YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 52

52
1Zuukuka, zuukuka,
yambala amaanyi go, ggwe Sayuuni;
yambala ebyambalo byo eby'obuyonjo,
ggwe Yerusaalemi, ekibuga ekitukuvu;
kubanga okuva leero temukyayingiranga mu ggwe
nate atali mukomole n'atali mulongoofu.#Nek 11:1, Yo 3:17, Kub 21:27
2Weekunkumuleko enfuufu; golokoka otuule wansi,
ggwe Yerusaalemi,
weesumulule enjegere ez'omu bulago bwo,
ggwe omuwala wa Sayuuni eyanyagibwa.
3Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Mwatundirwa bwereere; era mulinunulibwa awatali ffeeza.#Is 45:13 4Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda nti Olubereberye abantu bange baaserengeta e Misiri okutuulayo; Omwasuli n'abajooga ng'abalanga bwereere.#Lub 46:6 5Kale nno kaakano nkola ki wano, bw'ayogera Mukama, kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere? Abo ababafuga bawowoggana, bw'ayogera Mukama, n'erinnya lyange bazibya obudde bulijjo okulivuma.#Ez 36:20,23, Bar 2:25 6Abantu bange kyebaliva bamanya erinnya lyange; kyebaliva bamanya ku lunaku luli nga nze nzuuyo ayogera; laba, nze nzuuno.”#Is 49:26
7Nga birungi ku nsozi
ebigere by'oyo aleeta ebigambo ebirungi,
alanga emirembe, aleeta ebigambo ebirungi eby'obulungi,
alanga obulokozi;
agamba Sayuuni nti, “Katonda wo afuga.”#Bar 10:15
8Eddoboozi ly'abasajja bo abakuuma!
bayimusa eddoboozi, bayimbira wamu;
kubanga baliraba n'amaaso gaabwe,
okudda kwa Mukama mu Sayuuni.#Is 33:17; 62:6, 1 Kol 13:12, 1 Yok 3:2
9Mubaguke okusanyuka, muyimbire wamu,
mmwe ebifo eby'e Yerusaalemi ebyazika;
kubanga Mukama asanyusizza abantu be,
anunudde Yerusaalemi.#Zab 98:3,4, Luk 3:6
10Mukama afungizza omukono gwe omutukuvu
mu maaso g'amawanga gonna;
n'enkomerero zonna ez'ensi ziriraba
obulokozi bwa Katonda waffe.
11Mugende, mugende, muve omwo,
temukomanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu;
muve wakati mu ye: mubeerenga balongoofu,
mmwe abasitula ebintu bya Mukama.#Ezer 1:7-11, Is 48:20, 2 Kol 6:17
12Kubanga temulivaamu nga mwanguyiriza
so temuligenda nga mudduka;
kubanga Mukama alibakulembera;
era Katonda wa Isiraeri y'alibakuuma.#Kuv 12:33; 14:19, Is 58:8, Mi 2:13
13Laba, omuweereza wange alikola n'amagezi,
aliyimusibwa alisitulibwa,
era aligulumira nnyo.#Is 42:1
14Nga abangi bwe baakwewuunya,
endabika ye ng'eyonoonese nnyo, nga tafaananika,
era ng'eyonoonese evudde ku y'abantu,#Is 53:2,3
15bw'atyo bw'aliwunikiriza amawanga amangi;
bakabaka balibunira ku lulwe;
ekyo ekitababulirwanga balikiraba;
ne kye batawuliranga balikitegeera.#Is 49:7,23, Bar 15:21; 16:25

Currently Selected:

Isaaya 52: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in