:40, Luk 15:17
60N'ayanguwa ne sirwawo,
Okukwata ebyo bye walagira.
61Emigwa egy'ababi gimbisse;
Naye sseerabidde mateeka go.
62Mu ttumbi nnaagolokokanga
okukwebaza
Olw'emisango gyo egy'ensonga.#Bik 16:25
63Nze ndi munne w'abo bonna abakutya,
N'abo abakwata ebiragiro byo.#Zab 101:6
64Ayi Mukama, ensi ejjudde okusaasira kwo:
Onjigirize amateeka go.#Zab 33:5
TEESI
65Okoledde ebirungi omuddu wo,
Ayi Mukama, ng'ekigambo kyo bwe kiri.
66Onjigirizenga okusala emisango egy'ensonga n'okutegeera;
Kubanga nnakkirizanga ebyo bye walagira.#Baf 1:9
67Nga ssinnabonyaabonyezebwa, nnakyama;
Naye kaakano nkwata ekigambo kyo.#Yer 31:18,19, Kos 5:15, Beb 12:11, Kub 3:19
68Oli mulungi, era okola ebirungi;
Onjigirizenga amateeka go.#Zab 107:1
69Ab'amalala banjiiyirizzaako
eky'obulimba:
N'omutima gwange gwonna nneekuumanga ebiragiro byo.#Yob 13:4, Zab 109:2
70Omutima gwabwe gugezze ng'amasavu;
Naye nze nsanyukira amateeka go.#Zab 17:10, Is 6:10, Bik 28:27
71Kwangasa okubonyaabonyezebwa;
Ndyoke njige amateeka go.#Beb 12:10
72Amateeka g'akamwa ko gampoomera nze
Okusinga ebitundu eby'ezaabu n'effeeza enkumi n'enkumi.#Zab 19:10, Nge 8:10
YODI
73Engalo zo ze zankola, ze zammumba:
Ompe amagezi, njigenga ebyo bye walagira.#Yob 10:8, Zab 100:3
74Abakutya banandabanga ne basanyuka;
Kubanga nnaasuubiranga ekigambo kyo.#Zab 34:2; 130:5
75Mmanyi, Ayi Mukama, ng'emisango gyo gya nsonga,
Era nga wambonyaabonya olw'obwesigwa.#Zab 33:4
76Nkwegayiridde, ekisa kyo ekirungi kinsanyuse,
Ng'ekigambo kyo bwe kiri eri omuddu wo.
77Okusaasira kwo okulungi kujje gye ndi,
mbeerenga omulamu:
Kubanga amateeka go ge gansanyusa.
78Ab'amalala bakwatibwe ensonyi;
kubanga bammegga awatali nsonga.
Naye nnaafumiitirizanga ebiragiro byo.#Zab 25:3
79Abakutya bankyukire,
Era balitegeera bye wategeeza.#Yer 15:19
80Omutima gwange gutuukirire mu mateeka go;
Nnemenga okukwatibwa ensonyi.
KAFU
81Emmeeme yange ezirise olw'obulokozi bwo:
Naye nsuubira ekigambo kyo.#Zab 42:1,2; 84:2
82Amaaso gange gakulukuse olw'ekigambo kyo,
Nga njogera nti Olinsanyusa ddi?#Zab 69:3; 101:2
83Kubanga nfuuse ng'eddiba eriwanikibwa mu mukka;
Naye sseerabira mateeka go.#Yob 30:30
84Ennaku ez'omuddu wo ziri mmeka?
Olituukiriza ddi omusango ku abo abanjigganya?#Zab 7:6; 39:4, Kub 6:10
85Ab'amalala bansimidde obunnya
Abatagoberera mateeka go.#Zab 7:15; 35:7
86Bye walagira byonna bya bwesigwa:
Banjigganya awatali nsonga:
ggwe onnyambe.#Zab 35:19; 109:26
87Baabulako katono banzikirize ku nsi;
Naye ne sireka biragiro byo.
88Onzuukize ng'ekisa kyo ekirungi bwe kiri;
Bwe ntyo bwe nnaakwatanga akamwa ko bye kategeeza.
