ENTANDIKWA 40

40
Yosefu avvuunula ebirooto by'abasibe
1Bwe waayitawo ekiseera ng'ebyo biwedde, omusenero wa kabaka w'e Misiri, n'omufumbiro we ne banyiiza mukama waabwe kabaka. 2Kabaka n'asunguwalira nnyo abakungu abo bombi: omukulu w'abasenero n'omukulu w'abafumbiro, 3n'abaggalira mu kkomera, mu nnyumba y'omukulu w'abaserikale abakuumi b'olubiri, mu kifo kye kimu Yosefu mwe yasibirwa. 4Omukulu w'abaserikale abakuuma olubiri n'alonda Yosefu okubaweereza. Ne bamalayo ekiseera nga basibe.
5Mu kiro ekimu, eyo mu kkomera, omusenero n'omufumbiro wa kabaka w'e Misiri, buli omu n'aloota ekirooto, nga buli kirooto kya makulu maawufu. 6Yosefu bwe yagenda gye baali enkya ku makya, n'alaba nga beeraliikiridde. 7N'abuuza abakungu ba kabaka abo abaasibirwa awamu naye mu nnyumba ya mukama we, nti: “Kiki ekibeeraliikirizza bwe mutyo olwaleero?”
8Ne bamuddamu nti: “Buli omu ku ffe yaloose ekirooto, naye tewannabaawo ayinza kuvvuunula makulu ga birooto ebyo.” Yosefu n'agamba nti: “Katonda si ye asobozesa abantu okuvvuunula ebirooto? Kale mumbuulire ebirooto ebyo.”
9Awo omusenero omukulu n'abuulira Yosefu ekirooto kye, n'amugamba nti: “Mu kirooto kyange, waabaddewo omuzabbibu mu maaso gange, 10nga guliko amatabi asatu. Olwabadde okuleeta ebikoola, ne gumulisa ebimuli, ne gubala ebirimba by'emizabbibu emyengevu. 11Nabadde nkutte ekikopo kya kabaka mu ngalo zange, ne nzirira emizabbibu, ne ngikamulira mu kikopo kya kabaka, ne nkimukwasa mu ngalo ze.”
12Yosefu n'amugamba nti: “Gano ge makulu gaakyo: amatabi asatu, ze nnaku ssatu. 13Mu nnaku ssatu kabaka ajja kukuddiza obukulu bwo, akuzzeeyo mu bwami bwo olyoke omukwasenga ekikopo mu ngalo ze, nga bwe wakolanga edda, bwe wali omusenero we. 14Naye byonna bwe birikugendera obulungi onjijukiranga, nkwegayiridde. Nkwatirwa ekisa onjogereko eri kabaka, onzigye mu kkomera muno, 15kubanga ddala nanyagibwa mu nsi y'Abebureeyi, era ne kuno sikolanga kintu na kimu ekyandibanteesezza mu kkomera.”
16Omufumbiro omukulu bwe yalaba ng'amakulu g'ekirooto ekyo malungi, n'agamba Yosefu nti: “Nange naloose ekirooto. Nabadde neetisse ku mutwe gwange ebibbo bisatu ebirimu emigaati. 17Mu kibbo ekya waggulu mwabaddemu emigaati egya buli ngeri, nga gya kabaka. Ennyonyi ne zigiriira mu kibbo ku mutwe gwange.”
18Yosefu n'addamu nti: “Gano ge makulu gaakyo: ebibbo ebisatu ze nnaku ssatu, 19kabaka ajja kukuggyako obukulu bwo, akusibemu omuguwa mu bulago, akuwanike ku muti, ofe, era ennyonyi zijja kulya omulambo gwo.”
20Ku lunaku olwokusatu, olwali olw'amazaalibwa ga kabaka, kabaka n'agabula abaweereza be bonna embaga. Omusenero omukulu n'omufumbiro omukulu n'abaddiza obukulu bwabwe mu maaso g'abaweereza be. 21N'akomyawo omusenero omukulu mu busenero bwe, omusenero oyo n'akwasa kabaka ekikopo mu ngalo ze. 22Naye kabaka n'awanika ku muti omufumbiro omukulu, nga Yosefu bwe yabavvuunulira ebirooto. 23Kyokka omusenero omukulu n'atalowooza ku Yosefu, n'amwerabirira ddala.

Արդեն Ընտրված.

ENTANDIKWA 40: LB03

Ընդգծել

Կիսվել

Պատճենել

None

Ցանկանու՞մ եք պահպանել ձեր նշումները ձեր բոլոր սարքերում: Գրանցվեք կամ մուտք գործեք