ENTANDIKWA 26

26
Yisaaka abeera e Gerari
1Ne wagwa enjala mu nsi, eteri eyo ey'olubereberye eyagwa mu biro bya Aburahamu. Yisaaka n'agenda eri Abimeleki, kabaka w'Abafilistiya mu Gerari. 2Mukama n'alabikira Yisaaka, n'agamba nti: “Toserengeta mu Misiri, sigala mu nsi eno, gye nakugamba okubeeramu.
3“Beera mu nsi eno, nange nnaabeeranga wamu naawe, era nnaakuwanga omukisa. Ndikuwa ggwe ne bazzukulu bo, ebitundu bino byonna eby'ensi. Nnaatuukirizanga ekirayiro, kye nalayirira kitaawo Aburahamu.#Laba ne Nta 22:16-18 4Ndikuwa abazzukulu bangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu era ndibawa ebitundu bino byonna eby'ensi. 5Era mu bazzukulu bo, amawanga gonna ku nsi mwe galiweerwa omukisa, kubanga Aburahamu yawuliranga bye namukuutiranga, era yakwatanga amateeka gange gonna n'ebiragiro byange.”
6Yisaaka n'abeera e Gerari. 7Abasajja baayo bwe baamubuuza ku mukazi we, n'agamba nti mwannyina, kubanga yatya okwogera nti mukazi we, abasajja baayo baleme okumutta olwa Rebbeeka, eyali omulungi ennyo mu ndabika ye.#Laba ne Nta 12:13; 20:2 8Yisaaka bwe yali ng'amazeeyo ennaku nnyingiko, Abimeleki kabaka w'Abafilistiya n'atunula mu ddirisa, n'alaba Yisaaka ng'azannya ne Rebbeeka mukazi we. 9Abimeleki n'ayita Yisaaka, n'agamba nti: “Ddala ono mukazi wo. Kale lwaki wagamba nti mwannyoko?” Yisaaka n'amugamba nti: “Nalowooza nti bajja kunzita olw'okubeera ye.”
10Abimeleki n'agamba nti: “Kiki kino ky'otukoze? Omu ku basajja bange yandisobodde okwebaka ne mukazi wo, n'otuleetera omusango.” 11Abimeleki n'akuutira abantu bonna nti: “Buli alikwata ku musajja oyo, oba ku mukazi we, wa kuttibwa.”
12Awo Yisaaka n'asiga mu nsi eyo, n'akungula bya mirundi kikumi mu bye yasiga mu mwaka ogwo, kubanga Mukama yamuwa omukisa. 13Omusajja n'afuna ebintu, ne byeyongera nnyo, n'afuuka mugagga. 14Era kubanga yalina amagana g'ente n'endiga n'embuzi, era n'abaddu bangi, Abafilistiya ne bamukwatirwa obuggya. 15Awo ne baziba enzizi zonna, abaddu ba kitaawe Aburahamu ze baasima nga Aburahamu akyali mulamu, ne bazijjuzaamu ettaka.
16Abimeleki n'agamba Yisaaka nti: “Va mu nsi yaffe, kubanga ofuuse wa maanyi okutusinga.” 17Awo Yisaaka n'avaayo, n'asimba eweema ze mu kiwonvu eky'e Gerari, n'abeera eyo. 18N'ayerula enzizi ezaali zisimiddwa, nga Aburahamu akyali mulamu, Abafilistiya ze baaziba nga Aburahamu amaze okufa. Yisaaka n'aziyita amannya ago gennyini, kitaawe ge yazituuma.
19Awo abaweereza ba Yisaaka ne basima oluzzi mu kiwonvu, ne bazuula amazzi amalungi. 20Abasumba ab'e Gerari ne bakaayana n'abasumba ba Yisaaka, nga bagamba nti: “Amazzi gano gaffe.” Yisaaka n'atuuma oluzzi olwo erinnya Eseki,#26:20 Eseki: Mu Lwebureeyi “Esek,” ekitegeeza “Enkaayana.” kubanga baakaayana naye.
21Abaweereza ba Yisaaka ne basima oluzzi olulala, era nalwo ne balukaayanira. N'alutuuma erinnya Situna.#26:21 Situna: Mu Lwebureeyi “Sitnah,” ekitegeeza “Obulabe.” 22N'ajjulukukayo, n'asima oluzzi olulala. Olwo lwo ne batalukaayanira, n'alutuuma erinnya Rehoboti.#26:22 Rehoboti: Mu Lwebureeyi “Rehoboth,” ekitegeeza “Okugaziya ekifo.” N'agamba nti: “Kaakano Mukama atugaziyizza, tujja kwala mu nsi.”
23N'avaayo n'ayambuka e Beruseba. 24Mukama n'amulabikira ekiro ekyo, n'agamba nti: “Nze Katonda wa kitaawo Aburahamu. Totya, kubanga nze ndi wamu naawe, nnaakuwanga omukisa, era ndikuwa abazzukulu bangi, olw'omuweereza wange Aburahamu.” 25Yisaaka n'azimba eyo alutaari, n'asinza Mukama. N'asimbayo eweema ye, era abasajja be ne basimayo oluzzi.
Yisaaka alagaana ne Abimeleki
26Awo Abimeleki n'ava mu Gerari, ng'ali wamu ne Ahuzati mukwano gwe, ne Fikoli omuduumizi w'amagye ge, ne bagenda eri Yisaaka.#Laba ne Nta 21:22 27Yisaaka n'ababuuza nti: “Kiki ekibaleese gye ndi, nga mwankyawa era nga mwangoba mu nsi yammwe?”
28Ne baddamu nti: “Tulabidde ddala nga Mukama ali naawe, kyetuva tugamba nti wabeewo obweyamo wakati wo naffe, era tukole endagaano naawe, nti 29ggwe tootukolengako kabi, nga naffe bwe tutaakukolako kabi. Twakukolera eby'ekisa, ne tukuleka n'ogenda mirembe. Kaakano Mukama ggwe gw'awadde omukisa.”
30Awo Yisaaka n'abafumbira embaga, ne balya ne banywa. 31Ne bagolokoka enkeera mu makya, ne bakola obweyamo ku buli ludda. Yisaaka n'abasiibula, ne baawukana naye mirembe.
32Ku lunaku olwo, abasajja ba Yisaaka ne bajja ne bamubuulira ku luzzi lwe baali basimye, ne bagamba nti: “Tuzudde amazzi.” 33N'alutuuma erinnya Beruseba#26:33 Beruseba: Mu Lwebureeyi litegeeza “Oluzzi olw'obweyamo” oba “Oluzzi olw'omusanvu.” Laba ne 21:31. n'okutuusa kati.
Baka Esawu abagwira
34Esawu bwe yaweza emyaka amakumi ana, n'awasa Yudita muwala wa Beeri Omuhiiti. N'awasa ne Basemati muwala wa Eloni era Omuhiiti, 35ne bakalubya obulamu bwa Yisaaka ne Rebbeeka.

Выбрано:

ENTANDIKWA 26: LB03

Выделить

Поделиться

Копировать

None

Хотите, чтобы то, что вы выделили, сохранялось на всех ваших устройствах? Зарегистрируйтесь или авторизуйтесь