Abakkolosaayi 3
3
Okunoonyanga eby'omu ggulu
1Kale oba nga mwazuukirira wamu ne Kristo, munoonyenga ebiri waggulu, Kristo gy'ali ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.#Zab 110:1, Bak 2:12 2Mulowoozenga ku by'omu ggulu, so si ebiri ku nsi.#Mat 6:33 3Kubanga mwafa, n'obulamu bwammwe bukwekeddwa wamu ne Kristo mu Katonda.#Bar 6:2 4Kristo, obulamu bwaffe, bw'alirabisibwa, era nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.#1 Kol 15:43, Baf 1:21, Bag 2:20
Okufiisa eby'ensi
5Kale mufiise eby'ensi mu mmwe: obwenzi, obugwagwa, okwegomba okw'ensonyi, omululu n'okuyaayaana, kwe kusinza ebifaananyi;#Bar 6:6; 8:13, Bef 4:19; 5:3,5 6olw'ebyo obusungu bwa Katonda bujja ku baana abatawulira;#Bef 5:6 7era nammwe mu ebyo mwe mwatambuliranga edda, bwe mwabikolanga ebyo. 8Naye kaakano era nammwe muggyeewo byonna, obusungu, ekiruyi, ettima, okuvuma, era n'okunyumya eby'ensonyi mu kamwa kammwe. #Bef 4:25-31; 5:4 9Temulimbagananga mwekka na mwekka; kubanga mwamweyambulako omuntu ow'edda wamu n'ebikolwa bye,#Bef 4:22 10ne mwambala omuntu omuggya, afuulibwa omuggya olw'okutegeera mu kifaananyi ky'oyo eyamutonda. #Bef 4:24, Lub 1:27 11Awo waba tewakyali kwawula Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa n'ataakomolebwa, munnaggwanga n'Omusukusi, omuddu n'ow'eddembe, naye Kristo bye bintu byonna era yali mu byonna. #Bag 3:28
Okubeera abatukuvu
12Kale mwambalenga ng'abalonde ba Katonda, abatukuvu era abaagalwa, omwoyo ogw'ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza;#1 Peet 2:9 Bef 4:2,32; 5:2 13nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw'abeeranga n'ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe musonyiwaganenga. #Mat 6:14, Bef 4:32; 5:2 14Ku ebyo byonna era mwambalireko okwagalana, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna. #Bar 13:8,10, Bef 4:3 15Era emirembe gya Katonda giramulenga mu mitima gyammwe, era gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mubeerenga n'okwebaza.#Bef 4:4, Baf 4:7, 1 Kol 12:13,27 16Ekigambo kya Kristo kibeerenga mu mmwe n'obugagga mu magezi gonna; nga muyigirizagananga era nga mulabulagananga mwekka na mwekka mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga mwebaza Katonda mu mitima gyammwe.#Bef 5:19 17Era buli kye munaakolanga, mu kigambo oba mu kikolwa, mukolerenga byonna mu linnya lya Mukama waffe Yesu, nga mwebaza Katonda Kitaffe nga muyita mu ye. #1 Kol 10:31, Bef 5:20
Okukola obulungi mu maka
18Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe kiri ekirungi mu Mukama waffe.#Bef 5:22—6:9 19Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, so temubakambuwaliranga. #1 Peet 3:7 20Abaana, muwulirenga bakadde bammwe mu byonna, kubanga ekyo kisanyusa Mukama. 21Bakitaabwe, temunyiizanga baana bammwe, balemenga okuddirira mu mwoyo. 22Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab'omu nsi mu byonna, si kubasanyusa kubanga ba balaba, naye mubagonderenga n'omutima ogutalimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe. 23Buli kye mukola mukikolenga n'omutima gwammwe gwonna, ng'abakolera Mukama waffe, so si abantu; 24nga mumanyi nga mulisasulibwa Mukama waffe empeera ey'obusika; muweereza Mukama waffe Kristo. 25Kubanga ayonoona alisasulwa nga bwe yayonoona, so tewaliba kusaliriza. #Bar 2:11
Currently Selected:
Abakkolosaayi 3: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.