Amas 26
26
1Enjala yagwa mu nsi, eyookubiri okuva ku eyo eyagwa mu biseera bya Yiburayimu. Yizaake n'agenda ewa Abimeleki kabaka w'Abafilisitiini e Gerari. 2Omukama n'amulabikira n'agamba nti: “Toserengeta Misiri, sigala mu nsi gye nnaakugamba. 3#22,17-18.Beerayo akabanga; nzija kubeera naawe, nzija kukuwa n'omukisa, kubanga ggwe n'ezzadde lyo ndibawa ebitundu by'ensi bino byonna, ntuukirize ekirayiro kye nalayirira Yiburayimu kitaawo. 4Ezzadde lyo nzija kuliwa lyale okwenkana emmunyeenye z'eggulu, ne bazzukulu bo ndibawa ebitundu bino byonna, n'amawanga gonna ag'ensi mu zzadde lyo galiweebwa omukisa, 5kubanga Yiburayimu yagondera eddoboozi lyange n'akwata bye namukuutira, n'ebiragiro byange, empisa zange n'amateeka gange.” 6Bw'atyo Yizaake n'asigala mu Gerari.
7Abasajja b'eyo bwe baamubuuza ku mukazi we, yayanukula nti: “Mwannyinaze.” Kubanga yali atidde okwatula nti: “Mukazi wange,” ng'alowooza nti: “Bayinza okunzita olwa mukazi wange kubanga mulungi mu ndabika.” 8Ebbanga ng'amazeeyo eriwera, olumu Abimeleki kabaka w'Abafilisitiini aba atunudde ebweru wansi ng'ayima mu ddirisa, n'alaba Yizaake ng'azanyiikiriza Rebekka mukazi we. 9N'atumya Yizaake n'amugamba nti: “Ono kituufu mukazi wo. Lwaki wagamba nti: ‘Ono mwannyinaze’?” Yizaake n'amugamba nti: “Kuba nalowooza nti nnyinza okufa olw'okubeera ye.” 10Abimeleki n'amugamba nti: “Kiki kino ky'otukoze? Omu mu bantu bange yandisobodde okwebaka ne mukazi wo n'otuleetera okugwa mu nsobi.” N'alagira abantu bonna nti: 11“Oli alikola akantu ku muntu ono, oba ku mukazi we, wa kuttibwa.”
12Yizaake n'asiga mu ttaka eryo; mu mwaka ogwo n'abaza emirundi kikumi, kubanga Omukama yali amuwadde omukisa. 13N'agaggawala, n'agenda nga yeeyongera obugagga, okutuusa lwe yafuuka omugagga ennyo, 14n'afuna amagana g'endiga, n'amagana g'ente n'omwandu gw'abaweereza munene. Abafilisitiini ne bamukwatirwa obuggya.
15 #
21,25-31. Awo enzizi zonna abaweereza ba kitaawe ze baali basimye mu budde bwa Yiburayimu Abafilisitiini ne baziziba nga bajjuzaamu ettaka. 16Ne Abimeleki n'agamba Yizaake nti: “Tuviire, kubanga otusukkiridde nnyo amaanyi.” 17Ne Yizaake n'ava awo, n'asiisira mu kiwonvu ky'e Gerari, n'asenga eyo. 18Yizaake n'azibukula enzizi ezaali zisimiddwa mu budde bwa kitaawe Yiburayimu, Abafilisitiini ze baali bazibye nga kitaawe amaze okufa, n'aziyita amannya ge gamu kitaawe ge yali azituumye.
19Abaweereza ba Yizaake ne basima mu kiwonvu ne basanga oluzzi olw'ensulo. 20Naye abalunzi b'e Gerari ne bayombagana n'abalunzi ba Yizaake nga bagamba nti: “Amazzi gaffe.” Oluzzi kyeyava alutuuma Eseki,#26,20 Eseki kitegeeza luyombo. kubanga baamuyombesa. 21Ne basima n'oluzzi olulala era nalwo ne baluyomberako, n'alutuuma Situna.#26,21 Situna kitegeeza kuwakana (mpaka). 22N'ava awo, n'asima oluzzi olulala, olwo tebaaluyomberako; n'alutuuma Rekoboti, ng'agamba nti: “Kati Omukama atuwadde okwegaziya, kati tujja kweyongera mu nsi.”
23N'ava mu kifo ekyo n'ayambuka e Beeriseba. 24Eyo Omukama gye yamulabikira mu kiro ekyo kyennyini ng'agamba nti:
“Nze Katonda wa Yiburayimu kitaawo;
totya, kubanga ndi naawe.
Ndikuwa omukisa, n'ezzadde lyo ne ndyongera omuwendo
olw'okubeera omuweereza wange Yiburayimu.”
25N'azimbayo eyo omwaliiro, n'akoowoola erinnya ly'Omukama, n'asimba awo weema; abaweereza be ne basimawo oluzzi.
Endagaano ne Abimeleki
26 #
21,22-33. Abimeleki n'ava e Gerari n'ajja gy'ali ne Akuzzati omuwi we ow'amagezi, ne Fikoli omukulu w'eggye lye. 27Yizaake n'ababuuza nti: “Kiki ekibaleese gye ndi sso nga mwankyawa n'okungoba ne mungoba?” 28Ne baanukula nti: “Tulabye ng'Omukama ali naawe, kyetuvudde tugamba nti: ‘Wabeerewo ekirayiro mu ffe, wakati waffe naawe, tukole endagaano 29nti tolitukola kabi nga naffe bwe twakuyisa obulungi; twakusiibula mu ddembe, era kati Omukama akuwadde omukisa.’ ” 30N'abafumbira embaga, ne balya, ne banywa.
31Bwe baazuukuka ku makya buli omu n'alayirira munne. Awo Yizaake n'abasiibula, ne bamuvaako mirembe. 32Ku lunaku olwo lwennyini abaweereza ba Yizaake ne bajja ne bamubuulira eby'oluzzi lwe baali basimye nga bagamba nti: “Tuzudde amazzi.” 33#21,31.Oluzzi n'alutuuma Siba,#26,33 Siba kitegeeza kirayiro oba musanvu. n'ekibuga ne kiyitibwa Beeriseba n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Bakazi ba Ezawu Abakitti
34 #
36,1-5. Ezawu yali aweza emyaka amakumi ana n'awasa Yudita, muwala wa Beeri Omukitti, ne Basimati, muwala wa Eloni Omukitti. 35Bombi baaleetera Yizaake ne Rebekka ennyiike.
Yakobo akumpanya omukisa ku Yizaake
انتخاب شده:
Amas 26: BIBU1
هایلایت
به اشتراک گذاشتن
کپی
می خواهید نکات برجسته خود را در همه دستگاه های خود ذخیره کنید؟ برای ورودثبت نام کنید یا اگر ثبت نام کرده اید وارد شوید
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.