Omukama n'amuddamu mu kirooto nti: “Nange mmanyi nga wakikoze mu mutima mulungi, kyenvudde nkutaliza, oleme kwonoona gye ndi, kyenvudde sikuleka kumukwatako. Kale nno kati muddize bba, kubanga mulanzi. Ajja kukusabira, ojja kubeera mulamu. Bw'onoogaana okumumuddiza, awo oli wa kufa, ggwe n'ebibyo byonna.”