Amas 24

24
1Yiburayimu kati yali akaddiye, ng'ayise mu myaka, n'Omukama mu byonna ng'amuwadde omukisa. 2Yiburayimu n'agamba omuweereza asinga mu maka ge, omuwanika w'ebintu bye byonna, nti: “Teeka omukono gwo wansi w'ekisambi kyange 3nkulayize Omukama Katonda w'eggulu era Katonda w'ensi, nti toofunire mutabani wange mukazi mu bawala Abakanaani mwe ndi, 4wabula nti oligenda mu nsi yange, ne mu ŋŋanda zange, eyo gy'olifunira mutabani wange Yizaake omukazi.” 5Omuweereza n'ayanukula nti: “Omukazi bw'atalyagala kujja nange mu nsi eno, olwo mutabani wo si gwe nditeekwa okuzza mu nsi gye wava?” 6Yiburayimu n'amugamba nti: “Wekkaanye, togezanga n'ozza eyo mutabani wange. 7#12,7.Omukama Katonda w'eggulu, eyanzigya mu nnyumba ya kitange, ne mu nsi y'obuzaale bwange, eyaŋŋamba, n'alayira n'okulayira nti: ‘Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno,’ yennyini alikukulembezaamu malayika we, n'ofunira eyo mutabani wange omukazi. 8Omukazi bw'atalyagala kujja naawe, oliba tokyasibwa kirayiro kyange, naye ye mutabani wange tomuzzangayo.” 9Omuweereza n'assa omukono wansi w'ekisambi kya Yiburayimu mukama we, n'amulayirira ku kigambo ekyo.
10Omuweereza mu ŋŋamiya za mukama we n'aggyamu kkumi, ne ku bintu bye byonna n'atoolako ebisinga obulungi, n'asitula n'alaga mu Aramu Nakarayimu,#24,10 Mu y'Oluger. Mezopotamiya. n'agenda ku kibuga Nakori. 11N'awummuza eŋŋamiya, ebweru w'ekibuga okumpi n'oluzzi, obudde bwali buwungeera, awo abakazi abakima amazzi we bafulumira. 12Ne yeegayirira nti: “Ayi Mukama Katonda wa mukama wange Yiburayimu, nkwegayiridde, mpa mbeere n'omukisa olwa leero, girira ekisa mukama wange Yiburayimu. 13Nzuuno nnyimiridde okumpi n'oluzzi, abawala b'abatuuze b'omu kibuga kino bagenda okufuluma okukima amazzi. 14Omuwala gwe nnaagamba nti: ‘Ssa ensuwa yo nnyweko,’ amala ayanukula nti: ‘Nywa, n'eŋŋamiya zo nzija kuzisenera zinywe,’ abeere oyo gwe wategekera omuweereza wo Yizaake. Ku ekyo kwe nnaategeerera nti mukama wange omugiridde ekisa.”
15Yali tannamalayo bigambo ebyo nga ku Rebekka ono, muwala wa Betweli, mutabani wa Miluka muka Nakori muganda wa Yiburayimu. Yali afuluma; yali yeetisse ensuwa ku kibegabega. 16Yali muwala mulungi mu ndabika, mbeerera, nga mpaawo musajja yali amumanye. N'aserengeta ku luzzi, n'ajjuza ensuwa, n'ayambuka. 17Awo omuweereza n'ayanguwa mangu okumusisinkana, n'amwegayirira nti: “Mpa nnyweko katono ku tuzzi tw'omu nsuwa yo.” 18Ye n'ayanukula nti: “Nywa, ssebo.” Amangu ago n'assaako wansi ensuwa mu mikono gye, n'amuwa anywe. 19Bwe yamala okunywa, Rebekka n'amugamba nti: “N'eŋŋamiya zo nzija kuzisenera zinywe, okutuusa nga zonna zinywedde.” 20N'ayiwa amazzi mu byesero, n'addayo mangu ku luzzi asene amazzi; eŋŋamiya zonna n'azisenera. 21Ye omuweereza yalinga amutunuulidde ng'asirise, ng'ayagala okumanya oba Omukama olugendo aluwadde okulama, oba nedda.
