Amas 20
20
1 #
2,10-20; 26,7-11. Yiburayimu n'ava eyo n'alaga mu nsi Negevu n'asenga wakati wa Kadesi ne Suru; n'abeerako ekiseera e Gerari.
2N'alimba ku mukazi we Saara nti: “Mwannyinaze.” Abimeleki kabaka w'e Gerari n'atumya Saara, n'amutwala. 3Kyokka Katonda n'alabula Abimeleki ekiro mu kirooto nti: “Ojja kufa olw'omukazi gwe waleese; kubanga muka musajja.” 4Abimeleki yali tannamusemberera. N'agamba nti: “Ayi Mukama, n'eggwanga ettuufu onoolitta? 5Si ye yagambye nti: ‘Mwannyinaze’? Ne Saara yennyini si ye yaŋŋambye nti: ‘Mwannyinaze’? Kino nakikoze mu mutima mulungi n'emikono egitaliiko musango.” 6Omukama n'amuddamu mu kirooto nti: “Nange mmanyi nga wakikoze mu mutima mulungi, kyenvudde nkutaliza, oleme kwonoona gye ndi, kyenvudde sikuleka kumukwatako. 7Kale nno kati muddize bba, kubanga mulanzi. Ajja kukusabira, ojja kubeera mulamu. Bw'onoogaana okumumuddiza, awo oli wa kufa, ggwe n'ebibyo byonna.”
8Ku makya bwe yagolokoka, Abimeleki n'ayita basajja be bonna n'ababuulira ebigambo ebyo byonna; ne batya nnyo. 9Abimeleki n'ayita Yiburayimu n'amugamba nti: “Kiki kye watukoze? Kibi ki kye nakukola kw'osinzidde okundeetera, nze n'obwakabaka bwange bwonna, ekibi ekyenkana wano? Ky'onkoze si kye wandisaanye okunkola.” 10N'agamba Yiburayimu era nti: “Wagenderera ki okunkola kino?” 11Yiburayimu n'ayanukula nti: “Nalowooza nti: ‘Kya mazima mu kifo kino temuli kutya Katonda, bajja kunzita olw'okubeera mukazi wange.’ 12Sso era ku ludda olulala kituufu mwannyinaze, mwana wa kitange naye nga si wa nnyabo; namuwasa n'afuuka mukazi wange. 13Katonda bwe yanzigya mu nnyumba ya kitange n'ammunzabunza, ne ŋŋamba Saara nti: ‘Eky'ekisa ky'oyinza okunkolera kwe kunjogerako yonna gye tunaagendanga nti: Ono mwannyinaze.’ ”
14Abimeleki n'addira endiga n'ente n'abiwa Yiburayimu, ko n'abaddu n'abazaana, ate n'amuddiza ne Saara mukazi we. 15N'agamba nti: “Ensi yange ekuli awo mu maaso, senga wonna w'osiima.” 16Ate n'agamba Saara nti: “Mwannyoko mmuwadde ebitundu bya ffeeza lukumi; eno ye ngassi mu maaso g'abo bonna b'oli nabo ey'ensobi yange ku ggwe. Ggwe wejjeeredde.” 17Yiburayimu ne yeegayirira, Katonda n'awonya Abimeleki ne mukazi we n'abazaana be ne basobola okuddamu okuzaala, 18anti Omukama yali asibaze buli nda mu nnyumba ya Abimeleki olw'okubeera Saara muka Yiburayimu.
Okuzaalibwa kwa Yizaake
Tällä hetkellä valittuna:
Amas 20: BIBU1
Korostus
Jaa
Kopioi
Haluatko, että korostuksesi tallennetaan kaikille laitteillesi? Rekisteröidy tai kirjaudu sisään
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.