YouVersion Logo
Search Icon

Yow 6

6
1Oluvannyuma, Yezu n'agenda emitala w'Ennyanja y'e Galilaaya, ye Nnyanja ya Tiberiya; 2ekibiina ne kimugoberera, kubanga abantu baali balabye obubonero bwe yali akola ku balina obuyongobevu. 3Yezu n'alinnya ku lusozi, n'atuula eyo wamu n'abayigirizwa be. 4Pasika, embaga enkulu ey'Abayudaaya, yali kumpi. 5Yezu bwe yasitula amaaso n'alaba ng'ekibiina kijja gy'ali; n'agamba Filippo nti: “Tunaagula wa emigaati abantu bano balye?” 6Kino yakyogera kumugeza bugeza; ye yali amanyi ky'agenda okukola. 7Filippo n'amuddamu nti: “Dinaari ebikumi ebibiri nazo tezandimaze kugula migaati buli muntu kufunako katundu.” 8Omu ku bayigirizwa be, Andureya muganda wa Simoni Petero, n'amugamba nti: 9“Wano waliwo omulenzi alina emigaati etaano egya sayiri, n'ebyennyanja bibiri; naye ebyo bye biki ku bangi bati?” 10Yezu n'agamba nti: “Abantu mubatuuze.” Mu kifo ekyo mwalimu omuddo mungi, abasajja ne batuula, nga bawera ng'enkumi ttaano. 11Awo Yezu n'atoola emigaati; bwe yamala okwebaza, n'agabira abaali batudde; n'ebyennyanja nabyo, buli omu nga bwe yali ayagala. 12Bwe baamala okukkuta, n'agamba abayigirizwa be nti: “Mukuŋŋaanye obutundutundu obufisseewo, wabulewo ekyonooneka.” 13Ne bakuŋŋaanya, ne bajjuza ebisero kkumi na bibiri eby'obutundutundu obw'emigaati gya sayiri etaano obwalema abo abaalya. 14Abantu bwe baalaba akabonero Yezu k'akoze, ne bagamba nti: “Ono ye Mulanzi ddala ow'okujja mu nsi.” 15Yezu bwe yategeera nga bali kumpi okujja okumukwata n'empaka bamufuule kabaka, n'addukira nate mu nsozi yekka.
Yezu atambulira ku nnyanja
16 # Mat 14,22-33; Mar 6,45-52. Bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne baserengeta ku nnyanja. 17Ne basaabala mu lyato, ne bawunguka okugoba e Kafarunawumu; enzikiza yali yakutte dda, naye Yezu nga tannajja gye bali. 18Awo ennyanja n'esiikuuka, kubanga empewo ey'amaanyi yali ekunta. 19Bwe baali bavuzeeko sitadiyo ng'amakumi abiri mu ttaano oba asatu, ne balaba Yezu ng'ajja atambula ku nnyanja asemberera eryato, ne batya. 20Ye n'abagamba nti: “Ye nze, temutya.” 21Ne baagala okumusaabaza mu lyato; amangu ago eryato nga lyatuuse dda ku ttale gye baali bagenda.
Enjigiriza mu sinaagooga e Kafarunawumu ku mugaati gw'obulamu
22Ku lunaku olwaddako, abantu abaali basigadde emitala w'ennyanja baalaba nga tewaali lyato ddala, wabula limu, era nga Yezu teyasaabadde wamu na bayigirizwa be, abayigirizwa nga baagenze bokka. 23Kyokka waaliwo amaato amalala agaava e Tiberiya ne gagoba kumpi n'ekifo mwe baaliira omugaati Omukama ng'amaze okwebaza. 24Bwe baalaba nga Yezu taliimu, newandibadde abayigirizwa be, ne basaabala bennyini mu maato, ne bagguka e Kafarunawumu nga banoonya Yezu.
25Bwe baamusanga emitala w'ennyanja, ne bamugamba nti: “Rabbi, wazze ddi eno?” 26Yezu n'abaanukula nti: “Mbagambira ddala mazima nti temunnoonya kubanga mwalaba obubonero, wabula kubanga mwalya emigaati ne mukkuta. 27Muleme kukolerera mmere eyonooneka, wabula eyo ebeerera n'etuusa mu bulamu obutaggwaawo Omwana w'Omuntu gy'alibawa; kubanga Katonda Taata ono yamussaako akabonero ke.” 28Ne bamugamba nti: “Tukole ki okukola ebikolwa bya Katonda?” 29Yezu n'abaanukula nti: “Guno gwe mulimu gwa Katonda: nti mukkirize oyo ye gwe yatuma.” 30Bo kwe kumugamba nti: “Kabonero kaluwa ggwe k'okola tukalabe tulyoke tukkirize? Okola kaluwa? 31#Okuv 16,4.15; Zab 78,24.Bajjajja baalya manu mu ddungu, nga bwe baawandiika nti: ‘Yabawa omugaati oguva mu ggulu balye.’ ” 32Yezu n'abagamba nti: “Mbagambira ddala mazima nti Musa si ye yabawa omugaati ogwava mu ggulu; wabula Kitange y'abawa omugaati ddala ogw'omu ggulu. 33Omugaati gwa Katonda gwe gwo ogukka nga guva mu ggulu ne guwa ensi obulamu.” 34Bo kwe kumugamba nti: “Ssebo, tuwenga omugaati ogwo bulijjo.”
