YouVersion Logo
Search Icon

1 Abasessaloniika 1

1
Okulamusa abawandiikirwa ebbaluwa
1Pawulo ne Sirwano ne Timoseewo eri ekkanisa ey'Abasessaloniika mu Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe.#Bik 15:40; 17:1, 2 Bas 1:1
Okwebaza
2Twebaza Katonda ku lwammwe mwenna ennaku zonna, nga tuboogerako mu kusaba kwaffe;#2 Bas 1:11 3nga tujjukira bulijjo mu maaso ga Katonda, omulimu gwammwe ogw'okukkiriza, n'okufuba okw'okwagala, n'okugumiikiriza okw'essuubi lyammwe mu Mukama waffe Yesu Kristo.#1 Kol 13:13, Bak 1:4,5 4Kubanga tumanyi, ab'oluganda abaagalwa Katonda, nga yabalonda, 5kubanga enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo bugambo, wabula era ne mu maanyi, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kutegeerera ddala okungi; nga bwe mumanyi bwe twali gye muli ku lwammwe.#1 Kol 2:5 6Nammwe ne mutugoberera ffe ne Mukama waffe, kubanga mwafuna ekigambo mu kubonaabona okungi, n'essanyu eriva mu Mwoyo Omutukuvu.#1 Kol 4:16, Bik 13:52, 2 Bas 3:9 7Bwe mutyo ne muba ekyokulabirako eri abakkiriza bonna mu Makedoni ne mu Akaya.#1 Bas 4:10, Baf 3:7, 1 Peet 5:3 8Kubanga gye muli ye yava eddoboozi ly'ekigambo kya Mukama waffe, si mu Makedoni ne mu Akaya yokka, naye mu buli kifo okukkiriza kwammwe eri Katonda kwabuna; bwe tutyo ne tutabaako kigambo kye twetaaga okwogera.#Bar 1:8 9Kubanga bo bokka bategeeza ebitukwatako, bwe mwatwaniriza bwe twajja; era ne bwe mwakyukira Katonda okuleka ebifaananyi, okuweerezanga Katonda omulamu ow'amazima,#Bik 14:15, Yok 17:3, 1 Kol 12:2 10n'okulindiriranga Omwana we okuva mu ggulu, gwe yazuukiza mu bafu, Yesu, atulokola mu busungu obugenda okujja.#1 Bas 5:9, Tit 2:13, Bik 17:31

Currently Selected:

1 Abasessaloniika 1: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in