Lukka 16

16
Omuwanika omukumpanya
1Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti, “ Waaliwo omuntu omugagga eyalina omuwanika we; omuwanika oyo ne bamuloopa gy'ali ng'asaasaanya ebintu bye. 2N'amuyita n'amugamba nti Kiki kino kye mpulira ku ggwe? Bala omuwendo ogw'obuwanika bwo; kubanga tokyayinza nate kubeera muwanika. 3Oyo omuwanika n'ayogera munda mu ye nti Nnaakola ntya, kubanga mukama wange anzigyako obuwanika bwange? Sirina galima; ate nkwatibwa ensonyi okusabiriza. 4Mmanyi kye nnaakola, bwe nnaagobebwa mu buwanika, bansembeze mu nnyumba zaabwe. 5N'ayita buli alina ebbanja lya mukama we, nnaagamba ow'olubereberye nti, ‘Mukama wange akubanja ki?’ 6N'agamba nti, ‘Ebigera by'amafuta kikumi (100).’ Nnaamugamba nti, ‘ Twala ebbaluwa yo, otuule mangu owandiike ataano (50).’ 7Ate nnaagamba omulala nti, ‘Naawe obanjibwa ki?’ N'agamba nti, ‘Ensawo z'eŋŋaano kikumi (100).’ Nnaamugamba nti, ‘Twala ebbaluwa yo, owandiike kinaana (80).’ 8Awo mukama we n'atendereza oyo omuwanika omukumpanya kubanga akoze bya magezi: kubanga abaana ab'ebiro bino bagezigezi mu mirembe gyabwe okusinga abaana b'omusana.#Bef 5:8, 1 Bas 5:5 9Nange mbagamba nti Mwekwanirenga emikwano mu mamona atali mutuukirivu; bw'aliggwaawo, babasembeze mu weema ziri ezitaggwaawo.#Luk 14:14, Mat 6:20; 10:40; 19:21 10Aba omwesigwa ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mwesigwa: era aba omulyazaamaanyi ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mulyazaamaanyi.#Luk 19:17 11Kale bwe mutaabenga beesigwa ku mamona atali mutuukirivu, ani alibateresa obugagga obw'amazima? 12Era bwe mutaabenga beesigwa ku ekyo ekya beene, ekyammwe ani alikibawa? 13Tewali muweereza ayinza okuweereza abaami ababiri; kubanga oba alikyawako omu n'ayagala omulala; oba alinywerera ku omu n'anyooma omulala. Temuyinza kuweerezanga Katonda ne mamona.”#Mat 6:24
Amateeka n'obwakabaka bwa Katonda
(Mat 11:12-13; 5:13-32, Mak 10:11-12)
14Awo Abafalisaayo, abaali abaagazi b'effeeza, ne bawulira ebyo byonna; ne bamusekerera.#Mat 23:14 15N'abagamba nti, “ Mmwe muumwo abeefuula abatuukirivu mu maaso g'abantu; naye Katonda amanyi emitima gyammwe; kubanga ekigulumizibwa mu bantu kya muzizo mu maaso ga Katonda.#Luk 18:9-14, Mat 23:28, Zab 7:9, Nge 6:16,17 16Amateeka ne bannabbi byaliwo okutuuka ku Yokaana: okuva olwo Enjiri y'obwakabaka bwa Katonda ebuulirwa, era buli muntu abuyingiramu lwa maanyi.#Mat 11:12,13 17Naye kyangu eggulu n'ensi okuggwaawo, okusinga ennukuta emu ey'amateeka okuggwaawo.#Mat 5:18 18Buli muntu yenna anaagobanga mukazi we n'awasa omulala, ng'ayenze; n'oyo anaawasanga eyagobebwa bba ng'ayenze.”#Mat 5:32; 19:9
Omugagga ne Laazaalo
19 “Awo waaliwo omuntu omugagga eyayambalanga olugoye olw'effulungu ne bafuta ennungi, eyabeeranga bulijjo mu kwesiima ng'asanyuka: 20era waaliwo n'omwavu erinnya lye Laazaalo, eyali awummusewummuse amabwa eyagalamizibwanga ku mulyango gw'ennyumba y'omugagga oyo, 21nga yeegomba okukkuta ebyagwanga okuva ku mmeeza y'omugagga; era embwa nazo zajjanga ne zikombereranga amabwa ge.#Mat 15:27 22Awo olwatuuka omwavu n'afa, n'asitulibwa bamalayika n'assibwa mu kifuba kya Ibulayimu. N'omugagga naye n'afa, n'aziikibwa. 23Ng'ali mu kulumizibwa kungi emagombe, n'ayimusa amaaso ge n'alengera Ibulayimu ng'ali wala, ne Laazaalo ng'ali mu kifuba kye. 24N'ayogerera waggulu n'agamba nti, ‘Kitange Ibulayimu, nsaasira, otume Laazaalo, annyike ensonda y'olunwe lwe mu mazzi, awozeewoze olulimi lwange; kubanga ndi mu bulumi bungi mu muliro guno.’ 25Naye Ibulayimu n'amugamba nti, ‘ Mwana wange, jjukira nga ggwe waweebwanga ebirungi byo mu bulamu bwo, era ne Laazaalo bw'atyo yaweebwanga ebibi; naye kaakano ye asanyusibwa, ggwe olumwa. 26Era ku ebyo byonna, wakati waffe nammwe waliwo olukonko oluwanvu olwateekebwawo, abaagala okuva eno okujja gye muli balemenga okuyinza, era balemenga okuva eyo okuyitawo okujja gyetuli.’ 27N'agamba nti, ‘ Kale, nkwegayiridde, kitange, otume Lazaalo mu nnyumba ya kitange; 28kubanga nnina baganda bange bataano; abalabule baleme okujja nabo mu kifo kino ekirimu okulumwa.’ 29Naye Ibulayimu n'agamba nti, ‘ Balina Musa ne bannabbi; bawulirenga abo.’#2 Tim 3:6 30N'agamba nti, ‘Nedda, kitange Ibulayimu; naye omu ku bafu bw'aligenda gyebali balyenenya.’ 31N'amugamba nti, ‘ Nga bwe batawulira Musa ne bannabbi, era newakubadde omu ku bafu bw'alizuukira, talibakkirizisa.’”#Yok 11:45-53

Айни замон обунашуда:

Lukka 16: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy