YouVersion Logo
Search Icon

Abakkolosaayi 4

4
Obutukuvu bw'okukola
1Bakama b'abaddu, muyisenga mu bwenkanya abaddu bammwe, nga mumanyi nga nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu.#Leev 25:43,53
2Munyiikirirenga mu kusaba, nga mulindirira n'okwebaza; #1 Bas 5:17, Bef 6:18, Baf 4:6 3era naffe mutusabire, Katonda okutuggulirawo oluggi olw'ekigambo, okutegeeza ekyama kya Kristo, n'okusibibwa kye nnasibirwa;#Bar 15:30, Bef 6:18,19, 2 Bas 3:1, 1 Kol 16:9 4ndyoke nkitegeeze bulungi nga bwe kiŋŋwanidde okwogera.#Bef 6:20 5Mutambulirenga mu magezi eri abo ab'ebweru, nga mukozesa bulungi ekiseera kye mulina. #Bef 5:15, 1 Bas 4:12 6Ebigambo byammwe bibeerenga n'ekisa ennaku zonna, nga binoga omunnyo, mulyoke mumanye bwe kibagwanidde okwanukulanga buli muntu yenna.#Bef 4:29, Mak 9:50, 1 Peet 3:15
Okulamusa
7Tukiko, ow'oluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa era muddu munnaffe mu Mukama waffe, alibategeeza ebinfaako byonna. #Bef 6:21 8Kyenva mmutuma gye muli olw'ensonga eyo, mulyoke mutegeere ebifa gyetuli era asanyuse emyoyo gyammwe;#Bef 6:22 9wamu ne Onnessimo, ow'oluganda omwesigwa omwagalwa, ow'ewammwe. Balibategeeza byonna ebifa eno.#Fir 1:10
10Alisutaluuko, musibe munnange, ne Makko, mujjwa wa Balunabba, gwe baabagambako bw'alijja gye muli, mumwanirizanga,#Bik 19:29; 27:2; 18:27 11ne Yesu ayitibwa Yusito babalamusizza. Abo be b'omu bakomole bokka, bakozi bannange mu bwakabaka bwa Katonda, abanzizaamu essuubi. 12Epafula, ow'ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, abalamusizza, afuba ennaku zonna okubasabira mu kusaba kwe, mulyoke muyimirirenga nga muli batuukirivu era nga mutegeerera ddala mu byonna Katonda by'ayagala.#Bak 1:7 13Kubanga mmuweera obujulirwa, nga bw'afuba ennyo ku lwammwe, n'ab'omu Lawodikiya, n'ab'omu Kiyerapoli. 14Lukka, omusawo omwagalwa, ne Dema babalamusizza.#2 Tim 4:10,11, Fir 1:24 15Mulamuse ab'oluganda ab'omu Lawodikiya, ne Nunfa, n'ekkanisa ey'omu nnyumba yaabwe. 16Era ebbaluwa eno bw'emalanga okusomerwa mu mmwe, mulabe nga esomerwa n'ab'ekkanisa y'omu Lawodikiya; era nammwe musome eriva e Lawodikiya. 17Era mugambe Alukipo nti, “Laba ng'otuukiriza okuweereza kwe waweebwa mu Mukama waffe.” #Fir 1:2
Okufundikira
(4:18)
18Nze Pawulo, nze mpandiise okulamusa kuno n'omukono gwange. Mujjukirenga okusibibwa kwange. Ekisa kibeerenga nammwe.#1 Kol 16:21, 2 Bas 3:17

Currently Selected:

Abakkolosaayi 4: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in