Amas 25

25
1 # 1 Ebyaf 1,32-33. Yiburayimu yawasaayo omukazi omulala, erinnya lye Ketura; 2yamuzaalira Zimurani, Yokutani, Medani, Midiyaani, Yisubaki ne Suwa. 3Yokutani yazaala Saba ne Dedani. Batabani ba Dedani be Bassuri, Abaletusi, n'Abalewummi. 4Batabani ba Midiyaani: Efa, Eferi, Kanoki, Abida ne Eludawa. Bonna abo bazzukulu ba Ketura.
5Yiburayimu byonna bye yalina yabiwa Yizaake. 6Bwe yali akyali mulamu, batabani ba basebeyi be abalala yabawa ebirabo n'abaawula ku Yizaake mutabani we, n'abasindika ku ludda olw'ebuvanjuba.
Okufa kwa Yiburayimu
7Awamu Yiburayimu yawangaala emyaka kikumi mu nsanvu mu etaano. 8Awo Yiburayimu n'assa omukka gwe omuvannyuma, n'afiira ku bukadde obulungi, omuntu omukadde, agundidde mu myaka, n'agattibwa ku bantu be. 9Yizaake ne Yisimayeli batabani be ne bamuziika mu mpuku y'e Makupela, eyali mu nnimiro ya Efuroni mutabani wa Zokari Omukitti, e Mamure, 10gye yagula ku Bakitti. Eyo gye yaziikibwa ne mukazi we Saara. 11#24,62.Yiburayimu bwe yamala okufa Katonda n'awa omukisa mutabani we Yizaake, eyabeeranga okumpi ne Beeri-Lakayiroyi.
Bazzukulu ba Yisimayeli
12Gano ge mazadde ga Yisimayeli mutabani wa Yiburayimu eyamuzaalirwa Agari Omumisiri omuzaana wa Saara. 13#16,12; 1 Ebyaf 1,29-31.Era gano ge mannya ga batabani ba Yisimayeli bwe baddiriŋŋana mu buzaale: Nebayoti omuggulanda wa Yisimayeli, Edari, Adubeeli, Mibusamu, 14Misuma, Duma ne Massa, 15Kadadi, Tema, Yeturi, Nafisi ne Kedema. 16Abo be batabani ba Yisimayeli; ate gano ge mannya g'abakulu b'ebika byabwe okusinziira ku byalo byabwe n'ensiisira zaabwe: abalangira ekkumi n'ababiri ng'amawanga gaabwe bwe gaali. 17Awamu Yisimayeli yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu; n'assa omukka omuvannyuma, n'agattibwa ku bantu be. 18#16,12.Yabeeranga mu nsi eyeerambise okuva e Kavila okutuuka e Suru, ku nsalo ya Misiri, ng'ogenda mu Assuri. Yali mulumbaganyi eri baganda be bonna.
III. EBIFAAYO BYA YIZAAKE NE YAKOBO
Okuzaalibwa kwa Ezawu ne Yakobo
19Kino kye kifaayo kya Yizaake mutabani wa Yiburayimu: Yiburayimu yazaala Yizaake. 20Yizaake yali aweza emyaka amakumi ana n'awasa Rebekka muwala wa Betweli Omwaramu ow'omu Paddani-Aramu mwannyina Labani Omwaramu. 21Yizaake yawanjagira Omukama olwa mukazi we kubanga yali mugumba. Katonda n'awulira okuwanjaga kwe, mukazi we Rebekka n'aba olubuto. 22Naye abaana mu lubuto baali bakoonagana. Rebekka n'agamba nti: “Lwaki kino kintuuseeko?” N'agenda okwebuuza ku Mukama. 23Omukama n'amwanukula nti:
“Amawanga abiri gali mu lubuto lwo;
amawanga abiri agava mu ggwe galyawukana,
eggwanga erimu lirisukkuluma ku ddala,
omukulu aliweereza omuto.”
24Obudde bwe obw'okuzaala bwe bwatuuka, mu lubuto lwe mwalimu balongo ab'obulenzi. 25Eyasooka okufuluma yali wa kawemba, yenna ng'ali ng'eddiba ery'obwoya; kwe kuyitibwa Ezawu.#25,25 Ezawu kitegeeza ekibikkiddwa obwoya. 26Oluvannyuma muganda we n'afuluma omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Ezawu; kwe kuyitibwa Yakobo.#25,26 Yakobo kitegeeza akutte ekisinziiro oba omulimbalimba. Abaana we baazaalirwa nga Yizaake wa myaka nkaaga.
27Bwe baavubuka, Ezawu n'afuuka omuyizzi omukugu, omusajja ayagala ettale; Yakobo ye nga musajja mukkakkamu abeera mu weema. 28#27,3-4.Yizaake yasinga kwagala Ezawu, kubanga yawoomerwanga ennyama enjigge; ye Rebekka yayagalanga Yakobo.
Ezawu atunza Yakobo obukulu
29Olumu Yakobo yali afumba enva, Ezawu n'ava ku ttale ng'enjala emuluma, 30n'agamba Yakobo nti: “Mpa ku nva emmyufu, enva emmyufu, kubanga enjala ennuma.” Kyeyava ayitibwa erinnya lye Edomu.#25,30 Edomu kitegeeza ekimyufu. 31Yakobo n'amugamba nti: “Sooka onguze obukulu bwo obw'obuggulanda.” 32Ezawu n'ayanukula nti: “Wuuno nfa; obukulu obw'obuggulanda bunangasa ki?” 33Yakobo n'agamba nti: “Sooka ondayirire.” Ezawu n'alayira; n'aguza Yakobo bw'atyo obukulu bwe obw'obuggulanda. 34Yakobo n'amuwa omugaati n'enva ez'empokya; n'alya, n'awuuta, n'asituka ne yeetambulira gage. Bw'atyo Ezawu obukulu bwe obw'obuggulanda n'atabulabamu kantu.
Yizaake e Gerari

Tällä hetkellä valittuna:

Amas 25: BIBU1

Korostus

Jaa

Kopioi

None

Haluatko, että korostuksesi tallennetaan kaikille laitteillesi? Rekisteröidy tai kirjaudu sisään