1
Abakkolosaayi 3:13
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw'abeeranga n'ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe musonyiwaganenga.
Compare
Explore Abakkolosaayi 3:13
2
Abakkolosaayi 3:2
Mulowoozenga ku by'omu ggulu, so si ebiri ku nsi.
Explore Abakkolosaayi 3:2
3
Abakkolosaayi 3:23
Buli kye mukola mukikolenga n'omutima gwammwe gwonna, ng'abakolera Mukama waffe, so si abantu
Explore Abakkolosaayi 3:23
4
Abakkolosaayi 3:12
Kale mwambalenga ng'abalonde ba Katonda, abatukuvu era abaagalwa, omwoyo ogw'ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza
Explore Abakkolosaayi 3:12
5
Abakkolosaayi 3:16-17
Ekigambo kya Kristo kibeerenga mu mmwe n'obugagga mu magezi gonna; nga muyigirizagananga era nga mulabulagananga mwekka na mwekka mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga mwebaza Katonda mu mitima gyammwe. Era buli kye munaakolanga, mu kigambo oba mu kikolwa, mukolerenga byonna mu linnya lya Mukama waffe Yesu, nga mwebaza Katonda Kitaffe nga muyita mu ye.
Explore Abakkolosaayi 3:16-17
6
Abakkolosaayi 3:14
Ku ebyo byonna era mwambalireko okwagalana, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.
Explore Abakkolosaayi 3:14
7
Abakkolosaayi 3:1
Kale oba nga mwazuukirira wamu ne Kristo, munoonyenga ebiri waggulu, Kristo gy'ali ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
Explore Abakkolosaayi 3:1
8
Abakkolosaayi 3:15
Era emirembe gya Katonda giramulenga mu mitima gyammwe, era gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mubeerenga n'okwebaza.
Explore Abakkolosaayi 3:15
9
Abakkolosaayi 3:5
Kale mufiise eby'ensi mu mmwe: obwenzi, obugwagwa, okwegomba okw'ensonyi, omululu n'okuyaayaana, kwe kusinza ebifaananyi
Explore Abakkolosaayi 3:5
10
Abakkolosaayi 3:3
Kubanga mwafa, n'obulamu bwammwe bukwekeddwa wamu ne Kristo mu Katonda.
Explore Abakkolosaayi 3:3
11
Abakkolosaayi 3:8
Naye kaakano era nammwe muggyeewo byonna, obusungu, ekiruyi, ettima, okuvuma, era n'okunyumya eby'ensonyi mu kamwa kammwe.
Explore Abakkolosaayi 3:8
12
Abakkolosaayi 3:9-10
Temulimbagananga mwekka na mwekka; kubanga mwamweyambulako omuntu ow'edda wamu n'ebikolwa bye, ne mwambala omuntu omuggya, afuulibwa omuggya olw'okutegeera mu kifaananyi ky'oyo eyamutonda.
Explore Abakkolosaayi 3:9-10
13
Abakkolosaayi 3:19
Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, so temubakambuwaliranga.
Explore Abakkolosaayi 3:19
14
Abakkolosaayi 3:20
Abaana, muwulirenga bakadde bammwe mu byonna, kubanga ekyo kisanyusa Mukama.
Explore Abakkolosaayi 3:20
15
Abakkolosaayi 3:18
Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe kiri ekirungi mu Mukama waffe.
Explore Abakkolosaayi 3:18
Home
Bible
Plans
Videos