1
Yow 6:35
BIBULIYA ENTUKUVU
Yezu n'abagamba nti: “Nze mugaati gw'obulamu; ajja gye ndi enjala terimuluma, n'anzikiriza taliddayo kulumwa nnyonta.
Compare
Explore Yow 6:35
2
Yow 6:63
Ekiwa obulamu mwoyo; omubiri mpaamu kantu; ebigambo bye mbagambye biba mwoyo, biba bulamu.
Explore Yow 6:63
3
Yow 6:27
Muleme kukolerera mmere eyonooneka, wabula eyo ebeerera n'etuusa mu bulamu obutaggwaawo Omwana w'Omuntu gy'alibawa; kubanga Katonda Taata ono yamussaako akabonero ke.”
Explore Yow 6:27
4
Yow 6:40
Kitange kino ky'ayagala, nti buli yenna alaba Mwana n'amukkiriza, aweebwe obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiza ku lunaku olw'oluvannyuma.”
Explore Yow 6:40
5
Yow 6:29
Yezu n'abaanukula nti: “Guno gwe mulimu gwa Katonda: nti mukkirize oyo ye gwe yatuma.”
Explore Yow 6:29
6
Yow 6:37
Buli kyonna Taata ky'ampa kirijja gye ndi; era oyo ajja gye ndi sigenda kumugobera bweru.
Explore Yow 6:37
7
Yow 6:68
Simoni Petero n'amuddamu nti: “Mukama, tunaagenda w'ani? Ggwe olina ebigambo by'obulamu obutaggwaawo
Explore Yow 6:68
8
Yow 6:51
Nze mugati omulamu, ogwakka nga guva mu ggulu; buli aliba alidde ku mugaati guno, aliba mulamu emirembe gyonna; ate omugaati gwe ndibawa ye nnyama yange olw'obulamu bw'ensi.”
Explore Yow 6:51
9
Yow 6:44
tewali ayinza kujja gye ndi wabula Taata eyantuma ng'amuleese; nange ndimuzuukiza ku lunaku olw'oluvannyuma.
Explore Yow 6:44
10
Yow 6:33
Omugaati gwa Katonda gwe gwo ogukka nga guva mu ggulu ne guwa ensi obulamu.”
Explore Yow 6:33
11
Yow 6:48
Nze mugaati ogw'obulamu.
Explore Yow 6:48
12
Yow 6:11-12
Awo Yezu n'atoola emigaati; bwe yamala okwebaza, n'agabira abaali batudde; n'ebyennyanja nabyo, buli omu nga bwe yali ayagala. Bwe baamala okukkuta, n'agamba abayigirizwa be nti: “Mukuŋŋaanye obutundutundu obufisseewo, wabulewo ekyonooneka.”
Explore Yow 6:11-12
13
Yow 6:19-20
Bwe baali bavuzeeko sitadiyo ng'amakumi abiri mu ttaano oba asatu, ne balaba Yezu ng'ajja atambula ku nnyanja asemberera eryato, ne batya. Ye n'abagamba nti: “Ye nze, temutya.”
Explore Yow 6:19-20
Home
Bible
Plans
Videos