ENTANDIKWA 48
48
Yakobo asabira Efurayimu ne Manasse omukisa
1Ebyo bwe byaggwa, ne babuulira Yosefu nti: “Kitaawo mulwadde.” Yosefu n'agenda wamu ne batabani be bombi Manasse ne Efurayimu, okulaba Yakobo. 2Ne bategeeza Yakobo nti: “Omwana wo Yosefu azze okukulaba.” Yakobo ne yeekakaba, n'atuula ku kitanda. 3N'agamba Yosefu nti: “Katonda Omuyinzawaabyonna yandabikira e Luuzi mu nsi ya Kanaani, n'ampa omukisa,#Laba ne Nta 28:13-14 4n'aŋŋamba nti: ‘Ndikuwa abaana bangi, bazzukulu bo ne mbafuula amawanga mangi. Era ndiwa bazzukulu bo ensi eno, ebe yaabwe emirembe gyonna.’ 5Kaakano batabani bo bombi, abaakuzaalirwa mu nsi y'e Misiri, nga sinnajja gy'oli mu Misiri, bange. Efurayimu ne Manasse banaabanga batabani bange nga Rewubeeni ne Simyoni bwe bali. 6Abaana b'olizaala ne badda ku bano, be baliba ababo, era obusika balibufunira ku baganda baabwe abo. 7Kino nkikoze olwa nnyoko Raakeeli. Bwe nali nga nva mu Paddani, yanfaako mu nnaku ey'ekitalo, mu nsi ya Kanaani, mu kkubo, nga wakyasigaddeyo ebbanga okutuuka mu Efuraati, ne mmuziika eyo ku kkubo erigenda mu Efuraati, ye Betilehemu.”#Laba ne Nta 35:16-19
8Yisirayeli bwe yalaba batabani ba Yosefu, n'abuuza nti: “Bano be baani?” 9Yosefu n'addamu kitaawe nti: “Be baana bange, Katonda be yampeera wano.” Yisirayeli n'agamba nti: “Baleete we ndi, mbasabire omukisa.” 10Amaaso ga Yisirayeli gaali gazibye olw'obukadde, nga takyalaba bulungi. Yosefu n'abamusembereza. N'abawambaatira, n'abanywegera. 11Yisirayeli n'agamba Yosefu nti: “Nali sirowooza nga ndiddayo okukulabako. Naye kaakano Katonda anzikirizza okulaba ne ku baana bo!” 12Yosefu n'abaggya mu maviivi ga Yisirayeli, era n'avuunama ng'obwenyi butuukidde ddala ku ttaka.
13Yosefu n'abakwata bombi, Efurayimu mu mukono gwe ogwa ddyo, ku ludda olwa Yisirayeli olwa kkono, ne Manasse mu mukono gwe ogwa kkono, ku ludda lwa Yisirayeli olwa ddyo, n'abasembeza awali kitaawe. 14Naye Yisirayeli n'agolola emikono gye, n'agigombeza: ogwa ddyo n'agussa ku mutwe gwa Efurayimu asinga obuto, ogwa kkono n'agussa ku Manasse asinga obukulu. 15N'asabira Yosefu omukisa,#48:15 N'asabira Yosefu omukisa: Mu kusabira Efurayimu ne Manasse, era yasabira Yosefu kitaabwe.n'agamba nti:
“Katonda, jjajjange Aburahamu
ne kitange Yisaaka gwe baaweerezanga,
Katonda eyandabiriranga
okuva mu buto bwange okutuusa kaakano,
awe abaana bano omukisa.
16Malayika eyannunula
mu buli kabi konna,
abawe omukisa.
Erinnya lyange
n'erya jjajjange Aburahamu,
n'erya kitange Yisaaka,
gatuumibwenga mu bo.
Bazaale abaana bangi,
bafune abazzukulu
bangi nnyo ku nsi.”
17Yosefu bwe yalaba nga kitaawe, atadde omukono gwe ogwa ddyo ku mutwe gwa Efurayimu, n'atasanyuka. N'akwata omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efurayimu, okugussa ku mutwe gwa Manasse. 18Yosefu n'agamba kitaawe nti: “Ekyo si kituufu taata, kubanga ono ye mukulu. Teeka omukono gwo ogwa ddyo ku mutwe gwe.”
19Kyokka kitaawe n'agaana. N'agamba nti: “Mmanyi, mwana wange, mmanyi. Bazzukulu ba Manasse nabo balifuuka ggwanga, era baliba bakulu. Naye muto we ye alimusinga obukulu, era bazzukulu be balifuuka mawanga mangi.”
20N'abasabira omukisa ku lunaku olwo, ng'agamba nti: “Mu Yisirayeli bwe banaabanga basabira omuntu omukisa, banaakozesanga amannya gammwe, nga bagamba nti: ‘Katonda akufuule nga Efurayimu ne Manasse.’ ” Bw'atyo Efurayimu n'amukulembeza Manasse.#Laba ne Beb 11:21
21Awo Yisirayeli n'agamba Yosefu nti: “Laba nnaatera okufa, naye Katonda anaabanga wamu nammwe, era alibazzaayo mu nsi ya bajjajjammwe. 22Era ekitundu eky'e Sekemu ekigimu, kye naggya ku Baamori nga nkozesa ekitala kyange n'omutego gwange, nkiwadde ggwe, sso si baganda bo.”
Currently Selected:
ENTANDIKWA 48: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.