LAMEDI
89Emirembe gyonna, Ayi Mukama,
Ekigambo kyo kinyweredde mu ggulu.#Is 40:8, Mat 24:35
90Obwesigwa bwo bubeerera emirembe gyonna:
Wanyweza ensi, n'ebeererawo.#Zab 148:6, Mub 1:4, Yer 33:25
91Bikyaliwo leero nga bwe walagira;
Kubanga ebintu byonna baddu bo.
92Singa amateeka go si ge gansanyusa,
Nnandizikiridde bwe nnabonyaabonyezebwa.
93Sseerabirenga biragiro byo ennaku zonna;
Kubanga wanzuukiza n'ebyo.
94Nze ndi wuwo, ondokole;
Kubanga nnaanoonyanga ebiragiro byo.
95Ababi bannindiridde okunzikiriza;
Naye nze nnaalowoozanga bye wategeeza.
96Ndabye ebintu byonna ebyatuukirira gye bikoma;
Naye ekiragiro kyo kigazi nnyo.
MEMU
97Amateeka go nga ngaagala!
Ago ge nfumiitiriza okuzibya obudde.#Zab 1:2
98Bye walagira bingeziwaza okusinga abalabe bange;
Kubanga bali wamu nange
ennaku zonna.#Ma 4:6
99Nnina okutegeera okusinga abayigiriza bange bonna;
Kubanga bye wategeeza bye ndowooza.#2 Tim 3:15
100Ntegeera okukira abakadde,
Kubanga nneekuumanga ebiragiro byo.#Yob 12:12; 32:7-9
101Nnaaziyizanga ebigere byange
obutatambula mu kkubo ebbi lyonna,
Ndyoke nkwatenga ekigambo kyo.#Nge 1:15
102Seekooloobyanga kuleka misango gyo;
Kubanga ggwe wanjigirizanga.
103Ebigambo byo nga bimpoomera
mu kibuno kyange!
Bisinga omubisi gw'enjuki mu kamwa kange!#Zab 19:10
104Ebiragiro byo bye bindetera okutegeera:
Kyenvudde nkyawa buli kkubo ery'obulimba.
NUUNI
105Ekigambo kyo ye ttabaaza eri ebigere byange,
N'omusana eri ekkubo lyange.#Nge 6:23, 2 Peet 1:19
106Nnalayira, era nkikakasizza kino,
Nga nnaakwatanga emisango gyo egy'ensonga.#Nek 10:29
107Mbonyaabonyezebwa nnyo;
Onzuukize, Ayi Mukama,
ng'ekigambo kyo bwe kiri.
108Okkirize, nkwegayiridde, ebyo akamwa kange bye kaakuwa,
Ayi Mukama, nga tekaawalirizibwa,
Era onjigirizenga emisango gyo.#Kos 14:2, Beb 13:15
109Emmeeme yange eri mu mukono gwange ennaku zonna;
Naye sseerabira mateeka go.#Balam 12:3
110Ababi bantegedde omutego;
Naye ssikyamanga kuleka biragiro byo.#Zab 91:3
111Bye wategeeza mbitutte okuba obusika obutaliggwaawo;
Kubanga ebyo bye binsanyusa omutima gwange.#Ma 33:4, Yer 15:16
112Mpese omutima gwange okutuukiriza amateeka go,
Emirembe gyonna, okutuusa enkomerero.#Zab 119:33
SAMEKI
113Nkyaye abo abalina emyoyo
egy'obulimba;
Naye amateeka go ge njagala.#1 Bassek 18:21, Yak 1:8
114Ggwe oli kifo kyange kye nneekwekamu, n'engabo yange:
Nsuubira ekigambo kyo.#Zab 3:3; 32:7
115Mugende mumbeere wala,
mmwe abakozi b'obubi;
Ndyoke nneekuumenga Katonda wange bye yalagira.#Zab 6:8
116Ompanirire ng'ekigambo kyo bwe kiri,
mbeerenga omulamu;
Nneme okukwatibwanga ensonyi olw'essuubi lyange.#Zab 25:2; 146:5, Bar 5:5
117Ggwe ompanirire,
nange nnaabeerangawo mirembe,
Era nneegenderezanga amateeka go ennaku zonna.
