Abakkolosaayi 1
1
Okulamusa abawandiikirwa ebbaluwa
1Pawulo omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda, ne Timoseewo ow'oluganda,#Bef 1:1 2eri abatukuvu, ab'oluganda abeesigwa mu Kristo ab'omu Kkolosaayi: ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe.#Bar 1:7, Bef 1:2
Okwebaza
3Buli bwe tubasabira twebaza Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, #Bef 1:16, 1 Bas 1:2,3 4kubanga twawulira okukkiriza kwammwe mu Kristo Yesu, n'okwagala kwe mulina eri abatukuvu bonna,#1 Kol 13:13, Bef 1:15 5olw'essuubi eryabaterekerwa mu ggulu, lye mwawulira edda mu kigambo eky'amazima ag'Enjiri,#1 Peet 1:4, Bef 1:13,18 6eyajja gye muli; era nga bw'eri mu nsi zonna, ng'ebala ebibala era ng'ekula, era nga ne mu mmwe, okuva ku lunaku bwe mwawulira ne mutegeera ekisa kya Katonda mu mazima;#1 Tim 3:16, Bef 1:13 7nga bwe mwayigirizibwa Epafula muddu munnaffe omwagalwa, ye muweereza omwesigwa owa Kristo ku lwaffe,#Bak 4:12 8era eyatubuulira okwagala kwammwe mu Mwoyo.
Okusaba
9Naffe kyetuva tetulekaangayo kubasabira okuviira ddala ku lunaku lwe twawulira ebibafaako, nga tubeegayiririra mujjuzibwe okutegeeranga by'ayagala mu magezi gonna n'okutegeera eby'Omwoyo,#Bef 1:8,9,15-17, Baf 1:9 10era mutambulenga nga bwe kisaanira Mukama, nga mumusanyusa, nga mubalanga ebibala mu buli kikolwa ekirungi, era nga mweyongeranga mu kutegeera Katonda.#Bef 1:17; 2:10; 4:1, Baf 1:27 11Kale munywezebwenga n'amaanyi ag'ekitiibwa kye bwe gali, olw'okugumiikiriza kwonna n'okuzibiikiriza awamu n'okusanyuka;#1 Kol 1:5, Bef 1:18,19; 3:16 12nga mwebaza Kitaffe, eyatusaanyiza ffe omugabo ogw'obusika obw'abatukuvu mu musana,#Bef 1:11,18 13eyatulokola mu buyinza obw'ekizikiza, n'atutwala mu bwakabaka obw'Omwana we omwagalwa;#Bak 2:15, Luk 22:53, Bef 2:2; 6:12; 1:6 14mwe tubeerera n'okununulwa, kwe kusonyiyibwa kw'ebibi byaffe.#Bef 1:7
Kristo omutwe gw'ekkanisa
15Oyo kye kifaananyi kya Katonda atalabika, omubereberye ow'ebitonde byonna;#Beb 1:3, 2 Kol 4:4, 1 Tim 6:16, Yok 1:18 16kubanga mu oyo ebintu byonna mwe byatonderwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n'ebitalabika, oba nga ntebe za bwakabaka, oba bwami, oba kufuga, oba buyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye, era ku lulwe.#Yok 1:3,10, Bef 1:10,21 17Naye ye yaliwo nga byonna tebinnabaawo, era mu ye ebintu byonna mwe bibeereraawo. #Nge 8:25-27, Bef 1:22 18Era oyo gwe mutwe gw'omubiri, ye kkanisa: oyo lwe lubereberye, omubereberye ow'omu bafu; ye alyoke abeerenga waggulu wa byonna.#Bef 1:22; 4:15; 5:23, Bik 4:2; 26:23, Nge 1:5 19Kubanga Kitaffe yasiima okutuukirira kwonna okubeeranga mu ye;#Bef 1:23, Bak 2:9, Yok 1:16 20era nga ayita mu ye okutabaganya ebintu byonna eri ye yennyini, oba ku nsi oba mu ggulu, bwe yaleeta emirembe olw'omusaayi gw'omusalaba gwe.#Bef 1:7,10; 2:13, 1 Yok 2:2
Kristo ye mutabaganya wa boonoonyi ne Katonda
21Nammwe, mmwe abali beeyawudde ku Katonda, era abalabe mu kulowooza kwammwe, nga mukola ebikolwa ebibi,#Bef 2:1,12, Bar 5:10 22naye kaakano abatabaganyiza mu mubiri gw'ennyama ye olw'okufa kwe, alyoke abanjule abatukuvu era abatalina kya kunenyezebwa era abataliiko bbala mu maaso ge,#Bef 2:11,14,16; 5:27 23kasita mweyongera okubeera mu kukkiriza, nga munywedde, nga temusagaasagana, so nga temuvudde mu ssuubi ly'Enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa ebitonde byonna ebiri wansi w'eggulu; nze Pawulo gye nnafuukira omuweereza waayo.#Mak 16:15, 1 Tim 3:16, Bef 3:17, Beb 3:14
Okufuba kwa Pawulo okubuulira Enjiri
24Kaakano nsanyukira mu bibonoobono byange ku lwammwe, era mu mubiri gwange ntuukiriza ebyo ebibulako mu kulaba ennaku kwa Kristo olw'omubiri gwe, ye kkanisa;#Bef 3:1,13 25nze gye nnafuukira omuweereza waayo, ng'obuwanika bwa Katonda bwe buli bwe nnaweebwa gye muli, okutuukiriza ekigambo kya Katonda,#Bef 3:2,7,8 26ekyama ekyakwekebwa okuva edda n'edda n'emirembe n'emirembe: naye kaakano kibikuliddwa abatukuvu be,#Bar 16:25,26 27Katonda be yayagala okutegeeza obugagga obw'ekitiibwa obw'ekyama kino bwe buli mu b'amawanga, ekyo ye Kristo mu mmwe, essuubi ery'ekitiibwa:#1 Tim 1:1, Bar 16:25, Bef 3:9; 1:18 28gwe tubuulira ffe, nga tulabula buli muntu, era nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna, tulyoke twanjule buli muntu ng'atuukiridde mu Kristo.#Bef 4:13 29Olw'ekyo nfuba n'amaanyi gonna gatadde mu ngeri ey'ekitalo mu nze. #Baf 4:13, Bef 3:7,20
Currently Selected:
Abakkolosaayi 1: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.