1
Amas 25:23
BIBULIYA ENTUKUVU
Omukama n'amwanukula nti: “Amawanga abiri gali mu lubuto lwo; amawanga abiri agava mu ggwe galyawukana, eggwanga erimu lirisukkuluma ku ddala, omukulu aliweereza omuto.”
Vertaa
Tutki Amas 25:23
2
Amas 25:30
n'agamba Yakobo nti: “Mpa ku nva emmyufu, enva emmyufu, kubanga enjala ennuma.” Kyeyava ayitibwa erinnya lye Edomu.
Tutki Amas 25:30
3
Amas 25:21
Yizaake yawanjagira Omukama olwa mukazi we kubanga yali mugumba. Katonda n'awulira okuwanjaga kwe, mukazi we Rebekka n'aba olubuto.
Tutki Amas 25:21
4
Amas 25:32-33
Ezawu n'ayanukula nti: “Wuuno nfa; obukulu obw'obuggulanda bunangasa ki?” Yakobo n'agamba nti: “Sooka ondayirire.” Ezawu n'alayira; n'aguza Yakobo bw'atyo obukulu bwe obw'obuggulanda.
Tutki Amas 25:32-33
5
Amas 25:26
Oluvannyuma muganda we n'afuluma omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Ezawu; kwe kuyitibwa Yakobo. Abaana we baazaalirwa nga Yizaake wa myaka nkaaga.
Tutki Amas 25:26
6
Amas 25:28
Yizaake yasinga kwagala Ezawu, kubanga yawoomerwanga ennyama enjigge; ye Rebekka yayagalanga Yakobo.
Tutki Amas 25:28
Koti
Raamattu
Suunnitelmat
Videot