YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 122

122
Oluyimba olw'oku madaala; olwa Dawudi.
Yerusaalemi ekibuga eky'emirembe n'ekitiibwa
1N'asanyuka bwe baŋŋamba
Nti, “Tugende mu nnyumba ya Mukama.”#Is 2:3, Yer 31:6, Zek 8:21
2Ebigere byaffe biyimiridde
Munda mu miryango gyo, ggwe Yerusaalemi;
3Ggwe Yerusaalemi, eyazimbibwa
Okuba ekibuga ekigattiddwa awamu.
4Ebika gye birinnya, bye bika bya Mukama,
Okuba obujulirwa eri Isiraeri,
Okwebazanga erinnya lya Mukama.#Ma 16:16
5Kubanga baateeka omwo entebe ez'okusalirako omusango,
Entebe ez'ennyumba ya Dawudi.#1 Bassek 3:16-28
6Musabirenga Yerusaalemi emirembe;
Baliraba omukisa abakwagala.#Yer 29:7; 51:50
7Emirembe gibeere mu bisenge byo,
N'omukisa mu mayu go.#Zab 48:13
8Ku lwa baganda bange ne bannange
Nnaayogera kaakano nti, “Emirembe gibeere mu ggwe.”#1 Sam 25:6
9Olw'ennyumba ya Mukama Katonda waffe
Nnaanoonyanga obulungi bwo.

Currently Selected:

Zabbuli 122: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 122