118Onyoomye abo bonna abakyama okuleka amateeka go;
Kubanga obukuusakuusa bwabwe bulimba.
119Omalawo ababi bonna ab'ensi ng'amasengere:
Kyenvudde njagala ebyo bye wategeeza.#Is 1:25, Ez 22:18, Mal 3:3
120Omubiri gwange gukankana olw'okukutya;
Era ntya emisango gyo.#Kaab 3:16
AYINI
121Nkoze eby'omusango n'eby'obutuukirivu:
Tondekera abo abanjooga.
122Weeyimirire omuddu wo olw'obulungi:
Ab'amalala baleme okunjooganga.#Yob 17:3
123Amaaso gange ganzibye
olw'obulokozi bwo,
N'olw'ekigambo kyo ekituukirivu.#Zab 69:3
124Okole omuddu wo ng'okusaasira kwo bwe kuli,
Era onjigirizenga amateeka go.
125Nze ndi muddu wo, ompe okutegeera;
Ndyoke mmanye ebyo bye wategeeza.#Zab 116:16
126Obudde butuuse Mukama okukola emirimu;
Kubanga badibizza amateeka go.
127Kyenvudde njagala ebyo bye walagira
Okusinga ezaabu, weewaawo,
okusinga ezaabu ennungi.#Zab 119:72
128Kyenvudde ndowooza ebiragiro byo byonna eby'ebigambo byonna nga bya nsonga;
Era nkyaye buli kkubo ery'obulimba.
PE
129Bye wategeeza bya kitalo:
Emmeeme yange kyeva ebyekuuma.
130Ebigambo byo nga bigguliddwawo bireeta omusana;
Biwa okutegeera abatalina magezi.#Zab 19:7
131Nnayasama nnyo akamwa kange ne mpeevuuma;
Kubanga nnayaayaanira ebyo bye walagira.#Yob 29:23, Zab 42:1
132Onkyukire, onsaasire,
Nga bw'oyisa okusaasira abo abaagala erinnya lyo.#Zab 25:16
133Oluŋŋamizenga ebigere byange mu kigambo kyo;
So obutali butuukirivu bwonna buleme okunfuganga.#Zab 19:13
134Onnunule nneme okujoogebwanga abantu:
Bwe ntyo bwe nnaakwatanga ebiragiro byo.#Luk 1:74
135Oyaakize amaaso go omuddu wo;
Era onjigirizenga amateeka go.#Zab 4:6
136Amaaso gange gakulukuta emigga gy'amazzi,
Kubanga tebakwata mateeka go.#Yer 9:1,18; 14:17
TIZADDE
137Oli mutuukirivu, Ayi Mukama,
N'emisango gyo gya nsonga.#Ezer 9:15, Zab 116:5, Dan 9:7
138Walagira bye wategeeza mu butuukirivu
Ne mu bwesigwa ddala ddala.#Zab 19:7-9
139Obuggya bwange bunzikirizza,
Kubanga abalabe bange beerabidde ebigambo byo.#Zab 69:9
140Ekigambo kyo kirongoofu nnyo;
Omuddu wo kyava akyagala.#Zab 12:6
141Nze ndi muto, nnyoomebwa:
Naye sseerabira biragiro byo.
142Obutuukirivu bwo bwe butuukirivu obw'emirembe gyonna,
N'amateeka go ge mazima.#Zab 19:9, Yok 17:17
143Ennaku n'okulumwa bindabye:
Naye bye walagira bye binsanyusa.#Zab 119:24
144Bye wategeeza bya butuukirivu
emirembe gyonna:
Ompe okutegeera,
nange nnaabeeranga mulamu.#Yob 32:8
KOOFU
145Nkoowodde n'omutima gwange gwonna;
ompitabe, Ayi Mukama:
Nnaakuumanga amateeka go.#Zab 119:2
146Nkukoowodde; ondokole,
Nange nnaakwatanga ebyo bye wategeeza.
