Lukka 17

17
Ebyesittaza
(Mat 18:6-7,21-22, Mak 9:42)
1Yesu n'agamba abayigirizwa be nti, “Ebyesittaza tebiyinza butajja; naye zimusanze oyo abireeta! 2Waakiri oyo okusibibwa olubengo mu bulago bwe, n'asuulibwa mu nnyanja, okusinga okwesittaza omu ku abo abato.#Mat 18:6,7 3Mwekuumenga mwekka na mwekka, muganda wo bw'ayonoonanga, omubuuliriranga; bwe yeenenyanga, omusonyiwanga.#Mat 18:15 4Era bw'akwonoonanga emirundi omusanvu ku lunaku olumu, era emirundi egyo omusanvu n'akukyukira ng'agamba nti Nneenenyezza; omusonyiwanga.”#Mat 18:21,22
Okukkiriza
5Abatume ne bagamba Mukama waffe nti, “ Otwongereko okukkiriza.”#Mak 9:24 6Mukama waffe n'agamba nti, “ Singa mulina okukkiriza okutono ng'akaweke ka kaladaali, mwandigambye omusikamiini guno nti Siguka osimbibwe mu nnyanja; era gwandibawulidde.” #Mat 17:20; 21:21
Omulimu gw'omuddu
7 “Naye ani ku mmwe, alina omuddu ng'alima oba ng'alunda endiga, bw'akomawo ng'ava mu lusuku, alimugamba nti Jjangu mangu otuule olye; 8naye atamugamba nti Jjula emmere ndye, weesibe, ompeereze, mmale okulya n'okunywa; naawe olyoke olye era onywe? 9Amwebaza omuddu oyo olw'okukola by'alagiddwa? 10Era nammwe bwe mutyo, bwe mumalanga okukola byonna bye mwalagirwa, mugambenga nti, ‘ Ffe tuli baddu abatasaana; ebyatugwanira okukola bye tukoze.’”
Yesu awonya abagenge ekkumi
11Awo olwatuuka bwe baali mu kkubo nga bagenda e Yerusaalemi, yali ng'ayita wakati wa Samaliya ne Ggaliraaya.#Luk 9:51; 13:22 12Awo bwe yayingira mu kyalo ekimu, abagenge kkumi (10) ne bamusisinkana, ne baayimirira walako;#Leev 13:45,46 13ne boogerera waggulu ne bagamba nti, “ Yesu, Mukama waffe, otusaasire.” 14Bwe yabalaba n'abagamba nti, “Mugende mwerage eri bakabona.” Awo olwatuuka bwe baali nga bagenda ne balongoosebwa.#Luk 5:14, Leev 13:49; 14:2,3 15Awo omu ku bo, bwe yalaba ng'awonye, n'akomawo n'atendereza Katonda n'eddoboozi ddene; 16n'avuunama awali ebigere bye, ng'amwebaza: era oyo yali Musamaliya. 17Yesu n'addamu n'agamba nti, “Ekkumi (10) bonna tebalongoosebbwa? Naye bali omwenda bali ludda wa? 18Tebalabise abakomawo okutendereza Katonda, wabula omugenyi ono?” 19N'amugamba nti, “ Yimuka, ogende: okukkiriza kwo kukuwonyezza.”#Luk 7:50
Okujja kw'obwakabaka bwa Katonda
(Mat 24:23-28,37-41)
20Awo Yesu bwe yabuuzibwa Abafalisaayo nti, “Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi?” N'abaddamu n'agamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda tebujja nga bweyolese:#Yok 18:36; 3:3 21so tebaligamba nti Laba, buli wano! oba nti buli wali! kubanga, laba, obwakabaka bwa Katonda buli wakati mu mmwe.”#Mat 24:23, Yok 1:26; 12:35
22N'agamba abayigirizwa be nti, “Ennaku zigenda okujja lwe mulyegomba okulaba olumu ku nnaku z'Omwana w'omuntu, so temulirulaba. 23Kale balibagamba nti Laba, wali! Laba, wano! temugendanga, so temubagobereranga;#Luk 21:8 24kubanga ng'okumyansa bwe kumyansiza ku luuyi olumu olw'eggulu, ne kutangaaza n'oluuyi olulala olw'eggulu, bw'atyo Omwana w'omuntu bw'aliba ku lunaku lwe.#Mat 24:26,27 25Naye okusooka kimugwanira okubonyaabonyezebwa ennyo, n'okugaanibwa ab'emirembe gino.#Luk 9:22 26Era nga bwe byali mu nnaku za Nuuwa, bwe bityo bwe biriba ne mu nnaku z'Omwana w'omuntu.#Mat 24:37-39 27Baali nga balya, nga banywa, nga bawasa, nga bawayira, okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, amataba ne gajja, ne gabazikiriza bonna.#Lub 7:7-23 28Era nga bwe byali mu nnaku za Lutti; baali nga balya, nga banywa, nga bagula, nga batunda, nga basiga, nga bazimba, #Lub 18:20 29naye ku lunaku luli Lutti lwe yava mu Sodomu, omuliro n'ekibiriiti ne bitonnya okuva mu ggulu ne bibazikiriza bonna:#Lub 19:24,25 30bwe bityo bwe biriba ku lunaku Omwana w'omuntu lw'alibikkulibwa. 31Ku lunaku olwo, alibeera waggulu ku nnyumba, n'ebintu bye nga biri mu nnyumba, takkanga kubiggyamu; n'ali mu lusuku bw'atyo taddanga mabega.#Mat 24:17,18, Lub 19:26 32Mujjukire mukazi wa Lutti. 33Buli anoonya okulokola obulamu bwe alibubuza; naye buli abubuza alibuwonya.#Luk 9:24 34Mbagamba nti Mu kiro ekyo babiri baliba ku kitanda kimu; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa. 35Abakazi babiri abaliba awamu nga basa ku lubengo; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa. #Mat 24:40,41 36[Ababiri baliba mu lusuku; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa.”] 37Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Ludda wa, Mukama waffe?” N'abaddamu nti, “ Awaba omulambo n'ensega we zikuŋŋaanira.”#Mat 24:28

Айни замон обунашуда:

Lukka 17: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in