YouVersion Logo
Search Icon

Abafiripi 4

4
Okumaliriza
(4:1-23)
1Kale, ab'oluganda abaagalwa be nnumirwa omwoyo, essanyu lyange era engule yange, muyimirirenga bwe mutyo okunywerera mu Mukama waffe, abaagalwa.#2 Kol 1:14, 1 Bas 2:19,20
Ewodiya ne Suntuke bakkiriziganye
2Nneegayirira Ewodiya, era nneegayirira Suntuke, bakkiriziganye mu Mukama waffe. 3Nate era naawe, muddu munnange ddala ddala, nkwegayiridde yamba abakazi abo, kubanga baakolera wamu nange omulimu gw'enjiri nga tuli ne Kulementi, ne bakozi bannange abalala, amannya gaabwe gali mu kitabo ky'obulamu.#Zab 69:28, Luk 10:20
Emirembe gya Katonda gye gisinga
4Musanyukirenga mu Mukama waffe ennaku zonna, nate njogera nti Musanyukenga.#Baf 3:1, 2 Kol 13:11 5Abantu bonna balabenga obugumiikiriza bwammwe. Mukama waffe ali kumpi.#Beb 10:37, Yak 5:8,9 6Temweraliikiriranga kigambo kyonna kyonna; naye mu kigambo kyonna nga musaba n'okwegayiriranga awamu n'okwebazanga, bye mwagala bitegeezebwenga Katonda.#Mat 6:25-34, Bak 4:2, 1 Peet 5:7, Zab 145:18, Yok 14:27 7N'emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaakuumanga emitima gyammwe n'amagezi gammwe mu Kristo Yesu.#Bak 3:15
Okukola bye bayigirizibwa
8Eky'enkomerero, ab'oluganda, oba nga waliwo eby'amazima byonna, ebisaanira ekitiibwa byonna, eby'obutuukirivu byonna, ebirongoofu byonna, ebyagalibwa byonna, ebisiimibwa byonna; oba nga waliwo obulungi, era oba nga waliwo ettendo, ebyo mubirowoozenga.#Bar 12:17 9Bye mwayiga era ne muweebwa ne muwulira ne mulaba gye ndi, ebyo mubikolenga: ne Katonda ow'emirembe anaabeeranga nammwe.#1 Bas 5:23, Bar 16:20, 1 Kol 14:33
Pawulo yeebaza obuyambi obwamuweerezebwa ab'Efiripi
10Nsanyuse nnyo mu Mukama waffe, kubanga kaakano oluvannyuma lw'ebbanga muzzeemu okulowooza ku byange; naye ekyo okulowooza mwakirowoozanga, naye temwalina bbanga. 11Ssoogera kino olw'okubanga ndiko kye nneetaaga, kubanga mu buli mbeera gye mbaamu nnayiga okumalibwa. #1 Tim 6:6 12Mmanyi okwetoowaza, era mmanyi bwe kiba okuba n'ebintu ebingi: mu buli kigambo ne mu bigambo byonna nnayiga ekyama ekiri mu kukkuta ne mu kulumwa enjala, okuba n'ebingi era n'okuba mu bwetaavu.#2 Kol 6:10 13Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi.#2 Kol 12:10, 2 Tim 4:17 14Naye mwakola bulungi okulumirirwa awamu nange mu bibonoobono byange. 15Era mmwe, Abafiripi, mumanyi nga bwe nnava e Makedoni nga nnakatandika okubuulira Enjiri, tewali kkanisa eyassa ekimu nange mu kigambo eky'okugaba n'okuweebwa, wabula mmwe mwekka;#2 Kol 11:9 16kubanga era ne bwe nali mu Ssessaloniika mwampeereza eby'okunyamba emirundi ebiri. 17Ssoogera kino kubanga njagala kufuna kirabo, naye nnoonya ekibala ekyeyongera ku muwendo gwammwe.#1 Kol 9:11 18Naye kaakano nfunye bingi okusinga bye neetaaga, olw'ebyo Epafulodito byeyaleeta ebyava gye muli, biringa evvumbe eriwunya obulungi, ssaddaaka ekkirizibwa, esiimibwa Katonda.#Kuv 29:18, Ez 20:41, Baf 2:25 19Era Katonda wange anaatuukirizanga buli kye mwetaaga, ng'obugagga bwe obungi obw'ekitiibwa bwe buli obuli mu Kristo Yesu. 20Era Katonda waffe era Kitaffe aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
okulamusa
21Mulamuse buli mutukuvu mu Kristo Yesu. Ab'oluganda abali nange babalamusizza. 22Abatukuvu bonna babalamusizza, naye okusinga ab'omu nnyumba ya Kayisaali.#Baf 1:13
23Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga n'omwoyo gwammwe.

Currently Selected:

Abafiripi 4: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in