147Nnakeera emmambya nga tennasala, ne nkoowoola:
Nnasuubira ebigambo byo.#Zab 5:3; 130:5
148Amaaso gange gaasooka ebisisimuka by'ekiro,
Nfumiitirize ekigambo kyo.#Zab 119:55
149Owulire eddoboozi lyange ng'ekisa kyo bwe kiri:
Onzuukize, Ayi Mukama,
ng'emisango gyo bwe giri:
150Basembera abagoberera obubi;
Bali wala amateeka go.
151Ggwe oli kumpi, Ayi Mukama;
Ne byonna bye walagira ge mazima.#Zab 145:18
152Edda n'edda nnamanyanga olw'ebyo bye wategeeza,
Nga wabinyweza emirembe gyonna.#Zab 119:89
REESI
153Olowoozenga okubonaabona kwange, omponye;
Kubanga seerabira mateeka go.#Yob 36:15
154Ompolereze ensonga yange, onnunule:
Onzuukize ng'ekigambo kyo bwe kiri.#1 Sam 24:15, Mi 7:9
155Obulokozi buba wala ababi;
Kubanga tebanoonya mateeka go.#Yob 5:4
156Okusaasira kwo okulungi kungi, Ayi Mukama:
Onzuukize ng'emisango gyo bwe giri.#2 Sam 24:14
157Abanjigganya n'abankyawa bangi:
Naye sseekooloobyanga kuleka bye wategeeza.#Zab 3:1,2
158Nnalaba abo abakola eby'enkwe,
ne nnakuwala;
Kubanga tebakwata kigambo kyo.#Yer 3:20
159Olowooze bwe njagala ebiragiro byo:
Onzuukize, Ayi Mukama, ng'ekisa kyo bwe kiri.
160Ekigambo kyo kyonna kyonna mazima;
N'emisango gyo egy'ensonga gyonna gyonna gibeerera emirembe gyonna.#Zab 139:17
SINI
161Abalangira banjigganyizza awatali nsonga;
Naye omutima gwange gutya nnyo ebigambo byo.#1 Sam 24:11
162Nsanyukira ekigambo kyo,
Ng'alaba omunyago omungi.#Zab 2:11, Is 9:3, Yer 15:16
163Nkyaye obulimba, mbutamwa;
Naye amateeka go ge njagala.
164Emirundi musanvu buli lunaku nkutendereza;
Olw'emisango gyo egy'ensonga.
165Abaagala amateeka go balina emirembe mingi;
So tebaliiko kibeesittaza.#Zab 37:11,37, Nge 3:2, Is 32:17, 1 Yok 2:10
166Nsuubidde obulokozi bwo, Ayi Mukama,
Era nkoze bye walagira.#Lub 49:18
167Emmeeme yange yakwatanga bye wategeeza;
Era mbyagala kitalo.
168Nnaakwatanga ebiragiro byo n'ebyo bye wategeeza;
Kubanga amakubo gange gonna gali mu maaso go.#Yob 34:21, Zab 139:3, Nge 5:21
TAWU
169Okukaaba kwange kusemberenga mu maaso go, Ayi Mukama:
Ompe okutegeeranga ng'ekigambo kyo bwe kiri.#Nge 2:6, Yak 1:5
170Okwegayirira kwange kujjenga mu maaso go:
Omponye ng'ekigambo kyo bwe kiri.
171Emimwa gyange gyogere ettendo;
Kubanga onjigiriza amateeka go.#Zab 145:7
172Olulimi lwange luyimbe ku kigambo kyo;
Kubanga bye walagira byonna bwe butuukirivu.
173Omukono gwo gube nga gweteeseteese okunnyamba;
Kubanga nneerobozza ebiragiro byo.#Yos 24:22, Nge 1:29, Luk 10:42
174Njaayaanidde obulokozi bwo, Ayi Mukama;
Era amateeka go ge gansanyusa.#Zab 119:20,24
175Emmeeme yange ebeerenga
ennamu,
era eneekutenderezanga;
N'emisango gyo ginnyambenga,
176Nnakyama ng'endiga ebuze;
noonya omuddu wo;
Kubanga sseerabira bye walagira.#Is 53:6, Mat 18:12, Luk 15:4, 1 Peet 2:25
Currently Selected:
Zabbuli 119: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.