ENTANDIKWA 39
39
Yosefu ne muka Potifaari
1Yosefu ne bamuserengesa mu Misiri, Potifaari Omumisiri, omukungu wa kabaka w'e Misiri, era omukulu w'abaserikale abakuuma olubiri, n'amugula ku Bayisimayeli abaamuserengesaayo. 2Mukama n'aba wamu ne Yosefu, Yosefu n'aba wa mukisa mu byonna by'akola, n'abeera mu nnyumba ya mukama we Omumisiri,#Laba ne Bik 7:9 3eyalaba nga Mukama ali ne Yosefu era ng'amuwa omukisa mu buli ky'akola. 4Potifaari n'asiima Yosefu, n'amufuula omuweereza we owenjawulo, n'amuwa okulabiriranga ennyumba ye, n'okukuumanga ebibye byonna. 5Okuva olwo amaka g'Omumisiri n'ebibye byonna, bye yalina mu nnyumba ye, ne mu nnimiro ze, Mukama n'abiwa omukisa.
6Potifaari n'alekera Yosefu ebibye byonna okubirabiriranga, nga takyeraliikirira kintu kye na kimu, wabula emmere gye yalyanga. Yosefu yali mulungi mu ndabika, n'amaaso ge nga gasanyusa. 7Bwe waayitawo ekiseera, muka mukama we n'amusuuliza amaaso, n'agamba nti: “Weebake nange.” 8Naye Yosefu n'agaana, n'agamba muka mukama we nti: “Laba, mukama wange takyeraliikirira kintu kye na kimu mu nnyumba, kubanga nze wendi, era yandekera ebibye byonna okubirabirira. 9Nnina obuyinza mu maka gano obwenkanankana n'obubwe, era talina ky'atankwasa okuggyako ggwe, kubanga oli mukazi we. Kale nnyinza ntya okukola ekibi ekyenkanidde awo, ne nsobya eri Katonda?” 10Newaakubadde ng'omukazi oyo yagambanga Yosefu buli lunaku, naye Yosefu yagaana okwebaka naye wadde okubeera naye.
11Naye lwali lumu, Yosefu n'ayingira mu nnyumba okukola emirimu gye, era nga tewali baweereza ba mu nnyumba balala. 12Omukazi n'akwata Yosefu ekyambalo, ng'amugamba nti: “Weebake nange.” Naye Yosefu n'aleka ekyambalo kye mu ngalo z'omukazi, n'adduka n'afuluma ebweru. 13Omukazi bwe yalaba nga Yosefu alese ekyambalo kye mu ngalo ze, n'adduka n'afuluma ebweru, 14n'ayita abaweereza ab'omu nnyumba ye, n'abagamba nti: “Mulabe, baze yaleeta muno Omwebureeyi okutujooga. Ayingidde gye ndi okwebaka nange, ne ndeekaana nnyo. 15Bw'awulidde nga nkubye enduulu n'andekera ekyambalo kye, n'adduka n'afuluma ebweru.”
16Omukazi n'atereka ekyambalo kya Yosefu okutuusa mukama wa Yosefu lwe yakomawo eka. 17N'amubuulira ebigambo bye bimu nti: “Omuweereza Omwebureeyi gwe watuleetera, yayingira gye ndi okunjooga. 18Naye bwe nakuba enduulu, n'andekera ekyambalo kye n'adduka n'afuluma ebweru.”
19Awo mukama wa Yosefu bwe yawulira ebigambo bya mukazi we nti: “Bw'atyo omusajja wo bwe yampisa,” n'asunguwala, 20n'akwata Yosefu, n'amuteeka mu kkomera abasibe ba kabaka mwe bakuumirwa, Yosefu n'abeera omwo mu kkomera. 21Naye Mukama n'aba awamu ne Yosefu, n'amukwatirwa ekisa, n'amuwa okusiimibwa mu maaso g'omukuumi w'ekkomera.#Laba ne Bik 7:9 22Omukuumi w'ekkomera n'akwasa Yosefu abasibe bonna mu kkomera okubalabiriranga, era n'amuwa obuvunaanyizibwa ku buli kintu ekikolebwa mu kkomera. 23Omukuumi w'ekkomera teyeeraliikiriranga kintu na kimu ekyakwasibwa Yosefu, kubanga Mukama yali wamu ne Yosefu, n'awa omukisa buli kimu kye yakola.
Արդեն Ընտրված.
ENTANDIKWA 39: LB03
Ընդգծել
Կիսվել
Պատճենել
Ցանկանու՞մ եք պահպանել ձեր նշումները ձեր բոլոր սարքերում: Գրանցվեք կամ մուտք գործեք
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.