Yow 18

18
1 # Mat 26,30-36; Mar 14,26-36; Luk 22,39. Yezu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n'afuluma n'abayigirizwa be, n'alaga emitala w'akagga Kiduroni, awaali ennimiro, n'ayingira omwo n'abayigirizwa be. 2Ne Yuda eyamuwaayo, yali amanyi ekifo ekyo, kubanga Yezu yagendangayo emirundi mingi wamu n'abayigirizwa be. 3#Mat 26,47-56; Mar 14,43-50; Luk 22,47-53.Awo Yuda n'afuna ekibinja ky'abaserikale n'abaweereza okuva ewa bakabona abakulu n'Abafarisaayo, n'ajja eyo n'ettawaaza n'emimuli n'ebyokulwanyisa. 4Yezu yali amanyi byonna ebigenda okumutuukirira, n'abeeyuna, n'abagamba nti: “Munoonya ani?” 5Ne bamuddamu nti: “Yezu ow'e Nazareti.” Yezu n'abagamba nti: “Ye nze.” Ne Yuda eyamulyamu olukwe yali ayimiridde nabo. 6Olw'abagamba nti: “Ye nze,” ne badda ekyennyumannyuma, ne bagwa ku ttaka. 7N'ababuuza omulundi omulala nti: “Munoonya ani?” Bo ne baddamu nti: “Yezu ow'e Nazareti.” 8Yezu n'abaddamu nti: “Mbagambye nti: ‘Ye nze;’ oba nno nze gwe munoonya, bano mubaleke bagende.” 9Ekigambo kye yagamba kiryoke kituukirire, nti: “Be wampa saabulwako n'omu.” 10Simoni Petero yalina ekitala; n'akisowola, n'atema omuddu w'akabona omukulu, n'amusalako okutu okwa ddyo, erinnya ly'omuddu nga ye Maluko. 11#Mat 26,39; Mar 14,36; Luk 22,42.Yezu n'agamba Petero nti: “Zza ekitala kyo mu kiraato; ekikompe Kitange ky'ampadde siikinywe?”
Yezu awozesebwa ewa Anna n'ewa Kayafa; Petero amwegaana
12Awo ekibinja ky'abaserikale n'omukulu waabwe n'abaweereza b'Abayudaaya ne bakwata Yezu, ne bamusiba. 13Ne bamusookeza ewa Anna, kubanga ye yali mukoddomi wa Kayafa, eyali kabona omukulu mu mwaka ogwo. 14#11,49-50.Kayafa oyo ye wuuyo eyali awadde Abayudaaya amagezi nti: “Kisaanye omuntu omu afiirire bonna.” 15#Mat 26,58.69-75; Mar 14,54.66-72; Luk 22,54-62.Simoni Petero n'agoberera Yezu, era n'omuyigirizwa omulala. Omuyigirizwa oyo ye nga bwe yali omumanye ewa kabona omukulu, n'ayingira ne Yezu mu luggya lwa kabona omukulu. 16Ye Petero yali ayimiridde bweru ku mulyango. Omuyigirizwa oli eyali omumanye ewa kabona omukulu naafuluma n'agamba omuzaana omuggazi, ye n'ayingiza Petero. 17Omuzaana omuggazi n'agamba Petero nti: “Kazzi naawe oli omu ku bayigirizwa b'omuntu ono.” Ye n'addamu nti: “Nedda, siri.” 18Abaddu n'abaweereza baali bakumye ekyoto, kubanga obudde bwali bunnyogoga, nga bayimiridde boota; ne Petero yali ayimiridde ng'ayota.
