Ebik 11

11
1Abatume n'abooluganda abaali mu Buyudaaya ne bawulira nga n'ab'amawanga bakkirizza ekigambo kya Katonda. 2Petero bwe yayambuka e Yeruzaalemu, abaali batayiriddwa ne bamulumba 3nga bagamba nti: “Wagendera ki mu bantu abatali batayirire n'okulya n'olya nabo?” 4#10,1-48.Petero n'atandika okubannyonnyola kinnakimu, n'agamba nti: 5“Nali ndi mu kibuga Yoppa, nga neegayirira, ne mbulawo mu mwoyo, ne ndabikirwa, ne ndaba ekintu ekikkirira nga kiri ng'essuuka ennene gye bakkiririza ku nsonda zaayo ennya okuva mu ggulu, ne kijja wansi we nali. 6Bwe nakitunuulira okwetegereza, ne ndabamu ebisolo eby'oku nsi, n'ebyewalula, n'ebinyonyi eby'omu bbanga. 7Ne mpulira eddoboozi eriŋŋamba nti: ‘Petero, situka; tta, olye.’ 8Naye ne nziramu nti: ‘Nedda, Mukama; anti ekikyafu oba ekitali kirongoofu tekiyitanga mu kamwa kange.’ 9Eddoboozi ne liddamu ogwokubiri nga liyima mu ggulu nti: ‘Katonda bye yatukuza ggwe tobiyitanga bikyafu.’ 10Ekintu ekyo kyakolebwa emirundi esatu; oluvannyuma byonna ne biddayo mu ggulu. 11Okwezimuukiriza ng'abasajja basatu be baali bantumidde, nga bava e Kayisariya, nga batuuse ku nnyumba mwe twali. 12Mwoyo Mutuukirivu n'aŋŋamba okugenda nabo awatali kulonzalonza. N'abooluganda bano omukaaga ne bamperekerako, ne tuyingira mu nnyumba y'omusajja. 13N'atunyumiza nga bwe yalaba malayika mu nnyumba ye ng'ayimiridde, n'amugamba nti: ‘Tuma e Yoppa, oyite Simoni ayitibwa Petero, 14ajja kukutegeeza ebigambo mwe mujja okulokokera, ggwe wamu n'ennyumba yo yonna.’ 15Bwe natandika okwogera Mwoyo Mutuukirivu n'akka ku bo nga bwe yakka ku ffe mu masooka. 16#1,5.Ne nzijukira ekigambo ky'Omukama kye yatugamba nti: ‘Yowanna yabatizanga na mazzi; naye mmwe mujja kubatizibwa ne Mwoyo Mutuukirivu.’ 17Kale nno obanga Katonda yabawa ekirabo kye kimu kye yawa ffe abakkiriza Omukama Yezu Kristu, nandibadde ani nze okuziyiza Katonda?” 18Bwe baawulira ebyo, ne basirika, ne batendereza Katonda nga bagamba nti: “Awo nno n'ab'amawanga nabo Katonda abawadde okubonerera bafune obulamu.”
Amasooka g'Ekleziya mu Antiyokiya
19 # 8,1-4. Bali abaali basaasaanyiziddwa ekiyigganyizo ekyabaawo olwa Stefano, ne batambula, ne batuuka mu Fenisiya, Kupuro ne mu Antiyokiya, naye nga tebayigiriza mulala yenna wabula Abayudaaya bokka. 20Abamu ku bo ab'omu Kupuro n'abomu Kureni, bwe baagenda mu Antiyokiya, ne boogera n'Abagereeki, ne babayigiriza Omukama Yezu. 21N'omukono gw'Omukama gwali nabo; omuwendo munene ogw'abakkiriza ne badda eri Omukama. 22Amawulire ne gagwa mu matu g'Ekleziya y'omu Yeruzaalemu, ne batuma Barunaba e Antiyokiya. 23Bwe yatuukayo, n'alaba eneema ya Katonda, n'ajaguza. N'abakubiriza bonna banywerere ku Mukama n'omutima omugumu. 24Kubanga yali muntu mulungi, ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu n'okukkiriza. Ekibiina kinene ne kyegatta ku Mukama. 25Barunaba n'agenda e Taruso okunoonya Sawulo. 26Bwe yamuggukako, n'amutwala mu Antiyokiya. Ne bamala omwaka mulamba nga basisinkana Ekleziya, ne bayigiriza ekibiina kinene; mu Antiyokiya abayigirizwa gye baasookera okuyitibwa Abakristu.
Barunaba ne Sawulo batumibwa e Yeruzaalemu
27Mu nnaku ezo abalanzi baava e Yeruzaalemu ne bajja mu Antiyokiya. 28Omu ku bo ayitibwa Agabo n'ayimirira, n'alanga mu Mwoyo Mutuukirivu nti enjala ey'amaanyi yali ejja kugwa ku nsi yonna. Kino kyabaawo mu mirembe gya Kulawudiyo. 29Abayigirizwa ne bateesa buli omu okusinziira ku busobozi bwe adduukirire abooluganda mu Buyudaaya. 30Ne bakola bwe batyo; ne baweereza obuyambi eri abakadde nga babukwasizza Barunaba ne Sawulo.
Yakobo attibwa, Petero asibwa nate

Выбрано:

Ebik 11: BIBU1

Выделить

Поделиться

Копировать

None

Хотите, чтобы то, что вы выделили, сохранялось на всех ваших устройствах? Зарегистрируйтесь или авторизуйтесь