Ebik 6
6
1Mu budde obwo, omuwendo gw'abayigirizwa bwe gwagenda gweyongera, Abagereeki#6,1 Abagereeki: wano kitegeeza Abakristu abataali Bayudaaya, okusinga abaali bavudde mu mawanga agoogera Olugereeki. ne batandika okwemulugunyiza Abeebureeyi,#6,1 Abeebureeyi: wano kitegeeza Abakristu Abayudaaya. Abakristu Abayudaaya baalinamu okunyoomerera bannaabwe abaali bavudde mu mawanga amalala, kubanga bo Abayudaaya baali batayirire ne Katonda nga baamumanya kuva dda (laba Rom 2,1-3,8). kubanga bannamwandu baabwe tebaafibwangako mu kugabana okwa bulijjo. 2Awo Ekkumi n'Ababiri ne bakuŋŋaanya ekibiina ky'abayigirizwa, ne babagamba nti: “Si kituufu ffe okulekayo okuyigiriza ekigambo kya Katonda ne tudda mu kugaba emmere. 3Kale nno, abooluganda, mwelondemu abasajja musanvu aboogerwako obulungi, abajjudde Mwoyo n'amagezi, be tuba tussa ku mulimu ogwo. 4Ffe tujja kwemalira ku kwegayirira ne ku kuweereza ekigambo.” 5Abantu bonna ne basiima kye baagamba, ne balonda Stefano omusajja ajjudde okukkiriza ne Mwoyo Mutuukirivu, ne Filippo, ne Purokoro, ne Nikanori, ne Temoni, ne Parumena, ne Nikolawo ow'e Antiyokiya eyali asomye ekiyudaaya, 6ne babaleeta mu maaso g'Abatume; nga bamaze okwegayirira, ne babassaako emikono. 7Ekigambo ky'Omukama ne kyeyongera okubuna, n'omuwendo gw'abayigirizwa ne gweyongera nnyo mu Yeruzaalemu; era ne bakabona bangi ne bagondera okukkiriza.
Stefano akwatibwa
8 #
2 Tim 2,11. Stefano yajjula eneema n'amaanyi, n'akola ebyewuunyisa ebinene n'obubonero mu bantu. 9Awo abamu mu sinaagooga eyayitibwanga ey'Abaateebwa mu Buddu, n'ey'Abakureni, n'ey'ab'e Alekisanduriya, n'abamu ab'omu Silisiya n'e Aziya, ne basituka ne bawakana ne Stefano. 10Naye ne batasobola kuwakanya magezi na Mwoyo bye yayogezanga. 11Awo ne bafukuutirira abantu, abaagamba nti: “Twamuwulira ng'ayogera ebigambo ebivuma Musa ne Katonda.” 12Ne basiikuula abantu, n'abakadde, n'abawandiisi, ne bamuzinda, ne bamukwata, ne bamuleeta mu lukiiko. 13Ne bassaawo abajulizi ab'obulimba abaagamba nti: “Omusajja ono tata kwogera bigambo ku kifo kino ekitukuvu ne ku Tteeka; 14twamuwulira ng'agamba nti: ‘Yezu ow'e Nazareti ajja kuzikiriza ekifo kino, akyuse n'empisa Musa ze yaleka atuwadde.’ ” 15Bonna abaali mu lukiiko bwe baamutunuulira, ne balaba ng'amaaso ge gali ng'amaaso ga malayika.
Okwogera kwa Stefano eri olukiiko
Выбрано:
Ebik 6: BIBU1
Выделить
Поделиться
Копировать
Хотите, чтобы то, что вы выделили, сохранялось на всех ваших устройствах? Зарегистрируйтесь или авторизуйтесь
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.