19Awo kabona omukulu n'abuuza Yezu ku bayigirizwa be ne ku njirigiriza ye. 20Yezu n'amuddamu nti: “Nayogera mu lwatu eri ensi; bulijjo nayigirizanga mu sinaagooga ne mu Kiggwa Abayudaaya bonna gye bakuŋŋaanira; soogeranga kantu mu kyama; 21ombuuliza ki? Buuza abo abaawuliranga bye nabagambanga; abo bamanyi bye nabagambanga.” 22Yali ky'ajje ayogere ebyo, omu ku baweereza eyali ayimiridde awo, n'akuba Yezu oluyi nga bw'agamba nti: “Ggwe oddamu otyo kabona omukulu?” 23Yezu n'amuddamu nti: “Oba njogedde bubi, nnumiriza ekibi ekyo; oba njogedde bulungi, onkubidde ki?” 24Awo Anna n'amuweereza nga musibe ewa Kayafa kabona omukulu.
25Simoni Petero yali ayimiridde ng'ayota. Ne bamugamba nti: “Kazzi naawe oli omu ku bayigirizwa be?” Ye ne yeegaana; n'agamba nti: “Nedda, siri.” 26Awo omu ku baweereza ba kabona omukulu, ow'oluganda n'oli Petero gwe yasalako okutu, n'amugamba nti: “Saakulabye mu nnimiro ng'oli naye?” 27Petero n'addamu okwegaana, era amangu ago enkoko n'ekookolima.
Yezu awozesebwa ewa Pilato
28 # Mat 27,2.11-26; Mar 15,1-15; Luk 23,1-7.13-25. Awo ne baggya Yezu ewa Kayafa ne bamutwala mu Purayitoriyo. Obudde bwali bwakakya. Bo bennyini tebaayingira mu Purayitoriyo, baleme kusoba, basobole okulya Pasika. 29Pilato n'afuluma n'agenda gye bali, n'abagamba nti: “Nsonga ki gye muleeta okuvunaana omuntu ono?” 30Bo ne bamuddamu nti: “Singa omuntu ono tabadde mukozi wa bibi, tetwandimukukwasizza.” 31Pilato n'abagamba nti: “Mmwe mumutwale, mumulamule nga mugoberera amateeka gammwe.” Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Ffe tetukkirizibwa kutta muntu n'omu.” 32#3,14; 12,39.Ekigambo kiryoke kituukirire bwe kityo Yezu kye yagamba ng'ategeeza enfa gy'alifaamu.
33Pilato n'ayingira ate mu Purayitoriyo, n'ayita Yezu, n'amugamba nti: “Ggwe kabaka w'Abayudaaya?” 34Yezu n'addamu nti: “Ekyo okyogedde ku bubwo wekka, n'andiki balala be bakikugambye ku nze?” 35Pilato n'addamu nti: “Ate nze ndi Muyudaaya? Eggwanga lyo ne bakabona abakulu be bakuwaddeyo gye ndi. Wakola ki?” 36Yezu n'addamu nti: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi eno. Singa obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi eno, abaweereza bange tebandiremye kulwana, nneme kuweebwayo mu Bayudaaya. Naye nno obwakabaka bwange si bwa mu nsi eno.” 37Pilato n'amugamba nti: “Awo nno oli kabaka?” Yezu n'addamu nti: “Oyogedde nti ndi kabaka. Nze kino kye nazaalirwa, era kino kye kyandeeta mu nsi, okujulira amazima; buli w'amazima, awulira eddoboozi lyange.” 38Pilato n'amugamba nti: “Amazima kye ki?”
Bwe yamala okwogera ekyo, n'afuluma n'agenda eri Abayudaaya nate, n'abagamba nti: “Ono simulabamu nsonga n'emu. 39Naye mulina empisa nze okubateera omu ku Pasika; kale nno mwagala mbateere kabaka w'Abayudaaya?” 40Ne bayoogaana buggya nti: “Si ono, wabula Barabba.” Sso Barabba yali munyazi.

Выбрано:

Yow 18: BIBU1

Выделить

Поделиться

Копировать

None

Хотите, чтобы то, что вы выделили, сохранялось на всех ваших устройствах? Зарегистрируйтесь или авторизуйтесь