N'asabira Yosefu omukisa,n'agamba nti:
“Katonda, jjajjange Aburahamu
ne kitange Yisaaka gwe baaweerezanga,
Katonda eyandabiriranga
okuva mu buto bwange okutuusa kaakano,
awe abaana bano omukisa.
Malayika eyannunula
mu buli kabi konna,
abawe omukisa.
Erinnya lyange
n'erya jjajjange Aburahamu,
n'erya kitange Yisaaka,
gatuumibwenga mu bo.
Bazaale abaana bangi,
bafune abazzukulu
bangi nnyo ku nsi.”