1 Abasessaloniika Ennyanjula
Ennyanjula
Sessaloniika kye kyali ekibuga ekikulu ekyessaza lye Makedoni, mu bwakabaka bwa Ruumi, kyali kifo kikulu nnyo eri abayita ku ttaka ne ku nnyanja. Pawulo yatandika ekkanisa eno nga yakava e Firipi, 2:1-2; ne Bik 17:1-8. Ebbaluwa eraga abantu abewaddeyo eri okukkiriza, ate nga beyawulidde ddala kw'ebyo bye bali baatwalanga eby'omuwendo. Ebbaluwa eraga okutisibwatisibwa eri ebyo ebibeetoolodde awamu n'okuyiganyizibwa nga bagala okubazza mu ebyo bye baavaamu. Pawulo abawandiikira okubazaamu amaanyi n'okubeebaza okunywerera ku mazima. Waliwo n'ebyebuuzibwa ku biseera eby'oluvannyuma ne ku bakkiriza abaafa. Pawulo abawa ekifaananyi eky'obulamu obw'oluvannyuma, era n'abalaga nti Kristo bwalidda abaliba abalamu wamu nabo abaafa nga bakkiriza baliba wamu naye. Ebbaluwa eno erowoozebwa okuba nga yawandiikibwa Pawulo nga mu 50 oba 51 AD.
Ebiri mu bbaluwa
I. Okulamusa (1:1).
II. Okwebaza n'okuzaamu amaanyi (1:2—3:13).
III. Okuyigiriza n'okubuulirira (4:1—5:28).
Currently Selected:
1 Abasessaloniika Ennyanjula: LBR
Highlight
Share
Copy
![None](/_next/image?url=https%3A%2F%2Fimageproxy.youversionapi.com%2F58%2Fhttps%3A%2F%2Fweb-assets.youversion.com%2Fapp-icons%2Fen.png&w=128&q=75)
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.