22Eŋŋamiya bwe zaamala okunywa, omusajja n'aggyayo empeta ey'omu nnyindo eya zaabu ezitowa beka emu,#24,22 Nga guraamu 5.5. n'obukomo bubiri nga buzitowa sekeri za zaabu kkumi.#24,22 Nga guraamu 110. 23n'amubuuza nti: “Oli muwala wa ani? Mbuulira, mu nnyumba ya kitaawo waliwo ekifo we tuyinza okusula?” 24Ye n'ayanukula nti: “Ndi muwala wa Betweli mutabani wa Miluka gwe yazaalira Nakori.” 25Era n'amugamba nti: “Omuddo n'essubi tulina nkumu, era n'ekifo ky'okusulamu gye kiri.” 26Omusajja n'avunnama n'asinza Omukama 27nga bw'agamba nti: “Omukama Katonda wa mukama wange Yiburayimu atenderezebwe, oyo ataggya kisa kye na bwesige bwe ku mukama wange, antereerezza olugendo n'antuusa mu nnyumba y'eŋŋanda za mukama wange.”
28Omuwala n'ayanguwa n'agenda ewa nnyina, n'anyumya byonna ebibaddewo. 29Kati nno Rebekka yalina mwannyina erinnya lye Labani; ono n'afuluma mbiro n'alaga eri omusajja ku luzzi. 30Bwe yalaba empeta mu nnyindo n'obukomo ku mikono gya mwannyina, ng'amaze n'okuwulira byonna Rebekka by'anyumya nti: “Bino omusajja by'aŋŋambye,” n'agenda eri omusajja. Yali ayimiridde kumpi n'eŋŋamiya okumpi n'oluzzi. 31N'amugamba nti: “Jjangu, ggwe Omukama gw'awadde omukisa; lwaki osigala ebweru? Ntegese ennyumba n'ekifo ky'eŋŋamiya.” 32Awo omusajja n'ayingira mu nnyumba, n'atikkula eŋŋamiya n'aziwa omuddo n'essubi, ate naye ne bamuwa amazzi anaabe ebigere, ye n'abasajja abaali bazze naye.
33Awo ne bamusoosootolera emmere, naye ye n'agamba nti: “Sijja kulya, okutuusa nga mmaze okwogera ebigambo byange.” N'ayanukula nti: “Yogera.” 34Ko ye nti: “Ndi muweereza wa Yiburayimu; 35Omukama yawa nnyo mukama wange omukisa, yafuuka mugagga; yamuwa endiga n'ente, ffeeza ne zaabu, abaddu n'abazaana, eŋŋamiya n'endogoyi. 36Ne Saara, muka mukama wange, mu bukadde bwe yamuzaalira omwana ow'obulenzi; yamuwa byonna by'alina. 37Mukama wange yandayiza ng'agamba nti: ‘Tofuniranga mutabani wange mukazi ng'omuggya mu bawala Abakanaani, bannyini nsi mwe ndi; 38wabula ogendanga ewa kitange, mu ŋŋanda zange, eyo gy'oliggyira mutabani wange omukazi.’ 39Nabuuza mukama wange nti: ‘Omukazi bw'aligaana okujja nange biriba bitya?’ 40N'agamba nti: ‘Omukama gwe ndi naye bulijjo, alituma malayika we ogende naye, y'aliwa olugendo lwo okulama, ofunire mutabani wange omukazi ng'omuggya mu ŋŋanda zange, mu nnyumba ya kitange. 41Bw'oliba otuuse mu baganda bange, olwo oliba tokyasibwa kirayiro kyange, ne bwe batalimukuwa, oliba tokyasibwa kirayiro kyange.’ 42Olwa leero bwe ntuuse ku luzzi, ne nsaba nti: ‘Ayi Mukama Katonda wa mukama wange Yiburayimu, singa nno olugendo lwange lwe ntambudde oluwadde okulama. 43Wuuno nyimiridde ku luzzi, omuwala embeerera anaafuluma okukima amazzi bwe nnaamusaba nti: “Mpa ku tuzzi nnyweko mu nsuwa yo,” 44amala agamba nti: “Nywa, n'eŋŋamiya zo nzija kuzisenera,” nga ye oyo omukazi Omukama gwe yategekera mutabani wa mukama wange.’ 45Nabadde nkyalowooza ebyo mu mutima gwange, Rebekka n'avaayo nga yeetisse ensuwa ku kibegabega, n'aserengeta ku luzzi n'asena amazzi ne mmugamba nti: ‘Mpa nnyweko katono.’ 