Abakkolosaayi Ennyanjula
Ennyanjula
Omutume Pawulo yawandiikira ebbaluwa eno ekkanisa mu Kkolosaayi okugizimba ku musingi omunywevu kubanga waliwo abayigiriza ab'obulimba abaali bagisensera nga bagala okubaggya ku njigiriza entuufu gye baali bafunye. Pawulo alaga okusukuluma kwa Kristo ku ngeri zonna n'obulombolombo bwa bantu. Abakkiriza balina okulowooza ennyo ku by'omu ggulu okusinga ku by'omu nsi. Abakkiriza balina okuva mu mbeera zonna ez'ebibi badde mu bulamu obutukuvu, nga batunuulira Yesu yekka omutwe gw'ekkanisa (1:18). Ebbaluwa eno Pawulo yagiwandiika ali mu kkomera nga musibe.
Ebiri mu bbaluwa
I. Okwanjula (1:1-14).
II. Kristo omutwe gw'ekkanisa (1:15-20).
III. Kristo ye mutabaganya wa boonoonyi ne Katonda (1:21-23).
IV. Okufuba kwa Pawulo okubuulira Enjiri (1:24—2:3)
V. Okwekuuma enjigiriza enkyamu (2:4-23).
VI. Kristo n'obulamu obw'omu ggulu (3:1-4).
VII. Obulamu bw'obukristaayo (3:5—4:6).
VIII. Okulamusa (4:7-17).
IX. Okufundikira (4:18).
Currently Selected:
Abakkolosaayi Ennyanjula: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.