YouVersion Logo
Search Icon

Abakkolosaayi 2

2
Okufuba kwa Pawulo
1Kubanga njagala mmwe okumanya okufuba bwe kuli okunene kwe nnina ku lwammwe n'abo ab'omu Lawodikiya, ne bonna abatalabanga maaso gange mu mubiri; 2emitima gyabwe giryoke gisanyusibwe, nga bagattibwa wamu mu kwagalana, n'okutuuka ku bugagga bwonna obw'okumanyira ddala okw'amagezi, bategeerenga ekyama kya Katonda, ye Kristo,#Bak 1:26, Bef 3:18 3mu ye obugagga bwonna obw'amagezi n'obw'okutegeera mmwe bukwekeddwa.#Is 45:3, Nge 2:3,4, Bef 3:19, 1 Kol 1:24,30
Okwekuuma enjigiriza enkyamu
4Kino nkibategeeza waleme kubaawo omuntu yenna abakyamya n'ebigambo ebisendasenda. #Bar 16:18, Bef 4:17; 5:6 5Kubanga newakubadde nga ssiriiyo mu mubiri, naye mu mwoyo ndi nammwe, nga nsanyuka era nga ndaba empisa zammwe ennungi, n'obunywevu obw'okukkiriza kwammwe mu Kristo.#1 Kol 5:3; 14:40
6Kale nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga bwe mutyo mu ye,#Bef 4:17 7nga mulina emmizi, era nga muzimbibwa mu ye, era nga munywezebwa okukkiriza kwammwe, nga bwe mwayigirizibwa, nga musukkirira okwebaza.#Bef 3:17; 2:20,22
8Mwekuume tewabeerangawo muntu abanyaga mu bufirosoofo n'eby'obulimba ebitaliimu, n'ebiyigirizibwa abantu mu buwangwa bwabwe bo, n'okugoberera emyoyo egy'ensi, okutali kugoberera Kristo. #Bef 5:6 9Kubanga mu oyo mu mubiri mwe mutuula okutuukirira kwonna okw'Obwakatonda, #Yok 1:14,16 10era mwafuna obulamu obujjuvu mu ye, ye gwe mutwe ogw'obufuzi n'obuyinza bwonna, #Bef 1:21 11era mwakomolerwa mu oyo obukomole obutali bwa mikono, bwe mwayambula omubiri mu kukomolebwa kwa Kristo;#1 Peet 3:21, Bar 2:29 12bwe mwaziikibwa awamu naye mu kubatizibwa, era mmwe mwazuukirira awamu naye olw'okukkiriza okukola kwa Katonda, eyamuzuukiza mu bafu.#Bak 3:1, Bar 6:4, Bef 1:19,20 13Nammwe bwe mwali nga mufudde olw'ebyonoono byammwe n'obutakomolebwa mubiri gwammwe, yabafuula balamu wamu naye, bwe yamala okutusonyiwa ebyonoono byaffe byonna;#Bef 2:1,5 14era n'aggyawo endagaano eyawandiikibwa mu mateeka, eyatuwalirizanga okutuukiriza ebiragiro byayo, bwe yagikomerera ku musalaba;#Bef 2:14,15, 1 Peet 2:24 15kwe yayambulira ddala abafuzi n'ab'obuyinza, n'abawemuukiriza mu lwatu, n'abawangulira ddala. #Bak 1:13
16N'olwekyo tewabangawo omuntu yenna abasalira musango mu by'okulya oba mu by'okunywa, oba olw'embaga oba olw'omwezi oguboneka oba olwa ssabbiiti.#Bar 14:1-12 17Kubanga ebyo kisiikirize ky'ebyo ebigenda okujja; naye eky'omugaso ye Kristo. #Beb 8:5; 10:1 18Omuntu yenna tabanyagangako mpeera yammwe mu kwewombeeka kw'ayagala yekka n'okusinzanga bamalayika, ng'anywerera mu ebyo bye yalaba, nga yeegulumiririza bwereere mu magezi ag'omubiri gwe, 19so nga teyeekwase Mutwe, omuva omubiri gwonna, ennyingo n'ebinyweza nga biguleetera era nga bigugatta wamu, nga gukula n'okukuza kwa Katonda.#Bef 2:21; 4:15,16
20Oba nga mwafiira wamu ne Kristo okuleka emyoyo gyonna egy'ensi, lwaki ate mweyisa nga abakyafugibwa eby'ensi?#Bag 4:3,9 21nti, “Tokwatangako, so tolegangako, so tokomangako,”#Bag 6:8 22ebyo byonna biriggwaawo, era okwo tekuba kugoberera biragiro n'okuyigiriza kw'abantu? #Is 29:13, Mat 15:9 23Ebyo birabika ng'eby'amagezi mu ngeri ey'okusinza Katonda abantu kwe bagunja bokka, ne mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri; naye tebiriiko kye bigasa n'akatono mu kufuga okwegomba kw'omubiri.#Bar 13:14, 1 Tim 4:3

Currently Selected:

Abakkolosaayi 2: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in