46Amangu ago n'assa ensuwa okuva ku kibegabega n'aŋŋamba nti: ‘Nywa, n'eŋŋamiya zo nzija kuzinywesa.’ Ne nnywa n'eŋŋamiya n'azinywesa. 47Namubuuzizza nti: ‘Oli muwala w'ani?’ N'annyanukula nti: ‘Ndi muwala wa Betweli mutabani wa Nakori, Miluka gwe yamuzaalira.’ Namussizza empeta mu nnyindo, n'emikono ne ngissaako obukomo. 48Ne nvunnama ne nsinza Omukama nga ngulumiza Omukama Katonda wa mukama wange Yiburayimu, eyannambise mu lugendo okufuna muwala wa muganda wa mukama wange gwe mba ntwala abeere mukazi wa mutabani we. 49Kale nno kati, oba mukama wange mumugiridde ekisa n'okumulaga obwesigwa, muntegeeze; oba si bwe kiri, nakyo mukiŋŋambe ntere nsale amagezi amalala.”
50Labani ne Betweli ne baanukula nti: “Ekigambo kivudde wa Mukama, tetusobola kubaako kye tukigambako. 51Rebekka wuuyo awo mu maaso go; mutwale abeere mukazi wa mutabani wa mukama wo, ng'Omukama bwe yagambye.” 52Omuweereza wa Yiburayimu bwe yawulira by'agambye, n'avunnamira Omukama ku ttaka, 53n'aggyayo amayinja ag'omuwendo, aga ffeeza n'aga zaabu, n'ebyambalo, n'abiwa Rebekka; era ne mwannyina Rebekka ne nnyina nabo n'abawa ebirabo.
54Awo ne balya ne banywa, ye n'abantu be abaali naye, ne basula awo. Bwe baazuukuka ku makya omuweereza n'agamba nti: “Mundeke nzire eri mukama wange.” 55Mwannyina w'omuwala ne nnyina ne bamwanukula nti: “Omuwala asigaleko naffe ennaku nga kkumi, oluvannyuma ogende.” 56Ye n'agamba nti: “Temunsibaasiba; kati ng'Omukama amaze n'awa olugendo lwange okulama; mundeke ŋŋende nzire eri mukama wange.” 57Ne bagamba nti: “Ka tuyite omuwala, tumubuuze ky'agamba.”
58Ne bayita Rebekka ne bamubuuza nti: “Oyagala okugenda n'omusajja ono?” Ye n'agamba nti: “Nzija kugenda.” 59Ne basiibula Rebekka mwannyinaabwe n'omujjanjabi we n'omuweereza wa Yiburayimu ne basajja be, 60#22,17.ne baagaliza Rebekka omukisa nga bagamba nti:
“Mwannyinaffe, weeyongere
n'okutuuka ku nkumi n'amakumi g'enkumi.
Ezzadde lyo lyezze
ebibuga by'abalabe baalyo.”
61Bw'atyo Rebekka n'abazaana be ne basituka ne beebagala eŋŋamiya, ne bagoberera omusajja; omuweereza bw'atyo n'atwala Rebekka, n'agenda.
Yizaake awasa Rebekka
62 # 16,13-14. Yizaake yali ava e Beeri-Lakayiroyi, kubanga yali abeera mu nsi y'e Negevu. 63Yali agenzeeko mu nnimiro okutambulatambulako, olunaku lwali lweyerawo, bwe yayimusa amaaso n'alaba eŋŋamiya nga zijja. 64Ne Rebekka n'alaba Yizaake, n'ava ku ŋŋamiya n'akka, 65n'agamba omuweereza nti: “Oyo ayita mu nnimiro ng'ajja okutusisinkana ye ani?” N'amuddamu nti: “Ye mukama wange.” Mangu Rebekka n'addira ekiremba kye ne yeebikkako.
66Omuweereza n'anyumiza Yizaake byonna bye yali akoze. 67Yizaake n'ayingiza Rebekka mu weema ya Saara nnyina, n'amuwasa, n'afuuka mukazi we; n'amwagala; bw'atyo Yizaake n'akubagizibwa olw'okufiirwa nnyina.
Ezzadde lya Ketura

Tällä hetkellä valittuna:

Amas 24: BIBU1

Korostus

Jaa

Kopioi

None

Haluatko, että korostuksesi tallennetaan kaikille laitteillesi? Rekisteröidy tai kirjaudu sisään