Amas 22

22
1Awo#Okuv 13,11. oluvannyuma, Katonda n'ageza Yiburayimu, n'amuyita nti: “Yiburayimu.” Ye n'ayanukula nti: “Nzuuno.” 2N'amugamba nti: “Ddira mutabani wo omu yekka gw'oyagala Yizaake, ogende mu nsi Moriya omuntambirire eyo ng'ekitambiro ekyokye, ku lumu mu nsozi lwe ndikulaga.”#22,2 Olusozi luno lwandiba nga Solomoni kwe yazimba Ekiggwa ky'e Yeruzaalemu; laba 1 Ebyaf 3,1.
3Yiburayimu bwe yazuukuka ku makya, n'ategeka endogoyi ye; yatwala abalenzi be babiri ne Yizaake mutabani we, n'atema enku ez'ekitambiro ekyokye, n'asitula n'alaga Katonda gye yali amulagidde. 4Ku lunaku olwokusatu, bwe yasitula amaaso, n'alengera ekifo naye nga kikyesuddeko akabanga, 5n'agamba abalenzi be nti: “Musigale wano n'endogoyi, nze n'omwana ka tugendeko emitala eri; tujja kusinza ate oluvannyuma tudde gye muli.”
6N'addira enku ez'ekitambiro ekyokye, n'azitikka Yizaake mutabani we; ye n'akwata mu ngalo omuliro n'ekiso. Ne bagenda bombi wamu. 7Yizaake n'ayita kitaawe Yiburayimu nti: “Taata.” Ye n'ayanukula nti “Wangi, mwana wange.” Ko ye nti: “Omuliro n'enku biibino, naye akaliga ak'ekitambiro ekyokye kaliwa?” 8Yiburayimu n'agamba nti: “Mwana wange, Katonda y'anaalaba ekitambiro ekyokye.” Ne bagenda bombi wamu.
9Bwe baatuuka ku kifo Katonda kye yali amulaze, Yiburayimu n'azimba omwaliiro, n'aguteekako enku, n'asiba omwana we Yizaake, n'amuteeka ku mwaliiro ku nku waggulu, 10n'akununkiriza ekiso atte omwana we.
11Awo malayika w'Omukama n'amuyita ng'ayima mu ggulu nti: “Yiburayimu, Yiburayimu.” N'ayanukula nti: “Nzuuno.” 12N'agamba nti: “Tokwata ku mwana. Tomukola kantu. Kati ntegedde ng'otya Katonda, tonnyimye mutabani wo, omwana wo omu yekka.” 13Yiburayimu bwe yasitula amaaso ng'awo alabawo seddume w'endiga ng'amayembe gaayo gawambidde mu kasaka; n'agiddira n'agitambira ng'ekitambiro ekyokye mu kifo kya mutabani we. 14Ekifo ekyo n'akituuma 'Omukama y'Anaalaba'. N'okutuusa ku lunaku lwa leero ye njogera nti: “Ku lusozi Omukama y'Anaalaba.”
15Malayika w'Omukama n'ayita Yiburayimu omulundi ogwokubiri ng'ayima mu ggulu n'amugamba nti: 16“Neerayidde nzennyini, Omukama y'agamba, kubanga okoze ekintu kino, n'otonnyima mutabani wo, omwana wo omu yekka, 17#12,2; 15,5; 16,10zid; 26,4.ddala nzija kukuwa omukisa, n'ezzadde lyo ndiriwa okwala okwenkana emmunyeenye z'eggulu, oba omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja. Ezzadde lyo liryekomya ebibuga by'abalabe baalyo. 18Amawanga gonna ag'ensi mu zzadde lyo galiweebwa omukisa, kubanga ogondedde eddoboozi lyange.”
19Yiburayimu n'addayo eri abalenzi be, ne basitula ne bagenda bonna wamu e Beeriseba; Yiburayimu n'abeera e Beeriseba.
20Oluvannyuma, Yiburayimu ne bamubuulira nti: “Ne Miluka azaalidde Nakori muganda wo abaana ab'obulenzi: 21Wuzi, omuggulanda, ne Buuzi muganda we, ne Kemweli kitaawe wa Aramu, 22ne Kasedi, Kazo, Piludasi, Yidulafu, ne Betweli.” 23Betweli yazaala Rebekka. Abo omunaana Miluka yabazaalira Nakori muganda wa Yiburayimu. 24Ate omukazi omusebeyi ayitibwa Rewuma, yazaala Teba, Gakamu, Takasi ne Maaka.
Ebiggya bya Bajjajja

Tällä hetkellä valittuna:

Amas 22: BIBU1

Korostus

Jaa

Kopioi

None

Haluatko, että korostuksesi tallennetaan kaikille laitteillesi? Rekisteröidy tai kirjaudu sisään