Amas 21
21
1Omukama n'agirira Saara ekisa, nga bwe yali agambye, n'akolera Saara kye yali amusuubizza; 2n'afuna olubuto n'azaalira Yiburayimu omwana ow'obulenzi mu bukadde bwe, mu budde bwennyini Katonda bwe yali amulagaanyizza. 3#17,12.Yiburayimu omwana ow'obulenzi Saara gwe yamuzaalira n'amutuuma Yizaake,#21,3 Yizaake: kwe kugamba aliseka. 4n'amutayirira nga wa nnaku munaana nga Katonda bwe yali amulagidde. 5Yiburayimu yali aweza emyaka kikumi mutabani we Yizaake we yamuzaalirwa. 6Saara n'agamba nti:
“Katonda ampadde ensonga ey'okuseka;
buli yenna anaaba awulidde, anansekerako.”
7Ate n'agamba nti:
“Ani yandigambye Yiburayimu
nti Saara alirera ku baana?
Kyokka mmuzaalidde omutabani
mu bukadde bwe.”
Agari ne Yisimayeli bagobebwa
8 #
16,1-16. Omwana n'akula n'ava ku mabeere. Ku lunaku lwe yaggyibwa ku mabeere, Yiburayimu yakola embaga makeke. 9Saara bwe yalaba mutabani wa Agari Omumisiri gwe yali azaalidde Yiburayimu ng'azannya ne Yizaake mutabani we, n'agamba Yiburayimu nti: 10“Goba omuzaana ono ne mutabani we; kubanga omwana w'omuzaana taliba musika wamu na mutabani wange Yizaake.” 11Kino ne kinakuwaza nnyo Yiburayimu olw'okubeera mutabani we. 12Katonda n'agamba nti: “Tonakuwala olw'okubeera omwana n'omuzaana wo. Kyonna Saara ky'anaakugamba kiwulirize, kubanga mu Yizaake ezzadde lyo mwe linaafuniranga erinnya. 13Naye ne mutabani w'omuzaana wo ndimufuulamu eggwanga eddene, kubanga naye zzadde lyo.” 14Yiburayimu bwe yazuukuka ku makya, n'akwata omugaati n'endyanga ejjudde amazzi n'abissa ku kibegabega kya Agari, n'amuwa omwana, n'amusiibula. Agari n'agenda ng'atangatanga mu ddungu ly'e Beeriseba.
15Amazzi bwe gaggwamu mu ndyanga, n'assa omwana mu kasaka, 16ne yeeyongerayo akabanga, ng'akasaale akalasiddwa we kakoma, n'atuula awo yekka ng'agamba nti: “Sirina galaba mwana ng'afa.” Omwana n'asitula eddoboozi n'akaaba.#21,16 Oba ng'ey'Olweb: Agari n'asitula eddoboozi n'akaaba.
17Katonda yawulira omwana ng'akaaba, malayika w'Omukama n'ayita Agari ng'ayima mu ggulu nti: “Agari obadde ki? Leka kutya, kubanga Katonda awulidde omwana ng'akaaba awo w'ali. 18Situka, situla omwana, mukwate ku mukono, kubanga nzija kumufuulamu eggwanga eddene.” 19Katonda n'amuzibula amaaso, n'alaba oluzzi, n'ajjuza endyanga n'omulenzi n'amuwa n'anywa.
20Omukama yaba naye. N'akula, n'abeeranga mu ddungu, n'afuuka mulasi wa busaale. 21Bwe yali ng'ali mu ddungu lye Parani, nnyina n'amufunira omukazi okuva mu nsi y'e Misiri.
Yiburayimu ne Abimeleki e Beeriseba
22 #
26,15-33. Mu budde obwo Abimeleki ne Fikoli omuduumizi w'eggye lye ne bagamba Yiburayimu nti: “Mu byonna by'okola Katonda ali naawe. 23Layira mu maaso ga Katonda nti tolinsalira nkwe nze n'ezzadde lyange, na yenna owange, era nti oligirira ekisa nze n'ensi gy'olimu ng'omugenyi, ekifaanana n'ekyo nze kye nkugiridde.” 24Yiburayimu n'addamu nti: “Yee, ndayidde.”
25Yiburayimu ne yeemulugunyiza Abimeleki olw'oluzzi abaweereza ba Abimeleki lwe baanyaga. 26Abimeleki n'addamu nti: “Simanyi yakola kino; Ggwe wennyini tokimbuulirangako, ate nze mbadde sikiwulirangako okutuusa ku lwa leero.” 27Awo Yiburayimu n'addira endiga n'ente n'abiwa Abimeleki; bombi ne bakola endagaano. 28Yiburayimu n'assa obuliga musanvu wabbali okuva mu ggana. 29Abimeleki n'amubuuza nti: “Ate buli obuliga omusanvu bw'oyawuddeko ebbali bwaki?” 30Ko ye nti: “Kkiriza obuliga omusanvu bwe nkuwa, bwe bujulizi obukakasa nti nze nasima oluzzi luno.” 31Ekifo ekyo kwe kuyitibwa Beeriseba, kubanga awo bombi we baakolera ekirayiro.#21,31 Beeriseba kitegeeza Enzizi Omusanvu oba Oluzzi lw'Ekirayiro.
32Bwe baamala okukola endagaano e Beeriseba, Abimeleki ne Fikoli, omuduumizi w'eggye lye, ne basitula ne baddayo mu nsi y'Abafilisitiini. 33Yiburayimu n'asimba omumyulira e Beeriseba, n'akoowoolerayo erinnya ly'Omukama Katonda Ssewannaku. 34N'amala ennaku nnyingi mu nsi y'Abafilisitiini.
Yiburayimu asabibwa okutambira Yizaake
Tällä hetkellä valittuna:
Amas 21: BIBU1
Korostus
Jaa
Kopioi
Haluatko, että korostuksesi tallennetaan kaikille laitteillesi? Rekisteröidy tai kirjaudu sisään
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.