Luk 8:47-48
Luk 8:47-48 BIBU1
Omukazi bwe yalaba nga tasobola kwekweka, n'ajja ng'akankana, n'avunnama ku bigere bye n'ayatula mu maaso g'abantu bonna ensonga eyamumukomezzaako, era nga bw'awonye amangu ago. Awo Yezu n'amugamba nti: “Muwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza; genda mirembe.”