YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 53

53
1Ani akkiriza ebigambo byaffe?
Era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?#Is 51:9, Yok 12:38, Bar 10:16
2Kubanga yakulira mu maaso ge ng'ekisimbe ekigonvu
era ng'ekikolo ekiva mu ttaka ekkalu;
talina mbala newakubadde obulungi;
era bwe tumulaba, nga tewali na kalungi akatumwegombesa.#Is 52:14
3Yanyoomebwa n'agaanibwa abantu;
omuntu ow'ennaku era eyamanyiira obuyinike;
era ng'omuntu abantu gwe bakweka amaaso gaabwe
bwe yanyoomebwa bw'atyo, ne tutamuyitamu ka buntu.#Zab 22:6, Is 49:7, Mak 9:12, Yok 1:10,11
4Mazima yeetikka obuyinike bwaffe
n'asitula ennaku yaffe;
naye twamulowooza nga yakubibwa
yafumitibwa Katonda n'abonyaabonyezebwa.#Zab 69:26, Mat 8:17
5Naye yafumitibwa olw'okusobya kwaffe,
yabetentebwa olw'obutali butuukirivu bwaffe;
okubonerezebwa okw'emirembe gyaffe kwali ku ye;
era emiggo gye gye gituwonya.#Bar 4:25, 1 Peet 2:24
6Ffe fenna twawaba ng'endiga;
twakyamira buli muntu mu kkubo lye ye;
era Mukama atadde ku ye
obutali butuukirivu bwaffe fenna.#Yer 50:6,17, 2 Kol 5:21, 1 Peet 2:25
7Yajoogebwa, naye ne yeetoowaza
n'atayasamya kamwa ke;
ng'omwana gw'endiga ogutwalibwa okuttibwa,
era ng'endiga esirika mu maaso g'abo abagisalako ebyoya;
weewaawo, teyayasamya kamwa ke.#Yer 11:19, Mat 26:63, Yok 19:9, Bik 8:32
8Yaggibwawo olw'okujoogebwa n'omusango;
n'ab'ezzadde lye, ani ku bo eyalowooza nga yazikirizibwa mu nsi ey'abalamu?
Yakubibwa olw'okusobya kw'abantu bange.#Is 57:1
9Ne bamuziikira wamu n'ababi,
era n'abagagga mu kufa kwe;
newakubadde nga teyazza musango,
wadde akamwa ke okwogera eby'obulimba.#Mat 27:57,60, 1 Peet 2:22
10Naye Mukama yasiima okumubetenta;
nnamunakuwaza:
bwalifuula obulamu bwe okuba ekiweebwayo olw'ekibi,
aliraba ezzadde, alyongera ku nnaku ze,
n'ebyo Mukama by'ayagala biriraba omukisa mu mukono gwe.
11Aliraba ku ebyo ebiva mu kulumwa kw'obulamu bwe, era birimumala;
olw'okumumanya omuweereza wange omutuukirivu
aliweesa bangi obutuukirivu;
era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe.#Bik 13:39, Bar 5:18,19, 1 Yok 2:1
12Kyendiva mmugabira omugabo wamu n'ab'ekitiibwa,
era aligabana omunyago wamu n'ab'amaanyi;
kubanga yafuuka obulamu bwe okutuusa ku kufa,
n'abalirwa wamu n'abasobya;
naye yeetikka ekibi ky'abangi,
era yawolereza abasobya.#Luk 22:37, Bar 8:34, Baf 2:9, Bak 2:15, 1 Tim 2:5

Currently Selected:

Isaaya 53: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in