35Yezu n'abagamba nti: “Nze mugaati gw'obulamu; ajja gye ndi enjala terimuluma, n'anzikiriza taliddayo kulumwa nnyonta. 36Naye nabagambye nti mwandaba naye ne mutanzikiriza. 37Buli kyonna Taata ky'ampa kirijja gye ndi; era oyo ajja gye ndi sigenda kumugobera bweru. 38Kubanga nakka nga nva mu ggulu si lwa kukola kye njagala nze, wabula oli eyantuma ky'ayagala. 39Oli eyantuma kino ky'ayagala, nti buli kyonna kye yampa wabulewo ekinfa; wabula nkizuukize ku lunaku olw'oluvannyuma. 40Kitange kino ky'ayagala, nti buli yenna alaba Mwana n'amukkiriza, aweebwe obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiza ku lunaku olw'oluvannyuma.”
41Abayudaaya ne bamwemulugunyiza kubanga yali agambye nti: “Nze mugaati ogwakka nga guva mu ggulu.” 42Ne bagamba nti: “Ono si Yezu omwana wa Yozefu, gwe tumanyiiko kitaawe ne nnyina? Kale ayinza atya okugamba nti: ‘Nakka nga nva mu ggulu?’ ” 43Yezu kwe kwanukula n'abagamba nti: “Muleke kwemulugunyiza eyo mwekka na mwekka; 44tewali ayinza kujja gye ndi wabula Taata eyantuma ng'amuleese; nange ndimuzuukiza ku lunaku olw'oluvannyuma. 45#Yis 54,13.Mu balanzi baawandiika nti: ‘Bonna baliyigirizibwa Katonda.’ Buli eyawulira Taata n'ayiga, ajja gye ndi. 46Si kwe kugamba nti waliwo n'omu eyali alabye ku Taata, okuggyako oyo yekka eyava ewa Katonda; ye yalaba Taata. 47Mbagambira ddala mazima nti akkiriza abeera n'obulamu obutaggwaawo. 48Nze mugaati ogw'obulamu. 49Mu ddungu, bajjajjammwe baalya manu, ne bafa. 50Guno gwe mugaati oguva mu ggulu, oli aliba aguliddeko aleme kufa. 51Nze mugati omulamu, ogwakka nga guva mu ggulu; buli aliba alidde ku mugaati guno, aliba mulamu emirembe gyonna; ate omugaati gwe ndibawa ye nnyama yange olw'obulamu bw'ensi.”
52Abayudaaya ne bawakana bokka na bokka nga bagamba nti: “Ono ayinza atya okutuwa ennyama ye okugirya?” 53Yezu n'abagamba nti: “Mbagambira ddala mazima nti bwe mutaalyenga nnyama ya Mwana wa muntu, bwe mutanywenga musaayi gwe, temuubeerenga na bulamu mu mmwe. 54Alya ennyama yange n'anywa omusaayi gwange abeera n'obulamu obutaggwaawo, nange ndimuzuukiza ku lunaku olw'oluvannyuma. 55Kubanga ennyama yange mmere ddala, n'omusaayi gwange kyakunywa ddala. 56Alya ennyama yange n'anywa omusaayi gwange abeera mu nze nange ne mbeera mu ye. 57Nga Taata omulamu bwe yantuma, era bwe ndi omulamu ku bwa Taata, n'oli andya bw'aliba omulamu ku bwange. 58Guno gwe mugaati ogwakka nga guva mu ggulu; teguli nga guli bajjajjammwe gwe baalya ne bafa. Alya omugaati guno, alibeera mulamu emirembe gyonna.” 59Bino yabyogerera mu sinaagooga, ng'ayigiriza e Kafarunawumu.
Enjigiriza ereeta enjawukana mu bayigirizwa
60Bangi mu bayigirizwa be bwe baawulira, ne bagamba nti: “Ebigambo ebyo bikalubo; ye ani ayinza okubiwuliriza?” 61Yezu bwe yategeera munda ye ng'abayigirizwa be babyemulugunyiza, n'agamba nti: “Ekyo kibeesittazza? 62Leero nno bwe muliraba Omwana w'Omuntu ng'alinnya gye yabeeranga? 63Ekiwa obulamu mwoyo; omubiri mpaamu kantu; ebigambo bye mbagambye biba mwoyo, biba bulamu. 64Kyokka abamu mu mmwe tebakkiriza.” – Anti okuviira ddala mu masooka, Yezu yali amanyi abo abatakkiriza n'eyali agenda okumulyamu olukwe. – 65N'agamba nti: “Kyenvudde mbagamba nti mpaawo asobola kujja gye ndi, wabula beppo nga kimuweereddwa kuva wa Taata.” 66Okuva olwo, bangi mu bayigirizwa be ne bakuba enkyukira nga tebakyatambula naye.
67Awo Yezu kwe kugamba Ekkumi n'Ababiri nti: “Nammwe mwagala kugenda?” 68#Mat 16,16; Mar 8,29; Luk 9,20.Simoni Petero n'amuddamu nti: “Mukama, tunaagenda w'ani? Ggwe olina ebigambo by'obulamu obutaggwaawo; 69ffe twakkiriza ne tumanya nga ggwe Kristu Omutuukirivu owa Katonda.” 70Yezu n'abaddamu nti: “Mmwe saabalonda, Ekkumi n'Ababiri? Naye omu ku mmwe Sitaani.” 71Yali ayogera ku Yuda mutabani wa Simoni Yisikariyoti, kubanga oyo, omu ku Kkumi n'Ababiri, ye yali agenda okumulyamu olukwe.
Yezu yeewala okweyoleka abantu

Currently Selected:

Yow 6: BIBU1

Tõsta esile

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in