Naye omutego gwe ne gunywerera ddala,
emikono gye ne giweebwa amaanyi
agava eri ow'Obuyinza Katonda wa Yakobo,
Omusumba era Omukuumi wa Yisirayeli.
Oyo Ye Katonda wa kitaawo,
era Ye anaakuyambanga.
Ye Muyinzawaabyonna anaakuwanga omukisa
n'emikisa egiva waggulu mu ggulu,
n'emikisa egiva wansi mu ttaka,
n'emikisa egy'okuzaala n'okuyonsa.