1
Abakkolosaayi 2:6-7
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
Kale nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga bwe mutyo mu ye, nga mulina emmizi, era nga muzimbibwa mu ye, era nga munywezebwa okukkiriza kwammwe, nga bwe mwayigirizibwa, nga musukkirira okwebaza.
Compare
Explore Abakkolosaayi 2:6-7
2
Abakkolosaayi 2:8
Mwekuume tewabeerangawo muntu abanyaga mu bufirosoofo n'eby'obulimba ebitaliimu, n'ebiyigirizibwa abantu mu buwangwa bwabwe bo, n'okugoberera emyoyo egy'ensi, okutali kugoberera Kristo.
Explore Abakkolosaayi 2:8
3
Abakkolosaayi 2:13-14
Nammwe bwe mwali nga mufudde olw'ebyonoono byammwe n'obutakomolebwa mubiri gwammwe, yabafuula balamu wamu naye, bwe yamala okutusonyiwa ebyonoono byaffe byonna; era n'aggyawo endagaano eyawandiikibwa mu mateeka, eyatuwalirizanga okutuukiriza ebiragiro byayo, bwe yagikomerera ku musalaba
Explore Abakkolosaayi 2:13-14
4
Abakkolosaayi 2:9-10
Kubanga mu oyo mu mubiri mwe mutuula okutuukirira kwonna okw'Obwakatonda, era mwafuna obulamu obujjuvu mu ye, ye gwe mutwe ogw'obufuzi n'obuyinza bwonna
Explore Abakkolosaayi 2:9-10
5
Abakkolosaayi 2:16-17
N'olwekyo tewabangawo omuntu yenna abasalira musango mu by'okulya oba mu by'okunywa, oba olw'embaga oba olw'omwezi oguboneka oba olwa ssabbiiti. Kubanga ebyo kisiikirize ky'ebyo ebigenda okujja; naye eky'omugaso ye Kristo.
Explore Abakkolosaayi 2:16-17
Home
Bible
Plans
Videos