YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 54

54
1Yimba, ggwe omugumba, atazaalanga;
baguka okuyimba oyogerere waggulu,
atalumwanga kuzaala!
kubanga abaana b'oyo atalina bba bangi
okusinga abaana b'omukazi eyafumbirwa, bw'ayogera Mukama.#1 Sam 2:5, Is 62:4, Bag 4:27
2Gaziya ekifo eky'eweema yo,
era babambe amagigi g'ennyumba zo;
tokwata mpola, wanvuya emigwa gyo,
onyweze enkondo zo.#Is 49:19,20
3Kubanga olyanjaala ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono;
n'ezzadde lyo lirirya amawanga,
era lirituuza abantu mu bibuga ebyalekebwayo.#Lub 28:14
4Totya: kubanga tolikwatibwa nsonyi,
so toswala, kubanga ensonyi tezirikukwata:
kubanga olyerabira ensonyi ez'omu buvubuka bwo,
n'ekivume ky'obwannamwandu bwo tolikijjukira nate.#Is 45:17
5Kubanga Omutonzi wo ye balo;
Mukama ow'eggye lye linnya lye;
era Omutukuvu wa Isiraeri ye mununuzi wo;
ayitibwa Katonda w'ensi zonna.#Is 62:4,5, Zek 14:9
6Kubanga Mukama akuyise
ng'omukazi eyalekebwawo n'omwoyo gwe nga guliko obuyinike,
ng'omukazi owo mu buvubuka bw'agobebwa,
bw'ayogera Katonda wo.#Is 49:14
7Nkuleseewo akaseera katono;
naye ndikukuŋŋaanya n'okusaasira kungi.
8Obusungu obwanjaala bwe bwankwata,
nnakukisa amaaso gange akaseera;
naye ndikusaasira n'ekisa ekitaliggwaawo,
bw'ayogera Mukama omununuzi wo.
9Kubanga ekyo kiri ng'amazzi ga Nuuwa gye ndi;
kuba nga bwe nnalayira ng'amazzi ga Nuuwa tegakyayanjaala ku nsi
bwe ntyo bwe ndayidde nga sirikusunguwalira so sirikunenya.#Lub 9:11
10Kubanga ensozi zirivaawo
n'obusozi buliggibwawo;
naye ekisa kyange tekirikuvaako
so n'endagaano yange ey'emirembe teriggibwawo,
bw'ayogera Mukama akusaasira.#Kubal 25:12, Ez 34:25
11Ggwe abonyaabonyezebwa, asuukundibwa n'omuyaga so tosanyusibwa,
laba, nditeeka amayinja go mu mabala amalungi,
ne nsimba emisingi gyo ne safiro.#Is 51:21, Kub 21:19
12N'ebitikkiro byo ndibikola n'amayinja amatwakaavu,
n'enzigi zo ne kabunkulo,
n'ensalo yo yonna n'amayinja agasanyusa.
13N'abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama;
n'emirembe gy'abaana bo giriba mingi.#Zab 119:165, Is 9:7, Yer 31:33,34, Yok 6:45
14Mu butuukirivu mw'oliyima okunywezebwa;
onoobanga wala n'okujoogebwa, kubanga tolitya;
onoobanga wala n'entiisa, kubanga terikusemberera.
15Laba, mpozzi balikuŋŋaana
naye si nze ndibakuŋŋaanya;
buli alikukuŋŋaanirako
aligwa ku lulwo.
16Laba, nnatonda omuweesi
afukuta omuliro gw'amanda,
n'aggyamu ekintu ekikola omulimu gwe;
era nnatonda n'omuzikiriza okufaafaaganya.
17Tewaabenga kya kulwanyisa kye baliweesa okulwana naawe ekiriraba omukisa;
era buli lulimi olulikugolokokerako okuwoza naawe olirusinga.
Obwo bwe busika obw'abaddu ba Mukama,
n'obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi, bw'ayogera Mukama.

Currently Selected:

Isaaya 54: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in